Luk 23
23
1 #
Mat 27,2.11-14; Mar 15,1-5; Yow 18,28-38. Awo bonna ekibiina ne bayimuka, ne bamutwala eri Pilato. 2Ne batandika okumulumiriza nga bagamba nti: “Oyo twamusanga ng'awabya eggwanga lyaffe, ng'aziyiza abantu okuwa Kayisari omusolo, era ng'agamba mbu ye ye Kristu Kabaka.” 3Pilato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Ye n'addamu nti: “Oyogedde.” 4Pilato n'agamba bakabona abakulu n'ekibiina nti: “Nze omuntu ono simusanzeemu musango na gumu.” 5Naye bo ne bongera okukalambira nga bagamba nti: “Asasamaza abantu ng'ayigiriza mu Buyudaaya mwonna okuviira ddala e Galilaaya okutuuka kuno.” 6Pilato bwe yawulira ekyo, n'abuuza oba omuntu oyo Mugalilaaya. 7Bwe yamanya ng'atwalibwa Erode, n'amuweereza ewa Erode, naye eyali mu Yeruzaalemu mu nnaku ezo.
Yezu ewa Erode
8Erode bwe yalaba Yezu, n'asanyuka nnyo kubanga yali yeegomba dda okumulaba; kubanga yali amuwulirako, era yali yeesunga okulaba akabonero k'anaakola. 9N'amukemereza okumala akabanga, ye n'atabaako ky'amwanukula. 10Bakabona abakulu n'abawandiisi baali bayimiridde awo, nga bamulumiriza n'amaanyi. 11Awo Erode n'amujolonga, n'amuduulira, ko n'abakungu be, n'amwambaza omunagiro amakula, n'amusindika addeyo ewa Pilato. 12Ku olwo Erode ne Pilato ne bafuuka ba mukwano, sso mu kusooka baali bakyawaganye.
Yezu azzibwa ewa Pilato
13Awo Pilato n'akuŋŋaanya bakabona abakulu, abakulembeze n'abantu, 14n'abagamba nti: “Mundeetedde omuntu ono nga mugamba nti awabya abantu; mmubuuzizza nga nammwe we muli, naye simusanzeemu musango na gumu ku egyo gye mumulumiriza; 15era ne Erode naye kye kimu, kubanga naye amukomezzaawo gye tuli. Tewali kye yali akoze kimusaanyiza kufa. 16Awo nno nzija kumukubamu, mmute.”#23,16 Ezimu zongerako: 17 Ku lunaku olukulu yali ateekwa okubateerayo omuntu. 18#Mat 27,20-26; Mar 15,11-15; Yow 18,38–19,1.Ekibiina kyonna ne kireekaana nti: “Oyo muggyeewo; tuteere Barabba,” 19__ oyo gwe baali batadde mu kkomera olw'akajagalalo akaali kagudde mu kibuga n'olw'obutemu.
20Awo Pilato n'ayogera gye bali ogwokubiri ng'ayagala okuta Yezu. 21Naye bo ne baleekaana nti: “Mukomerere, mukomerere ku musaalaba.” 22N'abagamba ogwokusatu nti: “Ddala yakola kibi ki? Simulabamu musango na gumu gumussa. Awo nno nzija kumukubamu, mmute.” 23Naye bo ne bakalambira nga basaba mu ddoboozi eddene akomererwe ku musaalaba; oluyoogaano lwabwe ne lweyongera. 24Awo Pilato n'asalawo, kye baali basaba kikolebwe. 25N'abateera omusajja eyali ateekeddwa mu kkomera olw'obujagalalo n'obutemu, gwe baali basaba; ye Yezu n'amuwaayo nga bwe baali baagala.
Yezu atwalibwa okukomererwa
26 # Mat 27,31b-44; Mar 15,20b-32; Yow 19,16b-27.29. Bwe baali bamutwala, ne bakwata omusajja omu, Simoni ow'e Kureni, eyali ava mu nnimiro, ne bamutikka omusaalaba agutwale ng'agoberera Yezu. 27Era ekibiina kinene eky'abantu ne kimugoberera, ko n'abakazi nga baaziirana n'okumukaabira. 28Yezu n'akebuka gye bali, n'agamba nti: “Bawala ba Yeruzaalemu, muleke kunkaabira; naye mwekaabireko mwennyini ne ku lwa baana bammwe. 29Kubanga ennaku zijja ze baligambiramu nti: ‘Ba mukisa abagumba, n'embuto ezitazaalangako, n'amabeere agatayonsanga!’ 30#Oz 10,8; Okub 6,16.Balitandika okugamba ensozi nti: ‘Mutugwire,’ n'obusozi nti: ‘Mutubuutikire.’ 31Kubanga kale, oba omuti omubisi bagukola bati, leero alirabisa omukalu?”
