Luk 20
20
1 #
Mat 21,23-27; Mar 11,27-33. Olumu bwe yali ayigiriza abantu mu Kiggwa, ng'ababuulira amawulire amalungi, bakabona abakulu, abawandiisi n'abakadde, 2ne bamulumba, ne bamugamba nti: “Tutegeeze ebyo obikozesa buyinza ki, oba ani yakuwa obuyinza obwo?” 3N'ayanukula n'abagamba nti: “Nange nzija kubabuuza ekigambo kimu, munziremu: 4Kale batismu ya Yowanna yava mu ggulu nandiki mu bantu?” 5Ne beebuuzaganya nga bagamba nti: “Bwe tunaagamba nti: ‘Yava mu ggulu,’ ajja kubuuza nti: ‘Lwaki temwamukkiriza?’ 6Ate bwe tugamba nti: ‘Yava mu bantu,’ abantu bajja kutukuba amayinja, kubanga bakakasa nti Yowanna yali mulanzi.” 7Kwe kuddamu nti: “Tetumanyi gye yava.” 8Ne Yezu n'abagamba nti: “Nange siibabuulire buyinza bunkoza ebyo.”
Olugero lw'abalimi b'emizabbibu
9 #
Yis 5,1. Awo n'atandika #Mat 21,33-46; Mar 12,1-12.okugerera ekibiina olugero luno, nti: “Waaliwo omuntu eyasimba ennimiro y'emizabbibu, n'agikwasa abalimi, ye n'agenda ku ggwanga ebbanga ggwanvu. 10Obudde bwe bwatuuka, n'atuma omuweereza eri abalimi nti bamuwe ku bibala by'ennimiro y'emizabbibu. Naye abalimi ne bamukuba, ne bamugoba ngalo nsa. 11N'ayongera ate okutuma omuweereza omulala, naye ne bamukuba, ne bamuvumaavuma, ne bamugoba ngalo nsa. 12Era n'atuma owookusatu; n'oyo ne bamussaako ebiwundu, ne bamugobera ebweru. 13Nnyini nnimiro kwe kugamba nti: ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange omwagalwa, oboolyawo banaamutya.’ 14Abakozi bwe baamulaba, ne bagambagana nti: ‘Ono ye musika, ka tumutte, obusika butuddire.’ 15Ne bamugobera ebweru w'ennimiro y'emizabbibu ne bamutta. Kale nnannyini nnimiro y'emizabbibu abo alibakola ki? 16Alijja n'azikiriza abalimi abo n'ennimiro ye ey'emizabbibu n'agikwasa abalala.” Olwawulira ekyo, ne bagamba nti: “Kikafuuwe!”
17Awo #Zab 118,22.Yezu n'abeekaliriza, n'abagamba nti: “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki:
“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lyafuuka lukulwe mu nsonda’?
18“Buli aligwa ku jjinja eryo alisesebbuka; buli yenna gwe lirigwaako, lirimubetenta.” 19Bakabona abakulu n'abawandiisi ne banoonya okumukwata mu kaseera ako kennyini, naye ne batya abantu, anti baali bategedde nti olugero olwo yali aluyisizza ku bo.
Omusolo gwa Kayisari
20 #
Mat 22,15-22; Mar 12,13-17. Ne bongera okumulondoola, ne batuma abakessi nga beeryanyizza ng'abalungi, bamukwate mu bigambo bye, balyoke bamuweeyo mu mbuga ne mu buyinza bw'owessaza. 21Ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, tumanyi ng'oyogera era oyigiriza mu butuufu, ate nga teweeguya muntu, wabula ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda. 22Kale nno tusaanidde okuwa Kayisari omusolo oba nedda?” 23Ye n'ategeera enkwe zaabwe, n'abagamba nti: 24“Munjoleke dinaari. Ekifaananyi n'ekiwandiiko ebiriko by'ani?” Bo ne baddamu nti: “Bya Kayisari.” 25N'alyoka abagamba nti: “Awo nno ebya Kayisari mubiddize Kayisari, n'ebya Katonda mubiddize Katonda.” 26Ne batasobola kumukwasa mu bigambo bye awo mu maaso g'abantu; ne beewuunya nga bw'azzeemu, ne basirika busirisi.
Yezu alimbulula Abasaddukaayo
27 #
Ebik 23,8. Ne wajjawo #Mat 22,23-33; Mar 12,18-27.Abasaddukaayo abamu, abo abawakana nti tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti: 28#Et 25,5.“Muyigiriza, Musa yaleka atuwandiikidde nti: singa muganda w'omuntu afanga ng'abadde n'omukazi naye nga tabadde na baana, muganda we awasanga omukazi oyo n'asibusiza muganda we ezzadde. 29Waaliwo ab'oluganda musanvu: omubereberye yawasa omukazi n'afa nga talina mwana; 30era n'owookubiri; 31n'owookusatu n'amuwasa; bonna omusanvu bwe batyo, naye ne bafa nga tebalese baana. 32Oluvannyuma n'omukazi n'afa. 33Kale mu mazuukira aliba muka ani? Anti bonna omusanvu baamuwasaako.” 34Yezu n'abagamba nti: “Abaana ab'omu mirembe gino bawasa n'okufumbizibwa; 35naye abalimala okusaanira emirembe giri n'okuzuukira mu bafu, tebagenda kuwasa yadde okufumbirwa, 36manyanga tebakyayinza kuddamu kufa, kubanga baliba nga bamalayika na baana ba Katonda, anti nga baana ba kuzuukira. 37#Okuv 3,6.Era okumanya ng'abafu bazuukira, Musa naye yakyolesa bulungi we boogerera ku kisaka w'ayitira Omukama Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, ne Katonda wa Yakobo. 38Awo nno Katonda taba wa bafu, wabula wa balamu, anti bonna ku ye baba balamu.” 39Abawandiisi abamu ne baddamu nti: “Muyigiriza, oyogedde bulungi.” 40Batyo tebaddayo ate kumubuuza kibuuzo kirala.
Kristu mwana wa Dawudi sso ate Mukama we
41 #
Mat 22,41-45; Mar 12,35-37a. Naye ye n'abagamba nti: “Kale bayinza batya okugamba nti Kristu mwana wa Dawudi, 42#Zab 110,1.sso nga Dawudi yennyini mu Kitabo kya Zabbuli agamba nti:
“ ‘Omukama yagamba Mukama wange
nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
43okutuusa abalabe bo lwe ndibafuula akatebe k'ebigere byo ’?
44Dawudi bw'atyo amuyita Mukama, awo nno abeera atya omwana we?”
Yezu ky'agamba ku bawandiisi
45 #
Mar 12,41-44. Abantu bonna nga bawulira, n'agamba abayigirizwa be nti: 46“Mwekuume abawandiisi; baagala okukumbira mu matanvuuwa era abaagala n'okulamusibwa mu mbuga, n'entebe ez'oku mwanjo mu sinaagooga, n'ebifo ebisinga ekitiibwa ku bijjulo; 47abakaliza ennyumba za bannamwandu, ate ne beefukuutiriza essaala empanvu. Balifuna ekibonerezo ekisingako obukambwe.”
Obusimbi bwa nnamwandu
Currently Selected:
Luk 20: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

: