OKUVA E MISIRI 34
34
Ebipande by'amayinja ebirala
(Laba ne Ma 10:1-5)
1Mukama n'agamba Musa nti: “Bajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka, nje mbiwandiikeko ebigambo ebyali ku bipande by'amayinja ebyasooka, bye wayasa. 2Enkya ku makya, obe nga weeteeseteese, oyambuke ku Lusozi Sinaayi, weeyanjule gye ndi ku ntikko yaalwo. 3Tewaba muntu ayambuka naawe, era tewaba n'omu alabikako mu bitundu byonna eby'olusozi, era tewaba endiga wadde ente eziriira mu maaso g'olusozi olwo.”
4Musa n'abajja ebipande bibiri eby'amayinja, ebiri nga biri ebyasooka. Enkeera ku makya n'abikwata, n'ayambuka nabyo ku Lusozi Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira.
5Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'ayatula erinnya lye, MUKAMA. 6Mukama n'ayita mu maaso ga Musa n'ayatula nti: “Nze MUKAMA. Mukama, Katonda omusaasizi era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, alina okwagala okungi n'obwesigwa,#Laba ne Kuv 20:5-6; Kubal 14:18; Ma 5:9-10; 7:9-10 7addiramu abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa okwonoona, obujeemu n'ebibi, atalema kubonereza oyo azzizza omusango, era abonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku bannakasatwe ne ku bannakana, olw'ebibi bya bazadde baabwe.”
8Musa n'ayanguwa, n'akutamya omutwe gwe, n'asinza. 9N'agamba nti: “Ayi Mukama, oba nga ddala nsiimibwa mu maaso go, nkwegayiridde, genda wamu naffe. Abantu bano ba mitima mikakanyavu, naye tusonyiwe ebibi byaffe n'okwonoona kwaffe, era tukkirize okuba abantu bo.”
Endagaano ezzibwa buggya
(Laba ne Kuv 23:14-19; Ma 7:1-5; 16:1-17)
10Mukama n'agamba nti: “Kaakano nkola endagaano n'Abayisirayeli. Mu maaso gaabwe bonna, nnaakolanga ebyamagero ebitakolebwanga mu nsi yonna, wadde mu ggwanga eddala lyonna. Era abantu bonna ababeetoolodde, banaalabanga ebikulu, Nze Mukama bye nkola, kubanga kye ndibakolera mmwe kya ntiisa. 11Mukuumenga ebyo bye mbalagira leero. Nga mmwe mutuuka, ndigobawo Abaamori, n'Abakanaani, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. 12Mwekuume, muleme okukola endagaano n'abantu abali mu nsi gye mulagamu, endagaano eyo ereme kubasuula mmwe mu mutego. 13Naye mulimenya alutaari zaabwe, mulizikiriza empagi zaabwe, era mulitemaatema ebifaananyi bya lubaale waabwe Asera.#Laba ne Ma 16:21
14“Temuubengako mulala gwe musinza nga Katonda, kubanga Nze Mukama, ndi wa buggya, sivuganyizibwa. 15Temuukolenga ndagaano na bannansi, sikulwa nga bwe baliba bawaayo ebitambiro eri balubaale baabwe be basinza, balibayita okulya ku bitambiro ebyo. 16Era sikulwa nga muwasiza batabani bammwe abakazi mu bantu abo, abakazi ne baleetera batabani bammwe okunvaako, ne basinza balubaale baabwe.
