Olubereberye 25
25
1 #
1 Byom 1:32,33 Awo Ibulayimu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketula. 2Naye n'amuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa. 3Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, ne Letusimu, ne Leumimu. 4N'abaana ba Midiyaani abasajja; Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida, ne Erudaa. Abo bonna baana ba Ketula. 5#Lub 24:36Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina. 6Naye abaana abasajja ab'abazaana, Ibulayimu be yalina, Ibulayimu n'abawa bo ebirabo; n'abasindika okuva eri Isaaka omwana we, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende ebuvanjuba, mu nsi ey'ebuvanjuba. 7N'ennaku ez'emyaka ez'obulamu bwa Ibulayimu bwe yamala ze zino, emyaka kikumi mu nsavu mu etaano. 8#Lub 15:15; 25:17, Balam 2:10Ibulayimu n'ata omukka n'afa ng'amaze okuwangaala obulungi, nga mukadde emyaka gye nga gituukiridde: n'atwalibwa eri abantu be. 9#Lub 23:16-19Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku ya Makupeera, mu lusuku lwa Efulooni omwana wa Zokali omukiiti, olutunuulira Mamule; 10olusuku abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu: Ibulayimu mwe baamuziika omwo ne Saala mukazi we. 11#Lub 24:62Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga ku Beerirakairoi.
12 #
Lub 16:15
Era okuzaala kwa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu Agali Omumisiri, omuzaana wa Saala, gwe yazaalira Ibulayimu, kwe kuno: 13#1 Byom 1:29-31n'abaana ba Isimarei, amannya gaabwe nga bwe gaali, nga bwe baazaalibwa, amannya gaabwe ge gano: omubereberye wa Isimaeri, Nebayoosi; ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 14ne Misuma, ne Duma, ne Masa; 15Kadadi ne Teema, Yetuli, Nafisi, ne Kedema: 16#Lub 17:20abo be baana ba Isimaeri, era ago ge mannya gaabwe, ng'ebyalo byabwe bwe byali, era nga bwe baakuba eweema zaabwe; abalangira kkumi na babiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali. 17#Lub 25:8N'emyaka gya Isimaeri gye yamala, emyaka kikumi mu asatu mu musanvu: n'ata omukka n'afa; n'atwalibwa eri abantu be. 18#Lub 16:12, 1 Sam 15:7Ne batuula okuva ku Kavira okutuuka ku Ssuuli ekitunuulira Misiri, ng'ogenda e Bwasuli: yatuulanga mu maaso ga baganda be bonna.
19 #
Mat 1:2
N'okuzaala kwa Isaaka, omwana wa Ibulayimu, kwe kuno: Ibulayimu yazaala Isaaka: 20#Lub 24:24,29,67era Isaaka yali yaakamaze emyaka ana bwe yawasa Lebbeeka, omwana wa Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu, mwannyina Labbaani Omusuuli, okuba mukazi we. 21#2 Sam 24:25, 1 Byom 5:20, 2 Byom 33:13, Ezer 8:23Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto. 22#1 Sam 9:9; 10:22Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti Bwe kiri bwe kityo, kyenva mbeera omulamu kiki? N'agenda okubuuza Mukama. 23#Lub 17:16; 24:60; 27:29,40, 2 Sam 8:14, Bar 9:12Mukama n'amugamba nti
Amawanga abiri gali mu lubuto lwo,
N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo:
N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi;
N'omukulu anaaweerezanga omuto.
24Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe. 25#Lub 27:11, Lub 22:18N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya: ne bamutuuma erinnya lye Esawu. 26#Lub 27:36, Kos 12:3Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo: era Isaaka yali yaakamaze emyaka nkaaga, mukazi we bwe yabazaala. 27#Lub 27:3,5Abalenzi ne bakula: Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema. 28#Lub 27:4,7Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe: ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo. 29Yakobo n'afumba omugoyo: Esawu n'ayingira ng'avudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi: 30Esawu n'agamba Yakobo nti Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi: erinnya lye kye lyava liyitibwa Edomu. 31Yakobo n'ayogera nti Nguza leero eby'obukulu bwo. 32Esawu n'ayogera nti Laba, mbulako katono okufa: n'eby'obukulu biringasa bitya? 33#Beb 12:16Yakobo n'amugamba nti Ndayirira leero; n'amulayirira: n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe. 34Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, ne yeegendera: bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe.
Currently Selected:
Olubereberye 25: LUG68
Highlight
Share
Copy
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: