YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 30

30
Alutaari y'okwoterezangako obubaane
(Laba ne Kuv 37:25-28)
1“Olikola alutaari ey'okwoterezangako obubaane. Oligikola nga ya muti ogwa akasiya. 2Eryenkanankana enjuyi zonna: sentimita amakumi ana mu ttaano obuwanvu, ne sentimita amakumi ana mu ttaano obugazi, ate sentimita kyenda obugulumivu. Amayembe gaayo galiba ga muti gwe gumu ng'ogwayo. 3Olibikka zaabu omulungi kungulu waayo, ne ku njuyi zaayo ennya, ne ku mayembe gaayo, era oligikolako engule eya zaabu okugyetoolooza. 4Olikolako empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka wansi w'engule, ku njuyi zaayo ebbiri, okusiba emisituliro egy'okugisitulirako. 5Olikola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'ogibikkako zaabu. 6Oliteeka alutaari eyo, mu maaso g'olutimbe oluli okumpi n'Essanduuko ey'Endagaano, mu maaso g'entebe ey'obusaasizi, kwe nnaasisinkaniranga naawe. 7Arooni bw'ajjanga buli nkya okulongoosa ettaala, anaayoterezanga ku alutaari eyo obubaane obw'akawoowo. 8Era anaabwoterezanga, bw'anaakoleezanga ettaala akawungeezi. Obubaane bunaanyookeranga mu maaso gange, nze Mukama, obutasalako mu mirembe gyammwe gyonna egijja.
9“Ku alutaari eyo, temwoterezengako bubaane obutakkirizibwa, oba okuweerako ekiweebwayo ekyokebwa, wadde ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, era temuugiyiwengako kiweebwayo ekinywebwa. 10Omulundi gumu buli mwaka, Arooni anaakolanga omukolo ogw'okutukuza alutaari, ng'ateeka ku mayembe gaayo omusaayi gw'ensolo ettibwa olw'okusonyiyisa ebibi. Kino kinaakolebwanga buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna egijja. Alutaari eyo entukuvu ennyo, yange Nze Mukama.”
Omusolo gw'Eweema ya Mukama
11Mukama n'agamba Musa nti: 12“Bw'onoobalanga abantu ba Yisirayeli okumanya bwe benkana obungi, buli muntu abalibwa anaasasulanga Nze Mukama ensimbi, okununula obulamu bwe, balyoke baleme kuttibwa kawumpuli nga babalibwa. 13Buli muntu anaamalanga okubalibwa, anaawanga ekitundu kimu kyakubiri ekya sekeli, omuwendo ogwagerekebwa okusasulwanga mu Kifo Ekitukuvu. Anantoneranga ensimbi ezo ng'ekirabo.#Laba ne Kuv 38:25-26; Mat 17:24 14Buli muntu awezezza emyaka amakumi abiri oba okusingawo, anaamalanga okubalibwa, anampanga omuwendo gw'ensimbi ogwo. 15Omugagga taasasulenga zisingawo bungi, n'omwavu taasasulenga zitawera kitundu kimu kyakubiri ekya sekeli, nga bawaayo ensimbi ezo olw'okubasonyiyisa. 16Olikuŋŋaanya ensimbi ezo, Abayisirayeli ze bawaddeyo olw'okubasonyiyisa, n'ozikozesa emirimu egy'omu Weema ey'okunsisinkanirangamu. Ensimbi ezo, zinaasasulwanga olw'okubasonyiyisa, era zinaabanga ekijjukizo mu maaso gange, Nze Mukama.”
Ebbenseni ey'ekikomo
17Mukama n'agamba Musa nti: 18“Olikola ebbenseni ey'ekikomo, ebe n'ekikondo eky'ekikomo, ogiteeke wakati wa alutaari n'Eweema ey'okunsisinkanirangamu, era ogiteekemu amazzi.#Laba ne Kuv 38:8 19Arooni ne batabani be, be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe. 20Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, oba nga bagenda okusemberera alutaari, kwe bampeerereza ekiweebwayo ekyokebwa, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. 21Banaanaabanga engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kye kiragiro, bo ne bazzukulu baabwe kye banaakuumanga ennaku zonna.”
Omuzigo ogukozesebwa mu kusiiga
22Mukama era n'agamba Musa nti:#Laba ne Kuv 37:29 23“Ddira ebyakawoowo ebisinga obulungi: kilo mukaaga eza mirra ow'amazzi ne kilo ssatu eza kinnamooni awunya obulungi, ne kilo ssatu eza kaani, 24ne kilo mukaaga eza kassiya, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu, ne lita nnya ez'omuzigo ogw'emizayiti, 25obikolemu omuzigo omutukuvu ogw'okusiiganga#30:25 ogw'okusiiganga: Okusiiga oba okufuka ku …, ogutabuddwa ng'ebyakawoowo. 26Oligusiiga ku Weema ey'okunsisinkanirangamu ne ku Ssanduuko ey'Endagaano, 27ne ku mmeeza, ne ku bintu byayo byonna, ne ku kikondo ky'ettaala, ne ku bintu byakyo, ne ku kyoterezo ky'obubaane, 28ne ku alutaari ey'okwokerangako ebiweebwayo, ne ku bintu byayo byonna, ne ku bbenseni, ne ku kikondo kyayo. 29Ebintu ebyo olibitukuza bibe ebitukuvu ennyo, buli ekinaabikoonangako, kinaabeeranga kitukuvu. 30Era olifuka omuzigo ku Arooni ne batabani be n'obatukuza, okumpeerezanga mu bwakabona. 31Oligamba Abayisirayeli nti: ‘Omuzigo guno omutukuvu, gunaabeeranga gwa kufuka ku byange mu mirembe gyammwe gyonna egijja. 32Teguufukibwenga ku bantu ba bulijjo, era temuukolenga gugufaanana, nga mugutabula mu ngeri ye emu. Gwo mutukuvu, era gunaabeeranga mutukuvu gye muli. 33Buli alitabula ogugufaanana, oba buli aligukozesa ku muntu atasaanidde, aliba takyabalirwa mu bantu bange.’ ”
Obubaane
34Mukama n'agamba Musa nti: “Ddira ebyakawoowo akalungi sitakite ne onika, ne galibanumu, awamu n'obubaane obulungi, byonna nga byenkana obuzito, 35obikolemu ekyokwoteza nga kitabuddwa ng'ebikolebwa omutabuzi w'obuwoowo. Kitabulemu omunnyo, okukikuuma nga kirongoofu era kitukuvu. 36Olikitoolako ekitundu n'okisekulasekula nnyo, n'okiteeka mu Weema ey'okunsisinkanirangamu, mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano. Ekyokwoteza ekyo, kinaabeeranga kitukuvu nnyo gye ndi. 37Ekyokwoteza ekyo ky'olikola, temukyekoleranga mmwe, nga mukitabula mu ngeri ye emu. Kinaabeeranga kitukuvu gye ndi, ekyawuliddwa Nze Mukama. 38Buli anaakolanga ekikifaanana, okukikozesa ng'ekyakawoowo, aliba takyabalirwa mu bantu bange.”

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 30: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in