kubanga balimanya batya nti nze n'abantu bo, tusiimibwa mu maaso go, bw'otogenda wamu naffe? Ggwe okubeera awamu naffe, kye kinaatwawulanga mu bantu abalala bonna ku nsi.”
Mukama n'agamba Musa nti: “Nja kukola nga bw'osabye, kubanga nkumanyi bulungi, era osiimibwa mu maaso gange.”