YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 10

10
Olugero lw'omusumba omulungi
1Yesu n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi. 2Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga. 3Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: endiga ze aziyita amannya era azifulumya ebweru. 4Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi. 5Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.”#Yok 10:27 6Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba.#Yok 16:25
Yesu ye omusumba omulungi
7Awo Yesu n'abagamba nate nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga.#Zab 118:20, Yok 14:6, Mat 7:13,14 8Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira.#Yer 23:1,2 9Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro.#Zab 118:20, Yok 14:6, 1 Kol 2:15 10Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi. 11Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.#Zab 23:1, Luk 15:4-7, Is 40:11, Ez 34:11-23; 37:24, Yok 15:13 12Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.#Mat 10:16, Bik 20:29, Tit 1:11, 1 Peet 5:2,3 13Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo. 14Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera,#2 Tim 2:19 15nga Kitange bw'antegeera, nange bwe ntegeera Kitange; nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga.#Mat 11:27 16Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu.#Ez 37:24; 34:23, Yok 11:52, 1 Peet 2:25, Bef 4:5 17Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate.#Baf 2:8,9 18Tewali abunziggyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nnakiweebwa Kitange.”#Yok 5:26; 19:11
19Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo.#Yok 7:43; 9:16 20Abamu ku bo bangi ne bagamba nti, “Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?”#Yok 7:20; 8:48, Mak 3:21 21Abalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
Yesu yeegaanibwa Abayudaaya
22Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo; 23Yesu n'atambulira mu Yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani.#Bik 3:11; 5:12 24Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti, “Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulirire ddala.”#Luk 22:67 25Yesu n'abaddamu nti, “Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze.#Yok 4:26; 5:36; 9:37 26Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.#Yok 6:64; 8:45 27Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera;#Yok 8:47; 10:3,4 28nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange.#Yok 5:28; 6:39; 17:12; 18:9 29Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange. 30Nze ne Kitange tuli omu.” 31Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba.#Yok 8:59 32Yesu n'abaddamu nti, “Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nnagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?” 33Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuvvoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.”#Yok 5:18, Mat 26:65 34Yesu n'abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda?#Zab 82:6 35Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba),#Mat 5:17,18 36mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yatukuza, n'amutuma mu nsi, nti Ovvodde; kubanga ŋŋambye nti Ndi Mwana wa Katonda?#Yok 5:17-20 37Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza. 38Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.” 39Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe.#Yok 8:59, Luk 4:30
40N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo.#Yok 1:28 41Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti, “Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bwe yayogera ku ono byali bya mazima.” 42Bangi abaali eyo ne bamukkiriza.#Yok 8:30

Currently Selected:

Yokaana 10: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in