Luk 22
22
1 #
Mat 26,3-5; Mar 14,1lud. Awo embaga enkulu Ey'Emigaati Egitazimbulukuse, eyitibwa Pasika, n'esembera. 2Bakabona abakulu n'abawandiisi baali banoonya engeri gye banaamuzikiriza; kubanga baali batya ekibiina. 3#Mat 26,14-16; Mar 14,10lud.Awo Sitaani n'ayingira mu Yuda, ayitibwa Yisikariyoti, omu ku Kkumi n'Ababiri, 4n'agenda n'ateesa ne bakabona abakulu n'abaserikale engeri gy'anaamuwaayo gye bali. 5Ne basanyuka, ne bakkaanya naye okumuwa ensimbi. 6N'akkiriza; n'anyoonya akakisa okumuwayo gye bali ekibiina nga tekiriiwo.
Embaga enkulu eya Pasika eteekebwateekebwa
7 #
Mat 26,17-19; Mar 14,12-16. Awo olunaku olw'Emigaati Egitazimbulukuse ne lutuuka, akaliga ka Pasika lwe kattirwako. 8N'atuma Petero ne Yowanna, n'abagamba nti: “Mugende mututegekere Pasika, tugirye.” 9Bo ne bamugamba nti: “Oyagala tugitegekere wa?” 10N'abagamba nti: “Bwe munaaba muyingira mu kibuga, omusajja eyeetisse ensumbi y'amazzi ajja kubasisinkana; mumugoberere okutuuka mu nnyumba mw'anaayingira; 11mugambe nnannyinimu nti: ‘Omuyigiriza akugambye nti: Eddiiro liri wa mwe nnaaliira Pasika wamu n'abayigirizwa bange?’ 12Ye ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu ekyaliiriddwa; omwo mwe muba muteekateeka.” 13Ne bagenda; ne basanga nga bwe yali abagambye; ne bateekateeka Pasika.
Ekyeggulo ekyasembayo
14 #
Mat 26,20-29; Mar 14,17-25. Essaawa bwe yatuuka, n'atuula ku mmeeza, n'Abatume nga bali naye. 15N'abagamba nti: “Neegombanga nnyo okulya Pasika eno wamu nammwe nga sinnaba kubonaabona; 16kuba, ka mbabuulire, okuva kati sigenda kuddayo kugirya okutuusa lw'erituukirizibwa mu bwakabaka bwa Katonda.” 17Awo n'akwata ekikompe, bwe yamala okwebaza n'agamba nti: “Mukwate, mugabane; 18kubanga, ka mbabuulire, n'okuva kati, siriddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.” 19Awo n'akwata omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu, n'agubawa ng'agamba nti: “Kino mubiri gwange ogunaweebwayo ku lwammwe. Kino mukikolanga okunzijukira.” 20#Yer 31,31-34.Bwe yakola ne ku kikompe ekyeggulo nga kiwedde, n'agamba nti: “Ekikompe kino eky'okuyiwa ku lwammwe, ye ndagaano empya mu musaayi gwange.”#22,20 Ezimu zirekayo oluny. 19 “…kino mukikolanga okunzijukira” n'oluny. 20.
Ayogera anaamulyamu olukwe
21 #
Zab 41,10. “Kyokka omukono gw'oyo agenda okundyamu olukwe, guuguno guli nange ku lujjuliro. 22Weewaawo Omwana w'Omuntu agenda nga bwe kyateesebwa; kyokka zimusanze oyo anaamuwaayo!” 23Bo ne batandika okwebuuzaganya ani ku bo anaakola ekyo.
