OKUVA E MISIRI 22
22
Amateeka ku kusasula amabanja
1“Omuntu bw'anabbanga ente oba endiga n'agitta, oba n'agitunda, ente emu anaagisasulangamu ente ttaano, n'endiga emu anaagisasulangamu endiga nnya. 2-4Anaaliyiriranga kye yabba. Bw'aba nga talina kantu, anaatundibwanga abe omuddu, okuliyirira kye yabba. Ensolo gye yabba, k'ebe nte oba ndogoyi oba ndiga, bw'anaasangibwanga nayo nga nnamu, emu anaagisasulangamu bbiri.
“Omubbi bw'anaakwatibwanga ng'amenya ennyumba ekiro, n'attibwa, amusse taavunaanibwenga musango gwa butemu. Naye bw'anattibwanga emisana, amusse anaavunaanibwanga omusango ogw'obutemu.
5“Omuntu bw'anaalekanga ensolo ze okuliira mu lusuku oba mu nnimiro y'emizabbibu, ne zigenda ne zirya ebirime mu nnimiro y'omuntu omulala, anaasasuliranga ebirime ebyo ng'aggya mu by'omu lusuku olulwe, ne ku by'omu nnimiro eyiye ey'emizabbibu.
6“Omuntu bw'anaakoleezanga omuliro ne gulanda, ne gukwata ennimiro y'omuntu omulala, ne gwokya eŋŋaano ekyakula oba ne gwokya ennimiro yonna, oyo eyakoleezezza omuliro ogwo anaaliwanga.
7“Omuntu bw'anakkirizanga okuterekera munne ensimbi oba ebintu, ne babibbira mu nnyumba ye, omubbi bw'anaazuulibwanga, anaaliwanga emirundi ebiri. 8Omubbi bw'anaabanga tazuuliddwa, nnannyini nnyumba anaaleetebwanga mu Ssinzizo n'alayira nga teyabba bintu bya munne.
9“Buli nkaayana ku bintu, oba ku nte, oba ku ndogoyi, oba ku ndiga, oba ku ngoye, oba ku kintu ekirala kyonna ekibuze, bombiriri abakikaayanira banaaleetebwanga mu Ssinzizo. Oyo Katonda gw'anaasaliranga omusango okumusinga, anaaliyiriranga munne emirundi ebiri.
10“Omuntu bw'anakkirizanga okukuumira munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala, ensolo eyo n'efa oba n'etuukibwako akabi, oba n'enyagibwa nga tewali akiwaako bujulizi, 11anaagendanga n'alayirira mu Ssinzizo nga teyabba nsolo ya munne. Nnannyiniyo anakkirizanga, era munne taaliwenga. 12Naye bw'eba nga yamubbibwako, aliyiranga nnannyiniyo. 13Bw'enettibwanga ensolo enkambwe, anaaleetanga ebitundu ebisigaddewo okukakasa. Taaliwenga olw'eyo ettiddwa ensolo enkambwe.
14“Omuntu bw'aneeyazikanga ensolo ku muntu omulala, ensolo eyo n'etuukibwako akabi, oba n'efa, nga nnannyiniyo taliiwo, anaamuliyiranga. 15Naye nnannyiniyo bw'anaabeerangawo, eyagyeyazika taaliwenga. Bw'eba nga yali mpangise, eba esasuliddwa omuwendo ogwagipangisa.
Amateeka g'eddiini ku nneeyisa y'abantu
16“Omusajja bw'anaasendasendanga omuwala embeerera atannayogerezebwa, n'amwonoona, anaawangayo ebintu eby'obuko, omuwala oyo alyoke abe mukazi we.#Laba ne Ma 22:28-29 17Naye kitaawe w'omuwala bw'anaagaananga okumumuwa, omusajja anaaliwanga ebintu ebyenkanankana n'ebyo ebiweebwayo okwogereza omuwala embeerera.
18“Onottanga omukazi omulogo.#Laba ne Ma 18:10-11
19“Omuntu aneebakanga ku nsolo anattibwanga.#Laba ne Leev 18:23; 20:15-16; Ma 27:21
20“Buli muntu anaawangayo ekitambiro eri balubaale, n'atakiwa nze nzekka Mukama, anaazikirizibwanga.#Laba ne Ma 17:2-7
21“Omugwira tomuyisanga bubi, wadde okumulumya, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ey'e Misiri.#Laba ne Kuv 23:9; Leev 19:33-34; Ma 24:17-18; 27:19 22Temuubonyaabonyenga nnamwandu n'omu, wadde mulekwa. 23Bwe munaababonyaabonyanga, ne bansaba okubayamba, siiremenga kubayamba. 24Era mmwe nnaabasunguwaliranga nnyo, ne mbattira mu lutalo, ne bakazi bammwe ne bafuuka bannamwandu, n'abaana bammwe ne baba bamulekwa.
25“Bw'onoowolanga ensimbi omu ku bantu bange abaavu, tomubanjanga ng'omuwozi w'ensimbi bw'abanja, n'omusaba amagoba.#Laba ne Leev 25:35-38; Ma 15:7-11; 23:19-20 26Munno bw'anaakusingiranga ekyambalo kye, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa,#Laba ne Ma 24:10-13 27kubanga kye kyokwebikka kyokka ky'alina ekimubugumya. Kiki ekirala ky'aneebikka? Bw'anansabanga okumuyamba, nnaamuyambanga, kubanga ndi musaasizi.
28“Toyogeranga bubi ku Katonda,#22:28 ku Katonda: Oba “Ku balamuzi.” era tokolimiranga mukulembeze w'abantu bo.#Laba ne Bik 23:5
29“Tolwangawo kuntonera birabo ku bibala by'obazizza, ne ku mwenge gwo ogw'emizabbibu.
“Omuggulanda mu baana bo omumpanga. 30Onookolanga kye kimu ne ku nte zo, ne ku ndiga zo. Ennume nnyina waayo gy'esookerako okuzaala, eneemalanga ennaku musanvu ne nnyina waayo, ku lunaku olw'omunaana n'ogimpa.
31“Munaabanga bantu bange abatukuvu. N'olwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo ettiddwa ensolo enkambwe. Munaagisuuliranga mbwa.#Laba ne Leev 17:15
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 22: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.