YouVersion Logo
Search Icon

OKUVA E MISIRI 36

36
1“Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abakozi abalala, Mukama b'awadde amagezi n'okutegeera, era abamanyi okukola buli kintu ekyetaagibwa okuzimba Eweema Entukuvu, bajja kukola byonna nga Mukama bwe yalagira.”
Abantu baleeta ebirabo bingi
2Musa n'ayita Bezaleeli ne Oholiyaabu n'abalala bonna abakugu, Mukama be yawa amagezi abaali baagala okukola. 3Musa n'abakwasa ebirabo byonna, Abayisirayeli bye baaleeta okuzimba Eweema Entukuvu. Era abantu ne bongera buli nkya okuleetera Musa ebiweebwayo, awatali kuwalirizibwa. 4Awo abakugu bonna abaali ku mulimu ogw'okuzimba Eweema Entukuvu, ne bavaayo, 5ne bagamba Musa nti: “Abantu baleeta bingi, ebisukkiridde ku byetaagibwa okumala omulimu, Mukama gwe yalagira okukola.”
6Musa n'alagira ne balangirira mu lusiisira lwonna nti: “Abasajja n'abakazi balekere awo okuwaayo eby'okukola ku Weema Entukuvu.” Abantu ne bayimirizibwa okuleeta ebintu, 7kubanga ebyali bireeteddwa, byali bingi okusinga ebyali byetaagibwa okumaliriza omulimu gwonna.
Okuzimba Eweema Entukuvu
(Laba ne Kuv 26:1-37)
8Abakozi abaali basingira ddala okumanya omulimu, be baakola Eweema Entukuvu. Baagikola mu mitanda kkumi egikoleddwa mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, ne bagitungako bakerubi. 9Emitanda gyonna gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na bbiri obuwanvu, mita bbiri obugazi. 10Emitanda etaano ne bagigatta gyokka, n'emitanda emirala etaano ne bagigatta gyokka. 11Ne bakola eŋŋango ez'olugoye olwa bbululu ku lukugiro lwa buli mutanda ogw'oku mabbali w'emitanda emigatte. 12Ne bateeka eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali ku buli mitanda emigatte, eŋŋango ez'oludda olumu nga zitunuuliraganye n'ez'oludda olulala. 13Ne bakola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ne bagatta wamu emitanda gyombi, ne bakolamu Eweema Entukuvu emu.
14Ate ne bakola eweema ya mitanda kkumi na gumu, egy'olugoye olukoleddwa mu byoya by'embuzi, ebikke ku Weema Entukuvu. 15Emitanda ekkumi n'ogumu gyali gyenkanankana: nga buli gumu gwa mita kkumi na ssatu obuwanvu, ne mita bbiri obugazi. 16Emitanda etaano ne bagigatta wamu gyokka. 17Ne bakola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali, ku buli mitanda emigatte. 18Ne bakola ebikwaso amakumi ataano eby'ekikomo, bigatte Eweema ebeere emu. 19Ne bakolayo n'eby'okubikka ku Weema ebirala bibiri: ekimu nga kya maliba ga ndiga eza sseddume, amannyike amamyufu, n'ekirala ekyokungulu, nga kya maliba ga mbuzi.
20Ne bakola embaawo z'Eweema Entukuvu ez'obusimba, ez'omuti ogwa akasiya. 21Buli lubaawo lwali lwa mita nnya obuwanvu, ne sentimita nkaaga mu mukaaga obugazi; 22nga luliko ennimi bbiri, embaawo kwe zisobola okugattirwa. 23Baakola embaawo amakumi abiri, ez'oludda olw'ebukiikaddyo. 24Era ne bakola ebinnya amakumi ana ebya ffeeza wansi waazo, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo, omw'okuteeka ennimi zaalwo ebbiri. 25Ne bakola embaawo amakumi abiri ez'oludda olw'ebukiikakkono obw'Eweema Entukuvu, 26n'ebinnya amakumi ana ebya ffeeza, ebinnya bibiri wansi wa buli lubaawo. 27Ez'oku ludda olw'Eweema Entukuvu olw'emabega mu bugwanjuba, ne bakola embaawo mukaaga, 28n'embaawo bbiri ez'omu nsonda. 29Ezo zombi baazigatta okuva wansi okutuukira ddala waggulu, ne bazisiba n'empeta emu. Bwe batyo bwe baakola embaawo zombi ez'omu nsonda ebbiri. 30Zaali embaawo munaana n'ebinnya byazo kkumi na mukaaga, bibiri wansi wa buli lubaawo.
31Era baakola emikiikiro kkumi n'etaano egy'omuti ogwa akasiya, etaano ku mbaawo ez'oku ludda olumu olw'Eweema Entukuvu, 32etaano ku mbaawo ez'oku ludda olw'emabega olw'ebugwanjuba. 33Omukiikiro ogwa wakati w'embaawo baaguyisaamu erudda n'erudda. 34Embaawo ne bazibikkako zaabu, era ne baziteekako empeta eza zaabu, ez'okusiba emikiikiro, era nagyo ne bagibikkako zaabu.
35Ne bakola olutimbe mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, ne balutungako bakerubi. 36Ne bakola empagi nnya ez'omuti ogwa akasiya, okuwanirira olutimbe, ne bazibikkako zaabu, era ne baziteekako amalobo aga zaabu. Ne bazikolera ebinnya bina ebya ffeeza. 37Omulyango oguyingira mu Weema Entukuvu ne bagukolera olutimbe, mu lugoye olulungi, olulukiddwa mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era olutungiddwako omudalizo. 38Olutimbe olwo ne balukolera empagi ttaano. Amalobo gaazo n'emitwe gyazo, n'emiziziko gyazo, ne babibikkako zaabu. Ne bazikolera ebinnya bitaano eby'ekikomo.

Currently Selected:

OKUVA E MISIRI 36: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in