OKUVA E MISIRI 24
24
Endagaano ekakasibwa
1Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi, ggwe ne Arooni ne Nadabu ne Abihu, n'abakulembeze ensanvu aba Yisirayeli, era musinze nga mukyali walako. 2Ggwe wekka, ggwe onoosembera we ndi, naye abalala, tebasembera. Abantu baleme kwambuka ku lusozi wamu naawe.”
3Musa n'ajja, n'ategeeza abantu byonna Mukama by'agambye ne by'alagidde. Abantu bonna ne baddiramu wamu nga bagamba nti: “Ebyo byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola.” 4Musa n'awandiika byonna Mukama by'ayogedde. N'agolokoka enkya mu makya, n'azimba alutaari wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, olw'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Yisirayeli. 5N'atuma abavubuka Abayisirayeli, ne bawaayo eri Mukama ebitambiro, era ne batambira ente eziriirwa awamu olw'okutabagana. 6Musa n'addira ekitundu ekimu eky'omusaayi, n'akiteeka mu bibya, ekitundu ekirala n'akimansira ku alutaari. 7N'akwata ekitabo eky'endagaano, n'akisoma ng'abantu bawulira. Abantu ne bagamba nti: “Byonna Mukama by'ayogedde tujja kubikola era tunaabanga bawulize.”
8Awo Musa n'addira omusaayi oguli mu bibya, n'agumansira ku bantu, n'agamba nti: “Guno gwe musaayi ogukakasa endagaano Mukama gy'akoze nammwe mu bigambo byonna by'ayogedde.”#Laba ne Mat 26:28; Mak 14:24; Luk 22:20; 1 Kor 11:25; Beb 9:19-20; 10:29
9Awo Musa ne Arooni, ne Nadabu, ne Abihu, n'abakulembeze ensanvu aba Yisirayeli ne bambuka ku lusozi, 10ne balaba Katonda wa Yisirayeli. Wansi w'ebigere bye ne waba ng'omwaliiro ogw'amayinja aga safiro, nga ga bbululu omutangaavu ng'eggulu. 11Katonda n'atakola kabi ku bakulembeze abo aba Yisirayeli. Baalaba Katonda, ne balya era ne banywa.
Musa ku Lusozi Sinaayi
12Mukama n'agamba Musa nti: “Yambuka ku lusozi gye ndi, era ng'oli eno, nja kukuwa ebipande eby'amayinja, okuli amateeka n'ebiragiro, bye mpandiise olw'okuyigiriza abantu.” 13Awo Musa n'asituka ne Yoswa omuweereza we. Bwe yali ng'anaatera okwambuka ku lusozi olutukuvu, 14n'agamba abakulembeze nti: “Mutulindire wano, okutuusa lwe tunaakomawo gye muli. Arooni ne Kuri bali wamu nammwe. Buli alina enkaayana, agende gye bali.”
15Musa n'ayambuka ku lusozi, ekire ne kimubikka, 16ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikka okumala ennaku mukaaga. Ku lunaku olw'omusanvu, Mukama n'ayita Musa ng'asinziira mu kire wakati. 17Ekitiibwa kya Mukama ne kifaananira Abayisirayeli ng'omuliro ogwakira ku ntikko y'olusozi. 18Musa n'ayita mu kire, n'ayambuka ku ntikko y'olusozi, n'amalayo ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.#Laba ne Ma 9:9
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 24: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.