32N'abasajja abalala babiri ababbi baatwalibwa wamu naye okuttibwa.
Yezu akomererwa
33Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Akawanga,#23,33 Akawanga: Calvarius mu Vulg; ey'OlugerNT. egamba Kranion, mu Lwebureeyi Golgotha, byombi ebitegeeza akawanga. ne bamukomerera ku musaalaba, era n'ababbi, omu ku ddyo n'omulala ku kkono. 34Yezu n'agamba nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.” Ne bagabanyaamu ebyambalo bye, ne babikubako akalulu. 35#Zab 22,8.Ekibiina kyali kiyimiridde nga kitunuulira. Abakulembeze ne bamusekerera nga bagamba nti: “Yawonyanga balala; kale naye yeewonye obanga ye Kristu wa Katonda, Omulonde we.” 36#Zab 69,22.N'abaserikale nabo ne bamuduulira; ne basembera, ne bamuweereza enkaatu 37nga bagamba nti: “Obanga ggwe Kabaka w'Abayudaaya, weewonye!” 38Ne waggulu we waaliwo ekiwandiiko#23,38 Ez'edda zongerako: mu Lugereeki, Olulatini n'Olwebureeyi. nti: ONO YE KABAKA W'ABAYUDAAYA.
Omubbi omubonerevu
39Omu ku babbi abo abaali bawanikiddwa n'amuvuma ng'agamba nti: “Si ggwe Kristu? Weewonye naffe otuwonye!” 40Naye omulala n'ayogera, ng'akoma ku munne, ng'agamba nti: “Naawe Katonda tomutya, sso ng'oli mu kibonerezo kimu naye? 41Ffe nno, era kale, kitusaanidde; anti tufunye ekigwanira ebikolwa byaffe; naye ono taliiko kabi ke yakola.” 42Awo n'agamba Yezu nti: “Yezu, bw'otuuka mu bwakabaka bwo, onzijukira.” 43N'amugamba nti: “Mazima nkugamba nti olwa leero onooba nange mu kifo ky'okwesiima.”
Okufa ku musaalaba n'ebyaddirira
44 # Mat 27,31b-44; Mar 15,20b-32; Yow 19,16b-27.29. Essawa yali nga ya mukaaga; enzikiza n'ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa eyoomwenda, 45#Okuv 26,31-33.ng'enjuba esiikiriziddwa; olutimbe lw'omu Kiggwa ne luyulikamu wabiri. 46#Zab 31,6.Yezu n'akoowoola n'eddoboozi ddene, n'agamba nti: “Kitange, mu mikono gyo mwe ntadde omwoyo gwange.” Mu kwogera ebyo n'assa omukka omuvannyuma.
47Senturiyo bwe yalaba ebibaddewo, n'agulumiza Katonda, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.” 48N'ekibiina kyonna eky'abantu abaali bakuŋŋaanye okwerolera, bwe baalaba ebyaliwo, ne baddayo nga bakuba ebifuba. 49#Luk 8,2-3.N'abamanyi be bonna n'abakazi abaali bamugoberedde okuva mu Galilaaya baali bayimiridde walako, baalaba ebintu bino.
Amaziika ga Yezu
50 #
Mat 27,57-61; Mar 15,42-47; Yow 19,38-42. Awo waaliwo omusajja erinnya lye Yozefu, omukiise mu Lukiiko, nga muntu mulungi, mutuukirivu. 51Yali takkirizaganyizza nabo mu nteesa yaabwe ne mu bye baakola. Yali w'e Arimateya, ekibuga ky'omu Buyudaaya; naye yali alindirira obwakabaka bwa Katonda. 52Omusajja ono n'agenda eri Pilato, n'amusaba omubiri gwa Yezu, 53n'aguwanula, n'aguzinga mu ssuuka, n'agussa mu ntaana ensime mu lwazi, eyali teteekebwangamu muntu. 54Lwe lwali Olunaku olw'Okuteekateeka, ne Sabbaato ng'etandise.
55Abakazi abaali bavudde naye mu Galilaaya baali bagoberedde, nabo ne balaba entaana n'omubiri gwe nga bwe gwali guteekeddwamu. 56#Okuv 20,10; Et 5,14.Bwe baddayo, ne bateekateeka ebyakaloosa n'emizigo egy'obuwoowo. Ku Sabbaato lwonna ne bawummula ng'etteeka bwe liragira.
C. OKUZUUKIRA
Entaana enkalu
Currently Selected:
Luk 23: BIBU1
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION © The Bible Society of Uganda, 2018.

: