OKUVA E MISIRI 39
39
Okukola ebyambalo bya bakabona
(Laba be Kuv 28:1-14)
1Ne bakozesa ewuzi eza langi eya bbululu n'eya kakobe, n'Emmyufu, okukola ebyambalo ebirukiddwa obulungi, eby'okwambalibwanga bakabona, nga baweereza mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera Arooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.
2Ne bakola ekkanzu mu lugoye olulukiddwa obulungi n'amagezi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu. 3Ne baweesa zaabu, ne bamufuula ow'oluwewere, ne bamusalamu obutundu obuli ng'obuwuzi, okubutunga mu lugoye olwa bbululu n'olwa kakobe n'olumyufu, n'olweru, mu ngeri ey'amagezi. 4Ne bakola ku bibegabega by'ekkanzu obuwuzi bubiri obugatta enjuyi zaayo zombi: olw'omu maaso n'olw'emabega. 5Olukoba olulukiddwa obulungi n'amagezi mu lugoye lwe lumu nga yo, ne lutungirwa ddala ku yo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
6Ne bateekateeka amayinja ag'omuwendo agayitibwa onika, ne bagateeka mu mbu za fuleemu eza zaabu, nga bagoozeeko amannya ga batabani ba Yisirayeli. 7Ne bagateeka ku buwuzi obw'oku bibegabega by'ekkanzu, okujjuukirirangako batabani ba Yisirayeli, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Okukola ekyambalo eky'omu kifuba
(Laba ne Kuv 28:15-30)
8Ne bakola ekyambalo eky'omu kifuba, mu nkola ye emu ey'amagezi nga gye baakolamu ekkanzu: mu lugoye olulukiddwa obulungi mu wuzi eza langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era n'eza zaabu. 9Kyali kyenkanankana enjuyi zonna era nga kifunyiddwamu wabiri: sentimita amakumi abiri mu bbiri obuwanvu, ne sentimita amakumi abiri mu bbiri obugazi. 10Baakiteekamu ennyiriri nnya ez'amayinja ag'omuwendo. Olunyiriri olusooka lwali lwa sarudiyo ne topaazi ne safiro ne karubunkulo. 11Olunyiriri olwokubiri lwali lwa emeraludo ne safiro ne dayamondi. 12Olunyiriri olwokusatu lwali lwa yakinto ne agate ne ametisto. 13N'olunyiriri olwokuna lwali lwa berulo ne onika ne yasipero, nga gateekeddwa mu mbu za fuleemu eza zaabu. 14Buli limu ku mayinja ago ekkumi n'abiri, ne lyolebwako erinnya limu limu ku mannya ga batabani ba Yisirayeli, okujjukiranga ebika bya Yisirayeli ekkumi n'ebibiri. 15Ne bakola emikuufu egya zaabu omulungi, egy'oku kyambalo eky'omu kifuba, nga girangiddwa ng'emiguwa. 16Ne bakola embu bbiri eza fuleemu eza zaabu n'empeta bbiri eza zaabu. Empeta ezo ebbiri ne baziteeka ku nsonda zombi eza waggulu ez'ekyambalo eky'omu kifuba. 17Ne bateeka emikuufu gyombi egya zaabu mu mpeta ebbiri ku nsonda zombi ez'ekyambalo eky'omu kifuba. 18N'enkomerero endala ez'emikuufu gyombi, ne bazisiba ku mbu ebbiri eza fuleemu. Bwe batyo ekyambalo eky'omu kifuba ne bakigatta ku buwuzi obw'ekibegabega ky'ekkanzu, ku ludda lwayo olw'omu maaso. 19Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku nsonda zombi eza wansi ez'ekyambalo eky'omu kifuba, ku ludda lwakyo olwomunda, okuliraana ekkanzu. 20Ne bakola empeta endala bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku buwuzi bwombi obw'oku bibegabega by'ekkanzu, mu kitundu kyabwo ekya wansinsi, ku ludda lw'ekkanzu olw'omu maaso, okumpi ne we yeeyasizaamu, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu oluluke obulungi. 21Nga Mukama bwe yalagira Musa, ne baddira akawuzi aka langi eya bbululu, ne basiba empeta z'ekyambalo eky'omu kifuba, ku mpeta z'ekkanzu, ekyambalo eky'omu kifuba kiryoke kibeere ku lukoba lw'ekkanzu olulukiddwa obulungi, era kireme kusumululwangako.
