OKUVA E MISIRI 38
38
Okukola alutaari ey'okwokerako ebiweebwayo
(Laba ne Kuv 27:1-8)
1N'akola alutaari ey'omuti ogwa akasiya, ey'okwokerangako ebiweebwayo. Yali yenkanankana ku njuyi zonna: mita bbiri n'ebitundu bibiri obuwanvu, ne mita bbiri n'ekitundu obugazi, ate mita emu n'ebitundu bisatu obugulumivu. 2N'akola amayembe gaayo ku nsonda zaayo ennya, nga ga muti gwe gumu n'ogwayo, n'agibikkako ekikomo. 3Era n'akola eby'okukozesanga ku alutaari: entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, ne wuuma, n'ensaniya. Ebintu byayo byonna, n'abikola nga bya kikomo. 4N'agikolera ekitindiro ekiruke eky'ekikomo, n'akiteeka wansi w'omugo gw'alutaari, ne kibeera wakati w'obugulumivu bwayo. 5N'akola empeta nnya, n'aziteeka ku nsonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okusiba emisituliro. 6N'akola emisituliro egy'omuti ogwa akasiya, n'agibikkako ekikomo, 7n'agiyingiza mu mpeta ku buli ludda olw'alutaari, okugisitulirangako. Alutaari yagikola nga ya mbaawo, era ng'erina ebbanga munda.
Okukola ebbenseni ey'ekikomo
(Laba ne Kuv 30:18)
8N'akola ebbenseni ey'ekikomo n'ekikondo kyayo eky'ekikomo, ng'akozesa endabirwamu ez'abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.#Laba ne Kuv 30:18
Okukola oluggya olw'Eweema Entukuvu
(Laba ne Kuv 27:9-19)
9N'akola oluggya lw'Eweema Entukuvu, n'alwetoolooza entimbe ez'olugoye olulukiddwa obulungi. Ku ludda olw'ebukiikaddyo, entimbe zaali za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, 10nga ziwaniriddwa amalobo n'oluuma ebya ffeeza ku bikondo byazo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo. 11Entimbe zaali kye kimu ne ku ludda olw'ebukiikakkono, nga za mita amakumi ana mu nnya obuwanvu, nga ziwaniriddwa amalobo n'oluuma ebya ffeeza, ku bikondo byazo amakumi abiri eby'ekikomo, ebisimbiddwa mu binnya byabyo amakumi abiri eby'ekikomo. 12Ku ludda olw'ebugwanjuba, entimbe zaali za mita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, n'ebikondo kkumi n'ebinnya kkumi, n'amalobo n'oluuma ebya ffeeza. 13Ku ludda olw'ebugwanjuba olwaliko omulyango, oluggya lwali lwa mita amakumi abiri mu bbiri obugazi. 14-15Ku buli ludda olw'omulyango waaliyo entimbe za mita mukaaga n'ebitundu mukaaga, ebikondo bisatu, n'ebinnya bisatu. 16Entimbe zonna okwetooloola oluggya zaali zirukiddwa mu lugoye olulungi. 17Ebinnya by'ebikondo byali bya kikomo, ate amalobo n'oluuma n'emitwe gy'ebikondo bya ffeeza. 18Olutimbe olw'omu mulyango lwali lwa lugoye olulungi olulukiddwa mu langi eya bbululu n'eya kakobe n'Emmyufu, nga lutungiddwako omudalizo, nga lwa mita mwenda obuwanvu ne mita bbiri obugulumivu okwenkanankana n'ez'entimbe ez'oluggya. 19Lwali luwaniriddwa ku bikondo bina, ebiri mu binnya bina eby'ekikomo. Amalobo gaabyo n'emitwe gyabyo, n'oluuma lwabyo byali bya ffeeza. 20Enkondo zonna ez'eweema n'entimbe okwetooloola oluggya, zaali za kikomo.
Ebintu ebikozesebwa mu Weema Entukuvu
21Luno lwe lukalala lw'ebintu ebikozesebwa mu Weema Entukuvu, eyaterekebwamu ebipande eby'amayinja, okwawandiikibwa ebiragiro ekkumi. Musa ye yalagira Abaleevi okukola olukalala olwo, nga balabirirwa Yitamaari, mutabani wa Arooni kabona.
22Bezaleeli mutabani wa Wuuri, era muzzukulu wa Huri, ow'omu Kika kya Yuda, ye yakola byonna, Mukama bye yalagira Musa. 23Era yayambibwako Oholiyaabu mutabani wa Ahisamaki, ow'omu Kika kya Daani, omusazi w'amayinja omutetenkanya, era amanyi okudaliza engoye ennungi, enjeru, n'eza bbululu, n'eza kakobe, n'Emmyufu.
24Zaabu yenna eyaweebwayo olw'omulimu ogw'okukola Eweema Entukuvu, yaweza talanta amakumi abiri mu mwenda, ne sekeli lusanvu mu asatu, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu. 25Ate ffeeza eyava mu abo abaabalibwa mu kubalibwa kw'abantu, yaweza talanta kikumi#38:24-25 talanta kikumi: Ze kilo nga 3,430 mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu. Ate talanta yabangamu sekeli ng'enkumi ssatu., ne sekeli lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.#Laba ne Kuv 30:11-16
26Abo abeetaba mu kubalibwa kw'abantu, be bo abaali bawezezza emyaka egy'obukulu amakumi abiri n'okusingawo. Baali emitwalo nkaaga, mu enkumi ssatu, mu bitaano mu ataano. Buli omu yawangayo omuwendo ogwagerekebwa, ogwa beka emu, kye kitundu kya sekeli, mu bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.#Laba ne Mat 17:24 27Talanta kikumi eza ffeeza, ze zaakozesebwa okukola ebinnya ekikumi ebya Weema Entukuvu n'eby'olutimbe, talanta emu buli kinnya. 28Sekeli olukumi mu olusanvu mu ensanvu mu ettaano eza ffeeza eyasigalawo, Bezaleeli n'azikolamu obuziziko n'amalobo eby'oku bikondo, era n'azikozesa okubikka emitwe gy'ebikondo ebyo. 29Ekikomo ekyaweebwayo eri Mukama kyaweza talanta lusanvu ne sekeli enkumi bbiri mu bina. 30Ekyo kye yakozesa okukola ebinnya by'emyango egy'oluggi lw'Eweema Entukuvu, n'okukola alutaari ey'ekikomo, n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'oku alutaari, 31n'ebinnya okwetooloola oluggya, n'ebinnya eby'emyango egy'omulyango gw'oluggya, n'enkondo zonna okwetooloola oluggya.
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 38: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.