Luk 21
21
1 #
Mar 12,41-44. Bwe yayimusa amaaso, n'alaba abagagga nga basuula ebirabo byabwe mu ggwanika; 2n'alaba nnamwandu omwavu ng'asuulamu obusente bubiri. 3N'agamba nti: “Mazima mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu asuddemu kingi okusinga bonna. 4Kubanga abo bonna bataddemu ebirabo nga baggya ku bibafikkiridde; sso ng'ono mu bwavu bwe ataddemu kyonna ekibadde eky'okumuliisa.”
B. KU BYOLUVANNYUMA
Alanga okuzikirira kw'Ekiggwa
5 #
Mat 24,1lud; Mar 13,1lud. Abamu bwe baali bayogera ku Kiggwa nga bwe baakiwoomya n'amayinja amalungi n'ebitone, n'agamba nti: 6“Ebyo bye mulaba, ennaku zirituuka lwe watalisigala jjinja liri ku linnaalyo litalisuulibwa wansi.” 7#Mat 10,17-22; 24,3-14; Mar 13,3-13.Awo ne bamubuuza nti: “Muyigiriza, ebyo biribaawo ddi, era kabonero ki akalyoleka ebyo nga binaatera okubaawo?”
Obubonero obuliraga
8N'abagamba nti “Mwekkaanye, temuwubisibwanga; kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti: ‘Nze wuuyo!’ oba nti: ‘Obudde butuuse!’ Temugezanga nno kubagoberera. 9Bwe muliwulira entalo n'obutabanguko, muleme kutengera; ebyo tebirirema kusooka kubaawo, naye yo enkomerero teriba ya mangu ago.” 10Awo n'abagamba nti: “Eggwanga lirisitukira mu linnaalyo, n'obwakabaka mu bunnaabwo. 11Walibaawo musisi ow'amaanyi ne mu bifo ebimu walibaayo enjala ne kawumpuli; walibaawo n'ebitiisa n'obubonero obunene okuva mu ggulu; 12Naye ebyo nga tebinnabaawo, balibakwata, balibayigganya, balibatwala mu sinaagooga ne mu makomera; mulitwalibwa mu maaso ga bakabaka n'abalamuzi okubeera erinnya lyange. 13Kano ke kaliba akadde kammwe okujulira.
14 #
Luk 12,11-12. “Emitima gibabe mu nteeko, muleme kweraliikirirawo bwe muneewozaako. 15Kubanga nze ndibawa ebigambo n'amagezi abalabe bammwe bonna bye bataliyinza kwaŋŋanga na kuwakanya. 16Ne bazadde bammwe, baganda bammwe, abeŋŋanda ne mikwano gyammwe balibawaayo, balittamu n'abamu mu mmwe. 17Mulikyayibwa bonna olw'okubeera erinnya lyange. 18Kyokka tewaliba luviiri na lumu lwa ku mutwe gwammwe luzikirira. 19Mu kugumiikiriza kwammwe mwe mulituukira ku bulamu bwammwe.
Okuzikirira kwa Yeruzaalemu
20 #
Mat 24,15-22; Mar 13,14-20. “Bwe mulabanga Yeruzaalemu kizindiddwa amagye, olwo mutegeeranga ng'okuzikirizibwa kwakyo kutuuse. 21Olwo abaliba mu Buyudaaya baddukiranga mu nsozi; abali mu kibuga bakyamukanga, ate abo abali mu byalo tebakiyingiranga. 22#Oz 9,7.Kubanga ezo ze nnaku ez'ebibonerezo, ebyawandiikibwa byonna biryoke bituukirire. 23Zibasanze abo abaliba embuto n'abayonsa mu nnaku ezo! Kubanga obuyinike ku nsi n'obusungu ku bantu bano biriba bingi. 24Balittibwa n'obwogi bw'ekitala, ne batwalibwa nga basibe mu mawanga gonna; ne Yeruzaalemu ab'amawanga balikirinnyirira okutuusa ebiro by'ab'amawanga lwe birituukirira.
Okujja kw'Omwana w'Omuntu
25 #
Yis 13,10; Ez 32,7; Yowel 2,10; Okub 6,12-13. “Walirabika #Mat 24,29-31; Mar 13,24-27.obubonero mu njuba ne mu mwezi ne mu mmunyeenye; ate mu nsi amawanga galyeraliikirira olw'okuwuluguma kw'ennyanja n'amayengo; 26abantu balizirika olw'okutya n'okulindirira ebigenda okujjira ensi yonna; kubanga amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa. 27#Dan 7,13; Okub 1,7.Awo baliraba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire n'amaanyi n'ekitiibwa kinene. 28Mulabanga ebyo bitanula okubaawo, muyimiriranga busimba ne mulalamya emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuli kumpi.”
29 #
Mat 24,32-35; Mar 13,28-32. N'abaleetera olugero nti: “Mutunuulire omukunyu n'emiti gyonna; 30bwe gitandika okutojjera, mutegeera mmwennyini ng'obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. 31Nammwe nno, bwe mulabanga ebyo byonna bibaawo, mumanyanga ng'obwakabaka bwa Katonda buli kumpi. 32Mazima mbagamba nti ezzadde lino teririggwaawo ebyo byonna nga tebinnatuukirira. 33Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Okwekuuma
34“Kale mwekuume, sikulwa ng'emitima gyammwe giggweera mu kunywa ne mu butamiivu n'okweraliikirira okw'obulamu buno, olunaku luli ne lubagwako bugwi ng'omutego; 35anti bonna abali mu nsi yonna lulibajjira. 36Awo nno mutunule ebbanga lyonna, nga mwegayirira, musobole okuwona ebyo byonna ebigenda okujja, musobole n'okuyimirira mu maaso g'Omwana w'Omuntu.”
37 #
Luk 19,47. Emisana yayigirizanga mu Kiggwa, ate ekiro yafulumanga n'agenda asula ku Lusozi lw'Oliva. 38Ku makya abantu bonna baakeeranga ne bagenda mu Kiggwa okumuwulira.
V. OKUBONAABONA N'OKUZUUKIRA
A. EMBAGA ENKULU EYA PASIKA N'EBIBUULIRIRO EBISEMBA
Enkwe za Yuda
Currently Selected:
Luk 21: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

: