YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 28

28
Ebyambalo bya bakabona
(Laba ne Kuv 39:1-7)
1“Mu Bayisirayeli bonna, yitayo muganda wo Arooni ne batabani be, Nadabu ne Abihu, ne Eleyazaari, ne Yitamaari, basembere w'oli, bampeereze mu bwakabona. 2Olikolera muganda wo Arooni ebyambalo eby'obwakabona, ebimuweesa ekitiibwa, era ebimulabisa obulungi. 3Oligamba bonna abasobola okukola, era be najjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo bya Arooni, ayawulibwe, ampeereze mu bwakabona. 4Bino bye byambalo bye balikola: eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'essaati eriko omudalizo, n'ekiremba eky'oku mutwe, n'olukoba. Balikolera muganda wo Arooni ne batabani be ebyambalo ebyo ebitukuvu, bye banaayambalanga nga bampeereza mu bwakabona. 5Abakozi balikozesa ewuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era ne zaabu, n'olugoye olulukiddwa obulungi.
6“Balikola ekkanzu mu zaabu ne mu lugoye olulukiddwa obulungi n'amagezi, mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu. 7Ku bibegabega byayo eritungibwako obuwuzi bubiri obugatta enjuyi zaayo: olw'omu maaso n'olw'emabega. 8Olukoba olulukiddwa obulungi n'amagezi mu lugoye lwe lumu nga yo, lulitungibwa ddala ku yo. 9Oliddira amayinja abiri aga onika, n'oyolako amannya ga batabani ba Yisirayeli, 10amannya mukaaga ku jjinja erimu, n'amalala mukaaga ku jjinja eddala, nga bwe baddiŋŋanwako mu kuzaalibwa. 11Olifuna omusazi w'amayinja omukugu, n'oyola ku mayinja abiri amannya ga batabani ba Yisirayeli. Amayinja ago n'ogasiba mu mbu za fuleemu eza zaabu, 12era oligateeka ku buwuzi obw'oku bibegabega eby'ekkanzu okujjuukirirangako abaana ba Yisirayeli. Mu ngeri eyo, ndyoke nzijukirenga abantu bange. 13Era olikola embu za fuleemu eza zaabu, 14n'emikuufu ebiri egya zaabu omulungi, nga girangiddwa ng'emiguwa, ogisibe ku mbu za fuleemu.
Ekyambalo eky'omu kifuba
(Laba ne Kuv 39:8-21)
15“Olikola ekyambalo eky'omu kifuba, Ssaabakabona ky'anaayambalanga ng'alangirira ebyo Katonda by'ayagala. Olikikola mu nkola ye emu ey'amagezi nga gy'olikolamu ekkanzu mu lugoye olulukiddwa obulungi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu. 16Kiryenkanankana ku njuyi zaakyo zonna, nga kifunyiddwamu wabiri: sentimita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, ne sentimita amakumi abiri mu bbiri obugazi. 17Olikiteekamu ennyiriri nnya ez'amayinja ag'omuwendo, olunyiriri olusooka luliba lwa sarudiyo ne topaazi ne karubunkulo. 18Olunyiriri olwokubiri luliba lwa emeraludo ne safiro ne dayamondi. 19Olunyiriri olwokusatu luliba lwa yakinto ne agate ne ametisto, 20n'olunyiriri olwokuna luliba lwa berulo ne onika ne yasipero. Galiteekebwa mu mbu za fuleemu eza zaabu. 21Buli limu ku mayinja ago ekkumi n'abiri, liriyolwako erinnya limu limu ku mannya ga batabani ba Yisirayeli, okujjukiranga ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri. 22Olikola emikuufu egya zaabu omulungi, egy'oku kyambalo eky'omu kifuba, nga girangiddwa ng'emiguwa. 23Olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi eza waggulu ez'ekyambalo eky'omu kifuba. 24Emikuufu ebiri egya zaabu oligiteeka mu mpeta ebbiri ez'oku nsonda ezo ebbiri ez'ekyambalo eky'omu kifuba, 25n'enkomerero ez'emikuufu ebiri egirangiddwa, olizisiba ku mbu ebbiri eza fuleemu, bw'otyo ekyambalo eky'omu kifuba n'okigatta ku buwuzi obw'ekibegabega eky'ekkanzu, ku ludda lwayo olw'omu maaso. 26Olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi eza wansi, ez'ekyambalo eky'omu kifuba, ku ludda lwakyo olwomunda, okuliraana ekkanzu. 27Olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku buwuzi bubiri obw'oku bibegabega by'ekkanzu, wansinsi, ku ludda lwayo olw'omu maaso, kumpi ne w'egattirwa, waggulu w'olukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi n'amagezi. 28Baliddira akawuzi aka kakobe, ne basiba empeta z'ekyambalo eky'omu kifuba ku mpeta z'ekkanzu, ekyambalo eky'omu kifuba kibeere ku lukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi n'amagezi, era kireme kusumululwanga ku yo.