Okukola ebyambalo ebirala ebya bakabona
(Laba ne Kuv 28:31-43)
22Ne bakola omunagiro gw'oku kkanzu ogulukiddwa nga gwa langi ya bbululu gwonna. 23Ekituli omutwe mwe guyita, ne kinywezebwa n'olukugiro okukyetooloola, kireme kuyuzibwa. 24Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga ag'olugoye olulukiddwa obulungi mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu. 25Ne bakola n'endege eza zaabu omulungi, ne baziteeka wakati w'amakomamawanga, 26nga batobeka endege n'ekkomamawanga, n'endege n'ekkomamawanga, okwetooloola ebirenge by'omunagiro ogw'okwambalanga mu kuweereza, nga Mukama bwe yalagira Musa.
27Ne bakolera Arooni ne batabani be amasaati, mu lugoye olulukiddwa obulungi. 28Ne babakolera n'ekiremba eky'oku mutwe, n'enkuufiira, n'empale ennyimpi, byonna eby'engoye ezirukiddwa obulungi, 29n'olukoba olw'olugoye olulukiddwa obulungi mu langi eya bbululu, n'eya kakobe, n'Emmyufu, era okutungiddwa omudalizo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
30Ne bakola akapande aka zaabu omulungi, akabonero akategeeza okuweebwayo, ne bakoolako ebigambo bino nti: “AWEEREDDWAYO ERI MUKAMA.” 31Ne bakasiba n'akawuzi aka langi eya kakobe mu maaso g'ekiremba eky'oku mutwe, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Okumaliriza omulimu
(Laba ne Kuv 35:10-19)
32Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama ne guggwa. Abayisirayeli ne bakola buli kintu nga Mukama bwe yalagira Musa. 33Ne baleetera Musa Eweema Entukuvu n'ebintu byayo, byonna: amalobo gaayo, embaawo zaayo, emikiikiro gyayo, ebikondo byayo, n'ebinnya byayo, 34eky'okugibikkako eky'amaliba g'embuzi, n'olutimbe olugyawulamu; 35Essanduuko y'Endagaano n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'obusaasizi; 36emmeeza n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egiweebwayo eri Katonda; 37ekikondo ky'ettaala, ekya zaabu omulungi, ettaala zaakyo, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta g'ettaala; 38alutaari eya zaabu, omuzigo ogusiigibwa, obubaane obuwunya akawoowo, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema Entukuvu, 39alutaari ey'ekikomo, n'ekitindiro kyayo eky'ekikomo, emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, ebbenseni ne ky'etuulako; 40entimbe ez'okutimba oluggya n'ebikondo byazo, n'ebinnya; olutimbe olw'omu mulyango gw'oluggya, n'emiguwa gyalwo, n'enkondo zaalwo; n'ebintu byonna eby'okukozesa mu Weema Entukuvu ey'okusisinkanirangamu Mukama; 41ebyambalo ebirungi ebya bakabona eby'okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ebyo bye byambalo ebitukuvu, Arooni ne batabani be bye bambala nga baweereza mu bwakabona. 42Abayisirayeli baakola omulimu gwonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 43Musa n'akebera omulimu gwonna, n'alaba nga bagumalirizza, era nga bagukoledde ddala nga Mukama bwe yalagira. Musa n'abasabira omukisa.
Currently Selected:
OKUVA E MISIRI 39: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.