Lukka 13
13
1 #
Bik 5:37
Awo mu biro ebyo waaliwo abantu abaali bali awo abaamubuulira eby'Abagaliraaya bali, Piraato be yatabulira omusaayi gwabwe ne ssaddaaka zaabwe. 2#Yok 9:2N'addamu n'abagamba nti Mulowooza nga Abagaliraaya abo baali boonoonyi okusinga Abagaliraaya bonna, kubanga baabonyaabonyezebwa batyo? 3#Zab 7:12Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe mutyo. 4Oba bali ekkumi n'omunaana, ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwako ne kibatta, mulowooza baali bakozi ba bubi okusinga abantu bonna abaali mu Yerusaalemi? 5Mbagamba nti Si bwe kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenna bwe mutyo.
6 #
Luk 3:9, Mat 3:10; 21:19, Mak 11:13 N'ayogera olugero luno, nti Waaliwo omuntu eyalina omutiini ogwali gusimbiddwa mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'ajja ng'agunoonyaako ebibala n'atabiraba. 7N'agamba omulimi nti Laba, leero emyaka esatu nga njija okunoonya ebibala ku mutiini guno, ne ssibiraba, guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere? 8#1 Peet 3:9,15Ye n'addamu n'amugamba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno era, ngutemeretemere, nguteekeko obusa; 9bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kirungi; naye oba nga si bwe kityo, oligutema.
10Awo ku lunaku lwa ssabbiiti yali ng'ayigiriza mu limu ku makuŋŋaaniro. 11Era, laba, omukazi eyali yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka ekkumi n'omunaana; ng'agongobadde nga tayinza kwegolola n'akatono. 12Awo Yesu bwe yamulaba, n'amuyita n'amugamba nti Omukazi, osumuluddwa obulwadde bwo. 13N'amussaako emikono, amangu ago n'aba mugolokofu, n'atendereza Katonda. 14#Kuv 20:9, Ma 5:13Naye omukulu w'ekkuŋŋaaniro bwe yanyiiga kubanga Yesu awonyezza omuntu ku ssabbiiti, n'addamu n'agamba ekibiina nti Waliwo ennaku omukaaga ezigwana okukolerangako emirimu; kale mujjirenga ku ezo okuwonyezebwa, naye si ku lunaku lwa ssabbiiti. 15Naye Mukama waffe n'amuddamu n'agamba nti Bannanfuusi, buli omu ku mmwe ku lunaku lwa ssabbiiti tayimbula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywesa? 16#Luk 19:9, Bik 3:25Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibirwa Setaani, laba, emyaka kkumi na munaana, tagwanidde kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa ssabbiiti? 17Awo bwe yali ng'ayogera ebyo, abalabe be bonna ne baswala: n'ekibiina kyonna ne basanyukira byonna eby'ekitiibwa ebikoleddwa ye.
18 #
Mat 13:31-33, Mak 4:30 Kyeyava agamba nti Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? era nnaabufaananya na ki? 19#Dan 4:12,21, Ez 17:23; 31:6Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yaddira n'akasuula mu nnimiro ye; ne kakula, ne kaba muti; ennyonyi ez'omu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo. 20Ate n'agamba nti Obwakabaka bwa Katonda nnaabufaananya na ki? 21Bufaanana ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira n'akikisa mu bibbo bisatu eby'obutta, bwonna ne buzimbulukuka.
22N'atambula mu bibuga ne mu mbuga ng'ayigiriza ng'agenda e Yerusaalemi. 23Omuntu n'amugamba nti Mukama wange, be batono abalokolebwa? Ye n'abagamba nti 24#Mat 7:13,14, Baf 3:12, 1 Tim 6:12Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbagamba nti bangi abalinoonya okuyingira, so tebaliyinza. 25Nannyini nnyumba bw'alimala okugolokoka, n'aggalawo oluggi, ne musooka okuyimirira ebweru, n'okukonkona ku luggi, nga mugamba nti Mukama waffe, tuggulirewo; kale alibaddamu n'abagamba nti Sibamanyi gye muva; 26#Mat 7:22,23ne mulyoka mutanula okugamba nti Twaliiranga era twanyweranga mu maaso go, era wayigiririzanga mu nguudo zaffe; 27#Zab 6:8kale aligamba nti Mbagamba nti simanyi gye muva: muve we ndi, mwenna abakola ebitali bya butuukirivu. 28#Mal 1:11, Is 49:12; 59:19, Zab 107:3, Luk 14:15Eyo eribaayo okukaaba n'okuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo ne bannabbi bonna mu bwakabaka bwa Katonda, nammwe nga musuuliddwa ebweru. 29Balijja nga bava ebuvanjuba n'ebugwanjuba, n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo, balituula mu bwakabaka bwa Katonda. 30#Mat 19:30Era, laba, waliwo ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye, era waliwo ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma.
31Mu kiseera ekyo Abafalisaayo ne bajja, ne bamugamba nti Va wano, weegendere: kubanga Kerode ayagala kukutta. 32N'abagamba nti Mugende mugambe enkerettanyi eyo nti Laba, ngoba dayimooni mponya abantu leero n'enkya, ne ku lunaku olw'okusatu ndituukirizibwa. 33Naye kiŋŋwanidde okutambulako leero n'enkya n'olw'ebbiri; kubanga tekiyinzika nnabbi kuzikiririra bweru wa Yerusaalemi. 34#Mat 23:37-39Ggwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akuba amayinja abatumibwa gy'ali! emirundi emeka nga njagala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanyiza obwana bw'ayo mu biwaawaatiro byayo, so temwakkiriza! 35#Yer 12:7; 22:5, Zab 69:25; 118:26Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa; era mbagamba nti Temulindaba, okutuusa lwe muligamba nti Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.
Currently Selected:
Lukka 13: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.