Ku bukulu ne ku kuweereza
24 #
Mat 18,1; Mar 9,34; Luk 9,46. Awo #Mat 20,24-28; Mar 10,41-45.ne wasituka empaka mu bo ku ani ku bo eyandibaliddwa ng'asinga obukulu. 25#Esit 8,12c.N'abagamba nti: #Mat 20,25-27; Mar 10,42-44.“Bakabaka b'ab'amawanga babafuga, n'ababaliko obuyinza bayitibwa balyoyi, 26#Mat 23,11; Mar 9,35.naye mu mmwe si bwe kityo bwe kiri; wabula asinga obukulu mu mmwe abeere ng'asinga obuto, n'akulembera abeere ng'omuweereza. 27#Yow 13,12-15.Kale asinga obukulu ye aluwa, atudde ku mmeeza, n'andiki aweereza? Si oyo atudde ku mmeeza? Naye nze mbalimu kyenkana ng'omuweereza.
Ky'asuubiza Abatume
28“Mmwe muumwo abagumye nange mu bizibu byange, 29nange mbategekera obwakabaka nga Kitange bwe yabuntegekera, 30#Mat 19,28.mulyoke mulye, munywe ku lujjuliro lwange mu bwakabaka bwange, era mutuule ku ntebe ku nnamulondo nga mulamula ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli.
Petero wa kumwegaana, kyokka ajja kwenenya
31 #
Yow 13,36-38. “Simoni, Simoni, laba Sitaani yabasaba okubawewa ng'eŋŋano; 32naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme kugooka; naawe bw'onooba okomyewo, onywezanga baganda bo.” 33Ye n'amugamba nti: “Mukama, neetegese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa.” 34Ye n'amugamba nti: “Petero, ka nkubuulire, olwa leero enkoko eneeba tennakookolima, onooba omaze okwegaana emirundi esatu nga bw'otommanyi.”
Akadde aka nsaleesale
35 #
Mat 10,9-10; Mar 6,8-9; Luk 9,3; 10,4. Bonna awamu n'abagamba nti: “Bwe nabatuma nga temulina nsawo, yadde endyanga newandibadde musaasaane, waliwo kye mwajula?” Ne bagamba nti: “Tewali.” 36N'abagamba nti: “Naye kaakano alina ensawo agikwate, kye kimu n'endyanga; ate atalina kitala atunde omunagiro gwe yeegulire ekitala. 37#Yis 53,12.Kubanga ka mbabuulire, kino ekyawandiikibwa tekirema kutuukirira ku nze nti: ‘Yabalirwa mu bajeemu,’ kubanga ebyanjogerwako bituuse okukomekkerezebwa.” 38Bo ne bamugamba nti: “Mukama, laba wano waliwo ebitala bibiri.” Ye n'abagamba nti: “Kimala.”
Yezu mu Getesemane
39 #
Mat 26,47-56; Mar 14,26.32-42. Awo n'afuluma n'agenda ku Lusozi lw'Oliva ng'empisa ye bwe yali; abayigirizwa nabo ne bamugoberera. 40Bwe yatuuka mu kifo, n'abagamba nti: “Mwegayirire, muleme kutwalibwa mu kukemebwa.” 41Ye n'abaawukanako katono, ebbanga nga lya lukasuka lwa jjinja, n'afukamira ne yeegayirira, n'agamba nti: 42“Taata, obanga oyagala, ekikompe kino kinzigyeko; naye era si nze kye njagala, wabula ggwe ky'oyagala kye kiba kikolebwa.” 43Awo malayika w'Omukama n'amulabikira ng'ava mu ggulu, n'amugumya. 44Bwe yakabirirwa, ne yeegayirira na nnyo okusingawo; entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi agatonnya ku ttaka. 45Awo n'asituka okuva mu kwegayirira, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku; 46n'abagamba nti: “Mwebaka ki? Musituke, mwegayirire, muleme kutwalibwa mu kukemebwa.”
