YouVersion Logo
Search Icon

Okuva Ennyanjula

Ennyanjula
Ekitabo kino kiyitibwa ekitabo kya Musa, Okuva. Kijjudde ebitundu bingi ebyawandiikibwa abantu abawerako naye ng’omukuŋŋaanya tategeerekeka. Ebiri mu kitabo kino byatandika okukuŋŋaanyizibwa mu kyasa eky’ekkumi n’ebisatu (13) bc, ne bikomekkerezebwa oluvannyuma lw’abaana ba Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse bw’e Babulooni mu 587 okutuuka 538 bc. Ekitabo, Okuva kyogera ku Mukama okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri, gye baali bazaalidde ne bawera bangi nnyo. Baatiisa Abamisiri. Baakoozesebwa kajiri ne bayisibwa ng’abaddu olw’obungi bwabwe. Kyogera ku bifa ku byaliwo nga tebannava mu Misiri; n’ebyaliwo mu lugendo lwabwe nga bali mu ddungu; awamu n’endagaano Katonda gye yakola nabo ku Sinaayi. N’amateeka ge yabawa nga bamusinza gatandikira mu kitabo kino. Ekitabo kino kyawulibwamu ebitundu bino: okuteekebwateekebwa kwa Isirayiri okuva mu buddu (Essuula 1–4); obukakanyavu bwa Falaawo n’obumalirivu bwa Mukama okumubonereza (Essuula 5–6); ebibonoobono ebyatuuka ku Misiri (Essuula 6–12); n’okuva mu Misiri okw’Abayisirayiri ne batuuka ku Lusozi Sinaayi (Essuula 12–18); Amateeka Ekkumi n’endagaano ya Katonda n’Abayisirayiri ku Lusozi Sinaayi (Essuula 19–24); n’enteekateeka ya Mukama ku nsonga ya Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu (Essuula 25–40).

Currently Selected:

Okuva Ennyanjula: EEEE

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in