29“Kale Arooni anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, ng'ayambadde ekyambalo eky'omu kifuba ekyo, ekyoleddwako amannya g'ebika bya Yisirayeli, Nze Mukama ndyoke nzijukirenga abantu bange. 30Oliteeka Wurimu ne Tummimu#28:30 Wurimu ne Tummimu: Ebintu ebyo byombi, kabona bye yakozesanga okumanya ebyo Katonda by'ayagala, naye engeri gye byakozesebwangamu temanyiddwa. mu kyambalo eky'omu kifuba, Arooni alyoke abisitulenga ng'ajja mu maaso gange. Mu biseera ng'ebyo, anaayambalanga ekyambalo eky'omu kifuba, alangirirenga eri Abayisirayeli, Nze Mukama bye njagala.#Laba ne Kubal 27:21; Ma 33:8; Ezer 2:63; Neh 7:65
Ebyambalo ebirala ebya bakabona
(Laba ne Kuv 39:22-31)
31“Era olikola omunagiro ogw'oku kkanzu, nga gwonna gwa bbululu. 32Gulibeera n'ekituli, omutwe mwe guyita. Ekituli ekyo, kirinywezebwa n'omukugiro ogulukiddwa okukyetooloola, kireme okuyuzibwa.
33“Okwetooloola ebirenge byagwo, oliteekako amakomamawanga aga bbululu n'aga kakobe n'amamyufu, 34ng'ogatobekamu endege eza zaabu: endege ya zaabu n'ekkomamawanga, n'endege ya zaabu n'ekkomamawanga. 35Arooni anaagwambalanga bw'anaabanga aweereza mu bwakabona. Bw'anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu mu maaso gange, oba bw'anaafulumanga, eddoboozi ly'endege linaawulirwanga, aleme okufa.
36“Olikola akapande aka zaabu omulungi, n'oyolako ebigambo nti ‘AWEEREDDWAYO ERI MUKAMA.’ 37Olikasiba ku kawuzi aka kakobe, n'okateeka ku ludda olw'omu maaso olw'ekiremba eky'oku mutwe. 38Arooni anaakateekanga mu kyenyi kye bulijjo, nze Mukama ndyoke nzijukirenga ebirabo byonna Abayisirayeli bye bawaayo gye ndi, abantu ne bwe babaako ensobi ze bakola mu kubiwaayo.
39“Olirukira Arooni essaati mu lugoye olulungi, era olikola mu lugoye olulungi ekitambaala eky'oku mutwe n'omusipi ogutungiddwako omudalizo.
40“Olikolera batabani ba Arooni amasaati n'enkoba, era n'enkuufiira, okubaweesa ekitiibwa n'okubalabisa obulungi. 41Olyambaza Arooni muganda wo ne batabani be ebyambalo ebyo. Olibasiiga omuzigo, n'obaawula n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona. 42Olibakolera empale ennyimpi nga za lugoye, ze banaayambalanga, eziva mu kiwato okutuuka mu bisambi. 43Arooni ne batabani be banaabanga bazambadde, bwe banaayingiranga mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga alutaari okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme kuzza musango ogw'okubaleetera okufa. Arooni n'ezzadde lye banaakuumanga etteeka lino ennaku zonna.

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 28: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in