YouVersion Logo
Search Icon

Yokaana 3

3
1 # Yok 7:50; 19:39 Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, mwami mu Bayudaaya: 2#Mat 22:16oyo n'ajja gy'ali ekiro, n'amugamba nti Labbi, tumanyi nti Oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula Katonda ng'ali naye. 3#Mat 19:3, Luk 17:21, 1 Peet 1:23Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda. 4Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa? 5#Ez 36:25-27, Bef 5:26, Tit 3:5Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 6#Yok 1:13, Lub 5:3, Zab 51:5Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo. 7Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri. 8#Mak 4:41, Mub 11:5Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda: bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo. 9Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti Ebyo biyinza bitya okubaawo? 10Yesu n'addamu n'amugamba nti Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo? 11#Yok 7:16; 8:26,28; 12:49Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe. 12#Luk 22:67Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu? 13#Nge 30:4, Bef 4:9Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu ali mu ggulu. 14#Kubal 21:8,9Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa: 15buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye.
16 # Bar 5:8; 8:32, 1 Yok 4:9 Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. 17#Yok 5:22; 12:47, Luk 19:10, Bik 17:31Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye. 18#Yok 3:36; 5:24Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda. 19#Yok 1:5,9-11; 12:48Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi. 20#Bef 5:13Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa. 21Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.
22 # Yok 4:1,2 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu nsi y'e Buyudaaya; n'alwayo nabo, n'abatiza. 23#Mat 4:12Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi: ne bajjanga, ne babatizibwanga. 24#Mat 14:3Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera. 25Abayigirizwa ba Yokaana n'Omuyudaaya ne baba n'empaka, mu bigambo eby'okutukuza. 26#Yok 1:26-34Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti Labbi oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bajja gy'ali. 27#Beb 5:4Yokaana n'addamu n'agamba nti Omuntu tayinza kuganya kigambo kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu. 28#Yok 1:20,23,27, Mak 1:2, Mat 11:10Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera. 29#Mat 9:15; 22:2Alina omugole ye awasa: naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza: kale essanyu lyange eryo lituukiridde. 30#2 Sam 3:1Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.
31Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi: ava mu ggulu ye afuga byonna. 32Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe. 33Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima. 34#Yok 1:33,34Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda: kubanga, bw'agaba Omwoyo, tamutegeera. 35#Yok 5:20; 17:2, Mat 11:27Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byonna mu mukono gwe. 36#Yok 3:18, Luk 3:7, 1 Yok 5:12Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.

Currently Selected:

Yokaana 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in