YouVersion Logo
Search Icon

Olubereberye 26

26
1 # Lub 12:10; 20:2 Ne wagwa enjala mu nsi endala so si eyo ey'olubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali. 2#Lub 12:1Mukama n'amulabikira, n'ayogera nti Toserengeta mu Misiri; tuula mu nsi gye nnakugambako: 3#Lub 13:15; 22:16-18; 28:15beera mu nsi eno, nange naabeeranga wamu naawe, era naakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo; 4#Lub 12:3; 15:5, Kuv 32:13era naayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; 5#Lub 22:18kubanga Ibulayimu yawuliranga eddoboozi lyange, ne yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange, n'ebiragiro byange. 6Isaaka n'atuula mu Gerali: 7#Lub 12:13; 20:2; 24:16, Nge 29:25abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti Ye mwannyinaze: kubanga yatya okwogera nti Mukazi wange; abasajja baawo baleme okunzita olwa Lebbeeka: kubanga yali mulungi okulaba. 8Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunuulira mu ddirisa, n'alaba, era laba, Isaaka yali ng'azannya ne Lebbeeka mukazi we. 9Abimereki n'ayita Isaaka, n'ayogera nti Laba, mazima ye mukazi wo: naawe wayogera otya nti Ye mwannyinaze? Isaaka n'amugamba nti Kubanga nali njogera nti Nneme okufa ku bubwe. 10#Lub 20:9Abimereki n'ayogera nti Kino kiki ky'otukoze? omu ku bantu yandisuze ne mukazi wo nga talowoozezza, naawe wandituleeseeko omusango. 11Abimereki n'akuutira abantu bonna, ng'ayogera Buli anaakwatanga ku musajja oyo oba mukazi we talirema kuttibwa. 12#Lub 26:3, Nge 10:22Isaaka n'asiga mu nsi eyo, n'afuna mu mwaka ogwo emirundi kikumi: Mukama n'amuwa omukisa. 13Omusajja n'akula ne yeeyongerayongeranga okutuusa bwe yali omukulu ennyo: 14#Mub 4:4era yalina embuzi ze n'ente ze, n'abaddu bangi: n'akwasa Abafirisuuti obuggya. 15#Lub 21:30Awo enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe, Abafirisuuti baali nga bazizibye era nga bazijjuzizza ettaka. 16Abimereki n'agamba Isaaka nti Genda tuveeko; kubanga otusinga nnyo amaanyi. 17Isaaka n'avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerali, n'atuula omwo. 18#Lub 21:31Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafirisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa: n'aziyita amannya gaazo ng'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma. 19Abaddu ba Isaaka ne basima mu kiwonvu, ne balaba omwo oluzzi lw'amazzi amalamu. 20#Lub 21:25N'abasumba ab'e Gerali ne bawakanya abasumba ba Isaaka, nga boogera nti Amazzi gaffe: n'atuuma oluzzi erinnya lyalwo Eseki; kubanga baawakana naye. 21Ne basima oluzzi olulala, era n'olwo ne baluwakanira: balutuuma erinnya lyalwo Situna. 22N'ajjulukuka okuvaayo, n'asima oluzzi olulala; n'olwo ne bataluwakanira; n'alutuuma erinnya lyalwo Lekobosi; n'ayogera nti Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi. 23N'avaayo n'ayambuka e Beeruseba. 24#Lub 15:1; 17:7; 24:12; 28:13,15, Kuv 3:6Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo: totya, kubanga nze ndi wamu naawe era naakuwanga omukisa, era naayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu. 25#Lub 12:7; 13:18, Zab 116:17N'azimba ekyoto eyo, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye: n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi. 26#Lub 21:22Abimereki n'alyoka ava mu Gerali n'agenda gy'ali, ne Akuzasi mukwano gwe, ne Fikoli omukulu w'eggye lye. 27#Lub 26:16, Balam 11:7Isaaka n'abagamba nti Kiki ekibaleese gye ndi, bwe muba nga munkyawa, era mwangoba gye muli? 28#Lub 21:22,23Ne boogera nti Twalabira ddala nga Mukama ali naawe: ne twogera nti Wabeere nno ekirayiro gye tuli, wakati waffe naawe, era tulagaane endagaano naawe; 29#Lub 24:31obutatukolerangako kabi, nga ffe bwe tutakukwatangako, era nga bwe tutakukoleranga kantu wabula ebirungi, era ne tukusindika n'emirembe; kaakano ggwe oyo Mukama gw'awa omukisa. 30N'abafumbira embaga, ne balya ne banywa. 31#Lub 21:31Ne bagolokoka enkya mu makya, ne balayiragana: Isaaka n'abasiibula, ne bamuvaako n'emirembe. 32Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba nti Tulabye amazzi. 33N'alutuuma Siba; erinnya ly'ekibuga kyeriva libeera Beeruseba ne leero.
34Esawu bwe yali nga yaakamaze emyaka ana n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti: 35#Lub 27:46; 28:1,8,9ne banakuwaza Isaaka ne Lebbeeka emmeeme zaabwe.

Currently Selected:

Olubereberye 26: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in