Matayo 4
4
Yesu Kristo atandika Enjiri y'obwakabaka obw'omuggulu
(4:1-25)
Okukemebwa kwa Yesu mu ddungu
(Mak 12:13, Luk 4:1-13)
1 #
Mak 1:12,13, Luk 4:1-13 Awo Yesu n'atwalibwa Omwoyo mu ddungu okukemebwa Setaani.#Beb 4:15 2Bwe yamala okusiiba ennaku ana (40), emisana n'ekiro, enjala n'eryoka emuluma.#Kuv 34:28, 1 Bassek 19:8 3Omukemi n'ajja n'amugamba nti, “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.”#Lub 3:1-7 4Naye Yesu n'addamu n'agamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ” #Ma 8:3 5Awo Setaani n'atwala Yesu mu kibuga ekitukuvu; n'amuteeka ku kitikkiro kya Yeekaalu,#Mat 27:53 6n'amugamba nti, “Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi; kubanga kyawandiikibwa nti,” #Zab 91:11,12
“ ‘Alikulagiririza bamalayika be,
Balikuwanirira mu mikono gyabwe,
Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.’ ”
7Yesu n'amugamba nti, “Kyawandiikibwa nate nti, ‘tokemanga Mukama Katonda wo.’ ” 8Ate Setaani n'amutwala ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga ensi za bakabaka bonna abali mu nsi, n'ekitiibwa kyazo; 9n'amugamba nti, “Ebyo byonna nnaabikuwa bw'onoovuunama n'onsinza.” 10Awo Yesu n'amugamba nti, “Vaawo genda, Setaani! kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ” #Ma 6:13 11Awo Setaani n'amuleka; laba, bamalayika ne bajja, ne bamuweereza.#Yok 1:51, Beb 1:6,14
Yesu atandika okuyigiriza mu Ggaliraaya
(Mak 1:14-15, Luk 4:14-15)
12 #
Mak 1:14,15, Luk 4:14,15 Awo Yesu bwe yawulira nga Yokaana akwatiddwa n'addayo e Ggaliraaya;#Mat 14:3 13ng'avudde e Nazaaleesi, n'ajja, n'abeera e Kaperunawumu, ekiri ku nnyanja, mu nsi ya Zebbulooni ne Nafutaali, #Yok 2:12 14bw'ekityo ekigambo kituukirire nnabbi Isaaya kye yayogera, ng'agamba nti,
15“Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali,
Eyoolekedde ennyanja, emitala wa Yoludaani,
Ggaliraaya ey'abamawanga amalala,#Is 9:1,2; 42:6-7, Luk 2:32
16Abantu abaali batuula mu kizikiza,
Balabye omusana mungi,
N'abo abaali batuula mu nsi y'okufa ne mu kisiikirize kyakwo,
Omusana gubaakidde.”
17Yesu n'asookera awo okubuulira n'okugamba abantu nti, “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.” #Mat 3:2
Yesu ayita Abayigirizwa abaasooka
(Mak 1:16-20, Luk 5:1-11)
18Awo Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'ennyanja y'e Ggaliraaya, n'alaba ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayita Peetero, ne Andereya muganda we, nga basuula obutimba mu nnyanja, kubanga baali bavubi.#Yok 1:40 19N'abagamba nti, “Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b'abantu.” 20Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bamugoberera.#Mat 19:27 21N'atambulako katono mu maaso n'alaba ab'oluganda babiri abalala, Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we, nga bali mu lyato wamu ne kitaabwe Zebbedaayo, nga bayunga obutimba bwabwe; n'abo Yesu n'abayita. 22Amangwago ne baleka awo eryato ne kitaabwe, ne bamugoberera.
Yesu ayigiriza n'okuwonya abalwadde
(Luk 6:17-19)
23Yesu n'abuna Ggaliraaya yonna, ng'ayigiririza mu makuŋŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna mu bantu.#Mak 1:39, Luk 4:15,44, Bik 10:38 24Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonna, ne bamuleetera bonna abaali balwadde, abaali bakwatidwa endwadde ezitali zimu, n'ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu, n'ab'ensimbu, n'abaali bakoozimbye; bonna n'abawonya.#Mak 6:55 25Ebibiina by'abantu bangi, ne bamugoberera nga bava e Ggaliraaya n'e Dekapoli n'e Yerusaalemi n'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani.#Mak 3:7,8, Luk 6:17-19
Currently Selected:
Matayo 4: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.