17“Temwekolerenga balubaale mu kyuma ekisaanuuse.#Laba ne Kuv 20:4; Leev 19:4; Ma 5:8; 27:15 18Mukuumenga Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukusiddwa. Ennaku musanvu mu mwezi gwa Abibu, munaalyanga migaati egitazimbulukusiddwa, nga bwe nabalagira, kubanga mu mwezi ogwo, mwe mwaviira mu Misiri.#Laba ne Kuv 12:14-20; Leev 23:6-8; Kubal 28:16-25 19Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, anaabanga wange, era ne mu nsolo zammwe, buli nnume esooka okuzaalibwa k'ebe ndiga oba nte, eneebanga yange.#Laba ne Kuv 13:2 20Naye endogoyi esooka okuzaalibwa, munaaginunulanga nga muwaayo omwana gw'endiga. Bwe munaabanga temwagala kuginunula, munaagimenyanga ensingo. Buli mwana ow'obulenzi omuggulanda, munaamununulanga. Tewaabenga ajja mu maaso gange ngalo nsa.#Laba ne Kuv 13:13
21“Mulina ennaku mukaaga ez'okukoleramu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu temuukolenga mirimu, ne bwe bibanga biseera bye balimiramu oba bye bakunguliramu.#Laba ne Kuv 20:9-10; 23:12; 31:15; 35:2; Leev 23:3; Ma 5:13-14
22“Mukuumanga Embaga ey'Amakungula, bwe mutandikanga okukungula ebibala byammwe ebisooka eby'eŋŋaano, era mukuumanga Embaga ey'Ensiisira, nga mutereka ebibala byammwe, ku nkomerero y'amakungula.#Laba ne Leev 23:15-21,39-43; Kubal 28:26-31
23“Emirundi esatu buli mwaka, abasajja bonna mu mmwe banajjanga okunsinza Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli. 24Bwe ndimala okugoba ab'amawanga amalala nga mulaba, ne ngaziya ensalo z'ensi yammwe, tewaabenga n'omu agezaako kuwangula nsi yammwe, bwe munaabanga muzze okunsinza nze Mukama, Katonda wammwe, emirundi esatu buli mwaka.
25“Ekitambiro ky'ensolo kye mumpa, temuukimpeerengako migaati gizimbulukusiddwa. Era temuukuumenga okutuusa enkeera ekitundu ky'ensolo gye mutta ku Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako.#Laba ne Kuv 12:10 26Muleetanga mu nnyumba ya Mukama, Katonda wammwe, ebibala by'ennimiro zammwe ebisooka okukungulwa.
“Temuufumbenga mbuzi nto mu mata ga nnyina waayo.”#Laba ne Ma 14:21; 26:2
27Mukama n'agamba Musa nti: “Wandiika ebigambo ebyo, kubanga ebigambo ebyo bye neesigamizzaako endagaano gye nkoze naawe, era ne Yisirayeli.”
28Musa n'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro, nga talya era nga tanywa. N'awandiika ku bipande by'amayinja ebigambo eby'endagaano, Ebiragiro Ekkumi.
Musa akka okuva ku Lusozi Sinaayi
29Musa bwe yakka okuva ku Lusozi Sinaayi, ng'akutte ebipande by'amayinja, ebiriko Ebiragiro Ekkumi, teyamanya nti ekyenyi kye kyali kyakaayakana, kubanga yali ayogedde ne Mukama.#Laba ne 2 Kor 3:7-16 30Arooni n'Abayisirayeli bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng'amaaso ge gaakaayakana, ne batya okumusemberera. 31Naye Musa n'abayita, Arooni n'abakulembeze bonna ab'ekibiina ne bagenda gy'ali, Musa n'ayogera nabo. 32Oluvannyuma Abayisirayeli bonna ne basembera w'ali. Musa n'abawa ebiragiro byonna, Mukama bye yamuweera ku Lusozi Sinaayi. 33Musa bwe yamala okwogera nabo, ne yeebikka ekitambaala mu maaso. 34Naye buli lwe yayingiranga mu Weema Entukuvu okwogera ne Mukama, nga yeggyako ekitambaala, okutuusa lwe yafulumanga. Bwe yafulumanga, n'ategeezanga Abayisirayeli byonna Mukama bye yabanga amulagidde okwogera. 35Abayisirayeli baalabanga ekyenyi kye nga kyakaayakana. Olwo Musa ne yeebikkanga ekitambaala mu maaso, okutuusa lwe yayingiranga okwogera ne Mukama.
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 34: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.