OKUVA E MISIRI 31
31
Abafundi ab'okukola Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama
(Laba ne Kuv 35:30–36:1)
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Nnonze Bezaleeli, mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri ow'omu Kika kya Yuda. 3Era mmujjuzizza mwoyo wange. Mmuwadde amagezi n'okutegeera, n'okumanya okukola emirimu egya buli ngeri: 4okutetenkanya eby'okukola mu zaabu, ne mu ffeeza, ne mu kikomo; 5okusala amayinja ag'omuwendo ag'okuwanga, okwola emiti, n'okukola emirimu egya buli ngeri. 6Era nnonze Aholiyaabu, mutabani wa Ahisamaki ow'omu Kika kya Daani, okukola awamu naye. Era abakozi bonna mbawadde amagezi, balyoke basobole okukola byonna bye mbalagidde: 7Eweema ey'okunsisinkanirangamu, Essanduuko ey'Endagaano, entebe ey'obusaasizi egiriko, n'ebintu byonna eby'omu Weema, 8emmeeza n'ebintu byayo, ekikondo ky'ettaala ekya zaabu omulungi, n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoterezo ky'obubaane; 9alutaari ey'okwokerako ebiweebwayo, era n'ebintu byayo byonna, ebbenseni n'ekikondo kyayo, 10ebyambalo ebikoleddwa obulungi, era ebitukuvu ebya Arooni ne batabani be, bye bambala nga baweereza mu bwakabona; 11omuzigo ogusiigibwa, n'obubaane obuwunya akawoowo, eby'omu Kifo Ekitukuvu. Ebintu ebyo byonna, balibikola nga bwe nkulagidde.”
Sabbaato lunaku lwa kuwummula
12Mukama n'agamba Musa 13okutegeeza Abayisirayeli nti: “Mukuumanga Sabbaato, olunaku olw'okuwummula, kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna egijja, okubalaga mmwe nti Nze Mukama abatukuza. 14Mukuumanga Sabbaato, kubanga lunaku lwammwe lutukuvu. Buli ataalukuumenga, n'amala alukolerako emirimu, alittibwa. 15Ennaku mukaaga ze zinaakolerwangako emirimu. Naye olunaku olw'omusanvu, lunaku lukulu, lwa kuwummula, lwawuliddwa Nze Mukama. Buli akola emirimu ku Sabbaato, alittibwa.#Laba ne Kuv 20:8-11; 23:12; 34:21; 35:2; Leev 23:3; Ma 5:12-14 16Abayisirayeli kyebanaavanga bakuuma Sabbaato, nga ke kabonero ak'endagaano ey'olubeerera. 17Ke kabonero wakati wange n'Abayisirayeli ennaku zonna, kubanga Nze Mukama, nakola eggulu n'ensi mu nnaku mukaaga, ku lunaku olw'omusanvu ne ndekera awo okukola, ne mpummula.”#Laba ne Kuv 20:11
18Katonda bwe yamala okwogera ne Musa ku Lusozi Sinaayi, n'amuwa ebipande ebibiri eby'amayinja, Katonda yennyini bye yawandiikako ebiragiro.
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 31: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.