EKY'ABALEEVI 12
12
Okutukuzibwa kw'abakazi nga bamaze okuzaala
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Gamba Abayisirayeli nti omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, ennaku omusanvu eziddirira, taabenga mulongoofu, nga bw'ataba mulongoofu mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi. 3Ku lunaku olw'omunaana, omwana anaakomolebwanga.#Laba ne Nta 17:12; Luk 2:21 4Olwo omukazi oyo anaamalanga ennaku amakumi asatu mu ssatu ng'abalibwa nti tannatukuzibwa, olw'omusaayi ogwamuvaamu ng'azaala. Taakwatenga ku kintu kitukuvu, wadde okuyingira mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe zinaggwangako. 5Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, anaamalanga ennaku kkumi na nnya nga si mulongoofu, nga bw'aba mu biseera bye ebya buli mwezi. Olwo anaamalanga ennaku endala nkaaga mu mukaaga ng'abalibwa nti tannatukuzibwa olw'omusaayi ogwamuvaamu ng'azaala.
6“Awo ennaku ze ez'okutukuzibwa bwe zinaggwangako, ez'omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala, omukazi oyo anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, gube ekitone ekiweebwayo ekyokebwa, n'enjiibwa, oba ejjiba etto, okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 7Kabona anaawangayo ekitone ekyo eri Mukama n'addaabiririza omukazi oyo, omukazi oyo n'atukuzibwa olw'omusaayi ogwamuvaamu. Eryo lye tteeka erifuga omukazi azaala omwana, ow'obulenzi oba ow'obuwala.
8“Omukazi bw'aba tasobola kuleeta mwana gwa ndiga olw'enfuna ye entono, anaaleetanga amayiba amato abiri, oba enjiibwa bbiri, emu ebe ekiweebwayo ekyokebwa, n'endala ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaamuddaabiririzanga, n'aba mulongoofu.”#Laba ne Luk 2:24
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 12: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.