YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 12

12
1 # Yok 11:1,43 # Mat 26:6-13, Mak 14:3-9 Awo bwe zaali nga zisigaddeyo ennaku omukaaga okutuuka ku Kuyitako, Yesu n'ajja e Bessaniya, eyali Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza mu bafu. 2#Luk 10:40Awo ne bamufumbirayo emmere ey'ekyeggulo: ne Maliza n'aweereza; naye Lazaalo n'aba omu ku bo abaali batudde naye ku mmere. 3#Luk 7:38Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta. 4Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa be, agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti 5Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali ebikumi bisatu, okugabira abaavu? 6#Luk 8:3Kale yayogera bw'atyo, si lwa kujjukira abaavu; naye kubanga yali mubbi, ye yayambaliranga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu. 7Awo Yesu n'agamba nti Mumuleke agaterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange. 8#Ma 15:11Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna.
9Awo abakopi ab'omu Bayudaaya ne bategeera nti gyali: ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu. 10Naye bakabona abakulu ne basala amagezi bamutte ne Lazaalo; 11kubanga ku lulwe bangi ku Bayudaaya abaagenda, ne bakkiriza Yesu.
12 # Mat 21:1-11, Mak 11:1-10, Luk 19:29-40 Olunaku olw'okubiri ekibiina kinene abaali bazze ku mbaga, bwe baawulira nga Yesu ajja e Yerusaalemi, 13#Zab 118:25,26ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri. 14#Zek 9:9Naye Yesu bwe yalaba ennyana y'endogoyi, n'agyebereka; nga bwe kyawandiikibwa nti 15Totya, muwala wa Sayuuni: laba, Kabaka wo ajja, nga yeeberese omwana gw'endogoyi. 16#Yok 7:39Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo. 17Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne kitegeeza. 18Era ekibiina kyekyava kigenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola akabonero ako. 19#Yok 11:48Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.
20 # Yok 7:35; 11:55 Naye waaliwo Abayonaani abalala mu abo abajja ku mbaga okusinza: 21#Yok 1:44, Luk 19:3; 23:8awo bali ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamubuuza, nga bamugamba nti Ssebo, twagala okulaba Yesu. 22Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu. 23Yesu n'abaddamu, n'agamba nti Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe. 24#Bar 14:9, 1 Kol 15:36Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi. 25#Mat 10:39, Luk 14:26; 17:33Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo. 26#Yok 14:3; 17:24Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabanga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa. 27#Zab 6:3; 42:5, Mat 26:38Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunziya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino. 28#Yok 1:51; 5:37, Mat 3:17; 17:5Kitange, gulumiza erinnya lyo. Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate. 29#Luk 22:43Awo ekibiina ekyali kiyimiridewo, bwe kyaliwulira, ne kigamba nti Kubadde kubwatuka: abalala ne bagamba nti Malayika ayogedde. 30#Yok 11:42Yesu n'addamu n'agamba nti Eddoboozi lino terizze ku bwange, naye ku bwammwe. 31#Yok 14:30; 16:11, Luk 10:18Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w'ensi eno anaagoberwa ebweru. 32#Yok 8:28Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna. 33Naye yayogera atyo, ng'alaga okufa bwe kuli kw'agenda okufa. 34#Zab 110:4, Is 9:7, Dan 7:14Awo ekibiina ne kimuddamu nti Ffe twawulira mu mateeka nti Kristo abeerera awo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? oyo Omwana w'omuntu ye ani? 35#Yok 8:12; 9:5; 11:10Awo Yesu n'abagamba nti Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda. 36#Bef 5:8, Mat 23:39Bwe mukyalina omusana mukkirize omusana, mufuuke abaana b'omusana.
Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda, n'abeekweka. 37Naye newakubadde nga yakola obubonero bungi obwenkanidde awo mu maaso gaabwe, tebaamukkiriza: 38#Is 53:1, Bar 10:16ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti
Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe?
Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani?
39Kyebaava balema okuyinza okukkiriza, kubanga Isaaya yayogera nate nti
40 # Is 6:9,10, Mat 13:14,15 Yabaziba amaaso, n'abakakanyaza omutima;
Baleme okulaba n'amaaso n'okutegeera n'omutima,
Bakyuke,
Ndyoke mbawonye.
41 # Is 6:1, Yok 13:12 Ebyo bye yayogera Isaaya, kubanga yalaba ekitiibwa kye: n'ayogera ku ye. 42#Yok 7:48; 9:22Naye mu bakulu bangi abaamukkiriza, naye olw'Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro: 43#Yok 5:44kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okukira ekitiibwa kya Katonda.
44 # Mat 10:40 Yesu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma. 45#Yok 14:9Era alaba nze ng'alabye oli eyantuma. 46#Yok 8:12; 12:35Nze nzize kuba musana mu nsi, buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu kizikiza. 47#Yok 3:17; 8:15, Luk 9:56Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi. 48#Beb 4:12, Kub 19:15Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusalira omusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira omusango ku lunaku olw'enkomerero. 49Kubanga saayogeranga nze ku bwange; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera. 50#Yok 8:26,28Nange mmanyi n'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe yaŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera.

Currently Selected:

Yokaana 12: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in