YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 40

40
Yusufu avvuunula ebirooto by'abasibe
1Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe, kabaka w'e Misiri.#Nek 1:11 2Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro. 3N'abasibira mu nnyumba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa.#Lub 37:36; 39:20 4Omukulu w'abambowa n'abakwasa Yusufu, okubaweereza; ne bamalayo ekiseera kiwanvu nga basibiddwa. 5Mu kiro ekimu, nga bali eyo mu kkomera, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'Emisiri, buli omu n'aloota ekirooto kye. 6Yusufu n'ajja gye baali ku makya, n'abasanga nga banakuwadde. 7N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we nti, “Kiki ekibanakuwazizza bwe kityo leero.” 8Ne bamugamba nti, “Tuloose ekirooto, so tewali ayinza okututegeeza amakulu gaakyo.” Yusufu n'abagamba nti, “Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? Mukimbuulire, mbeegayiridde.”#Dan 2:28 9Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti, “Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange; 10ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu; ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu; 11n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo.” 12Yusufu n'amugamba nti, “Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu.#Lub 41:26,27 13Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuddize obwami bwo; era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, nga bwe wakolanga edda ng'okyali omusenero we.#Zab 3:3, Yer 52:31 14Naye onzijjukiranga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onzigye mu kkomera lino, 15kubanga mazima nnanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya; era ne kuno sikolanga kibi ekyandibanteesezza mu kkomera.”#Lub 37:28; 39:20 16Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu nti, “Nange nnaloose ekirooto, nga netisse ebibbo bisatu ku mutwe ebirimu emigaati, 17ne mu kibbo ekya waggulu mwabaddemu emigaati gya Falaawo egy'ebika eby'enjawulo; ennyonyi ne zigiriira mu kibbo ku mutwe gwange.” 18Yusufu n'addamu n'ayogera nti, “Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu; 19Mu nnaku ssatu, Falaawo ajja kukusumulula okuva mu kkomera akuwanike ku muti, n'ennyonyi zirirya omulambo gwo.” 20Awo olwatuuka ku lunaku olwokusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonna embaga; n'asumulula omusenero omukulu n'omufumbiro omukulu okuva mu kkomera.#Mat 14:6, Mak 6:21 21N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo;#Lub 40:13, Nek 2:1 22naye n'awanika omufumbiro omukulu, nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu g'ebirooto byabwe.#Lub 40:19 23Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira.

Currently Selected:

Olubereberye 40: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in