B. OKUBONAABONA N'OKUFA
Yezu akwatibwa
47 #
Mat 26,47-56; Mar 14,43-50; Yow 18,3-11. Yali akyayogera, ekibiina ne kijja n'oli omu ku Kkumi n'Ababiri ayitibwa Yuda, ng'abakulembeddemu, n'asemberera Yezu amunywegere. 48Naye Yezu n'amugamba nti: “Yuda, Omwana w'Omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?” 49Awo abagoberezi be bwe baategeera ebigenda okubaawo, ne bamugamba nti: “Mukama, tubateme n'ebitala?” 50Munnaabwe omu n'atema omuddu wa kabona omukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. 51Naye Yezu n'addamu nti: “Temuddira.” N'akwata okutu kw'oli n'akuwonya. 52Awo Yezu n'agamba bakabona abakulu n'abakuumi b'Ekiggwa, abaali bavuddeyo okumukwata nti: “Muvuddeyo n'ebitala n'emiggo okunkwata ng'abajjirira omunyazi? 53#Luk 19,47; 21,37.Buli lunaku nabanga nammwe mu Kiggwa, temwangololera mikono gyammwe kunkwata; kale kino kye kiseera kyammwe n'obuyinza bw'enzikiza.”
Petero yeegaana Yezu
54 #
Mat 26,57-58.69-75; Mar 14,53-54.66-72; Yow 18,12-18.25-27. Awo ne bamukwata, ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona omukulu. Petero n'agoberera ng'ayima walako. 55Bwe baamala okukuma omuliro mu luggya wakati, ne batuula nga bagwetoolodde, ne Petero n'atuula mu bo. 56Omuzaana omu n'amulaba bwe yali atudde mu kitangaala, n'amwekaliriza, n'agamba nti: “N'ono yabadde naye,” 57naye ye ne yeegaana, n'agamba nti: “Mukazi, oyo simumanyi.” 58Ate nga wayiseewo akabanga katono, omuntu omulala n'amulaba, n'agamba nti: “Naawe oli omu ku bo.” Petero n'agamba nti: “Musajja wattu, siri.” 59Ekiseera ne kiyitawo nga kya ssaawa emu, omulala era n'alumiriza nti: “Kya mazima n'ono abadde naye, anti Mugalilaaya.” 60Petero n'agamba nti: “Musajja wattu, simanyi ky'ogamba.” Amangu ago, yali akyayogera, enkoko n'ekookolima. 61Awo Omukama n'akyuka n'atunuulira Petero. Petero n'ajjukira ekigambo Omukama kye yali amugambye nti: “Enkoko eneeba tennakookolima olwa leero, onooba onneegaanye emirundi esatu.” 62Petero n'afuluma ebweru, n'akaaba n'okunyolwa kungi.
Batandika okumujolonga
63 #
Mat 26,67; Mar 14,65. Abasajja abaali bamukutte ne bamuduulira, ne bamukuba; 64ne bamusiba kantuntunu, ne bamubuuza nti: “Lagula! Ani akukubye?” 65Ne bamwogerera n'ebirala bingi nga bamuvuma.
Bamuwozesa mu lukiiko olukulu
66 #
Mat 27,1; 26,57.63-65; Mar 14,53.61-65; 15,1; Yow 18,19-24. Obudde bwe bwakya, abakadde n'abantu bonna wamu ne bakuŋŋaana, wamu ne bakabona abakulu n'abawandiisi; ne bamutwala mu Lukiiko lwabwe, 67nga bagamba nti: “Oba ggwe Kristu, tubuulire.” Ye n'abagamba nti: “Ne bwe nnaabagamba, temujja kunzikiriza; 68bwe nnaababuuza, temujja kunnyanukula. 69Kyokka n'okuva kati Omwana w'Omuntu ajja kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'obuyinza bwa Katonda.” 70Bonna ne bagamba nti: “Awo nno ggwe Mwana wa Katonda?” N'abagamba nti: “Mmwe mugamba nti ye nze.” 71Ne bagamba nti: “Tukyetaagira ki obujulizi? Anti ffe ffennyini twewuliridde ekivudde mu kamwa ke.”
Yezu ewa Pilato
Currently Selected:
Luk 22: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

: