YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 33

33
1Mukama n'agamba Musa nti: “Ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muve mu kifo kino, muyingire mu nsi gye nalayirira Aburahamu, Yisaaka ne Yakobo, nga ŋŋamba nti: ‘Ndigiwa bazzukulu bammwe.’#Laba ne Nta 12:7; 26:3; 28:13 2Ndituma malayika wange okubakulemberamu mmwe, era ndigigobamu Abakanaani, n'Abaamori, n'Abahiiti, n'Abaperizi, n'Abahiivi, n'Abayebusi. 3Muyingire mu nsi engagga era engimu. Naye nze sijja kugenda wamu nammwe, sikulwa nga mbazikiririza mu kkubo, kubanga muli bantu ba mitima mikakanyavu.”
4Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebinakuwaza ne banakuwala, ne wataba n'omu ayambala bya kwewoomya. 5Mukama yagamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Muli bantu ba mitima mikakanyavu. Mbeera kugenda nammwe wadde akaseera akatono, nandibazikirizza. Kale kaakano mweyambulemu eby'okwewoomya, ndyoke ndabe kye nnaabakolera.’ ” 6Abayisirayeli bwe baamala okuva ku Lusozi Horebu, tebaddamu kwambala bya kwewoomya.
Eweema entukuvu
7Abayisirayeli buli lwe baasiisiranga, Musa yatwalanga Eweema Entukuvu, n'agisimba walako ebweru w'olusiisira. Yagituuma Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Era buli muntu eyayagalanga okwebuuza ku Mukama, yagendanga gy'eri, ebweru w'olusiisira. 8Musa buli lwe yafulumanga olusiisira okulaga mu Weema eyo, abantu bonna baasitukanga, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne batunuulira Musa, okutuusa lwe yamalanga okuyingiramu. 9Musa bwe yamalanga okuyingira mu Weema Entukuvu, empagi ey'ekire yakkanga, n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema eyo, Mukama n'ayogera ne Musa. 10Abantu bonna bwe baalabanga empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema Entukuvu, nga basituka, ne basinziza ku miryango gy'eweema zaabwe. 11Mukama n'ayogeranga ne Musa butereevu, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. Oluvannyuma Musa yaddangayo mu lusiisira. Naye omuweereza we, omuvubuka Yoswa, mutabani wa Nuuni, yasigalanga mu Weema Entukuvu.
Mukama asuubiza okuba awamu n'abantu be
12Musa n'agamba Mukama nti: “Kale oŋŋamba nti: ‘Twala abantu bano.’ Naye n'otombuulira gw'onootuma wamu nange, ate nga wagamba nti ommanyi bulungi, era nsiimibwa mu maaso go. 13Kale kaakano, nkwegayiridde, oba nga nsiimibwa mu maaso go, ntegeeza by'oyagala nkole, ndyoke nkuweereze, nnyongere okusiimibwa mu maaso go. Era jjukira ng'eggwanga lino bantu bo.”
14Mukama n'agamba nti: “Nja kugenda wamu naawe, oleme okweraliikirira.”
15Musa n'amugamba nti: “Ggwe bw'otogenda wamu nange, totuleka kuva wano, 16kubanga balimanya batya nti nze n'abantu bo, tusiimibwa mu maaso go, bw'otogenda wamu naffe? Ggwe okubeera awamu naffe, kye kinaatwawulanga mu bantu abalala bonna ku nsi.”
17Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kukola nga bw'osabye, kubanga nkumanyi bulungi, era osiimibwa mu maaso gange.” 18Musa n'asaba nti: “Nkwegayiridde, ndaga ku kitiibwa kyo.”
19Mukama n'addamu nti: “Nja kuyita mu maaso go, olabe obulungi bwange bwonna, era nja kwatulira mu maaso go erinnya lyange: Nze MUKAMA. Nkwatirwa ekisa oyo gwe mba njagadde okukwatirwa ekisa, era nsaasira oyo gwe mba njagadde okusaasira.”#Laba ne Bar 9:15 20Era n'agamba nti: “Naye toyinza kundaba mu maaso, kubanga tewali muntu ayinza kundaba, n'aba omulamu. 21Naye waliwo ekifo ekiri okumpi nange, w'onooyimirira ku jjinja. 22Bwe nnaaba mpitawo mu kitiibwa kyange, nja kukuteeka mu mwagaanya oguli mu jjinja, nkubikkeko ekibatu kyange, okutuusa nga mmaze okuyitawo, 23olwo nja kuggyawo ekibatu kyange, olabe amabega gange. Naye tondabe mu maaso.”

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 33: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in