EKY'ABALEEVI 13
13
Amateeka ku ndwadde z'olususu
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba, oba ejjute, oba embalabe erungudde, ku lususu lwe, nga kiyinza okufuuka endwadde y'ebigenge, anaaleetebwanga eri Arooni kabona, oba eri omu ku bakabona ab'olulyo lwa Arooni. 3Kabona anaakeberanga endwadde eri ku lususu. Obwoya obuli awalwadde bwe bunaabanga bufuuse obweru, n'endwadde ng'erabika eyingidde munda okuyisa olususu, eyo nga ye ndwadde y'ebigenge. Awo kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. 4Naye ekizimba ekirungudde bwe kiba ekyeru, nga kirabika tekiyingidde munda kuyisa lususu, n'obwoya nga tebufuuse bweru, kabona anaakuumiranga omuntu oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. 5Awo kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Bw'anaalabanga ng'endwadde esigadde nga bwe yali, teyeeyongedde kubuna walala ku lususu, anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku endala musanvu. 6Kabona anaamukeberanga nate ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eba ng'ekendedde, era nga teyeeyongedde kubuna walala ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, alina kizimba buzimba. Awo omuntu oyo anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu. 7Naye ekizimba bwe kineeyongeranga okubuna awalala ku lususu, nga kabona amaze okumukebera n'okumulangirira bw'ali omulongoofu, anaddangamu okweyanjula eri kabona. 8Kabona anaddangamu okumukebera. Ekizimba bwe kiba nga kibunye awalala ku lususu, anaamulangiriranga nti si mulongoofu, nga by'alina bye bigenge.
9“Omuntu ng'akwatiddwa endwadde y'ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona, 10n'amukebera. Bw'aba n'ekizimba ekyeru ku lususu lwe, ekyerusizza n'obwoya, era ng'omubiri gwesaliridde awazimbye, 11ebyo nga bye bigenge ebitawona ku lususu lwe. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Tekyetaagisa kumukuumira mu kifo yekka, kubanga ddala oyo si mulongoofu. 12Ebigenge bwe bisaasaana ne bibuna omulwadde, okuva ku mutwe okutuuka ku bigere, 13kabona anaamukeberanga. Bw'anaalabanga ng'ebigenge bibunye omubiri gwe gwonna, anaamulangiriranga nti mulongoofu. Olususu lwonna bwe luba lufuuse lweru, oyo abalibwa nti mulongoofu. 14Naye bw'anaalabikangako ebbwa, taabenga mulongoofu. 15Kabona anaamukeberanga nate. Bw'anaalabanga ebbwa, anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebbwa bye bigenge. Olwo omuntu oyo si mulongoofu. 16Naye ebbwa bwe liwona ne waddawo obupeeruufu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona, 17kabona n'addamu okumukebera. Awaali ebbwa bwe waba nga wapeeruuse, oyo nga mulongoofu, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
18“Omuntu bw'anaabanga n'ejjute ne liwona, 19naye oluvannyuma awaali ejjute ne waddawo ekizimba ekyeru, oba ebbala erimyukirivu, omuntu oyo anaagendanga eri kabona. 20Kabona anaamukeberanga. Bwe kinaalabikanga ng'ebbala liyingidde munda okuyisa olususu, n'obwoya bwawo nga bweruse, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Eyo ye ndwadde y'ebigenge efulumye mu jjute. 21Naye kabona bw'anaakeberanga nga tewali bwoya bweru, era nga teweesimye kuyisa lususu, naye nga langi yaawo ntangaavu, olwo kabona anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. 22Ebbala bwe linaabunanga awalala ku lususu, olwo kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu, mulwadde. 23Naye ebbala bwe linaakomanga awo, ne litabuna walala, eyo nga ye nkovu y'ejjute eriwonye. Awo kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
24“Omuntu bw'anaayokebwanga omuliro, omubiri ogwokeddwa ne gweruka, oba ne wafuuka aweeruyeru era awamyukirivu, 25kabona anaamukeberanga. Obwoya mu kifo ekyo bwe bunaafuukanga obweru, era ne kirabika nga weesimye okuyisa olususu, ebyo bye bigenge ebifulumye awaayokebwa. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. 26Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba nga tewali bwoya bweru, era nga teweesimye kuyisa lususu, naye nga langi yaawo ntangaavu, kabona anaamukuumiranga mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. 27Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Awalungudde bwe wanaabunanga awalala ku lususu, eneebanga ndwadde ya bigenge. Kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. 28Naye awalungudde bwe wanaakomanga awo, ne wateeyongera kubuna walala, era nga langi yaawo ntangaavu, ebyo nga si bigenge. Era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu, kubanga eyo nkovu ya muliro.
29“Omusajja oba omukazi bw'abanga n'endwadde ku mutwe oba ku kalevu, 30kabona anaagikeberanga. Bw'eneerabikanga ng'esimye okuyisa ku lususu, era ng'enviiri ezirimu za kyenvu, era nga za ntalaga, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Ebyo bye bigenge eby'oku mutwe, oba eby'oku kalevu. 31Era kabona bw'anaakeberanga endwadde, nga terabika nti esimye okuyisa ku lususu, naye nga tewali nviiri nzirugavu, kabona anaakuumiranga omulwadde oyo mu kifo yekka, okumala ennaku musanvu. 32Kabona anaddangamu okumukebera ku lunaku olw'omusanvu. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala, era nga tewali nviiri za kyenvu, era nga terabika nti eyingidde okuyisa olususu, 33omulwadde anaamwangako enviiri ze okuggyako awo awalwadde, kabona n'amukuumira mu kifo yekka, okumala ennaku endala musanvu. 34Ku lunaku olw'omusanvu kabona anaakeberanga awalwadde. Endwadde bw'eneebanga tebunye walala ku lususu, era nga tekirabika nti eyingidde okuyisa olususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu. Omulwadde anaayozanga ebyambalo bye, n'aba mulongoofu. 35Naye endwadde bw'eneebunanga awalala ku lususu ng'omulwadde amaze okulangirirwa nti mulongoofu, 36awo kabona anaamukeberanga. Bw'eneebanga ebunye awalala ku lususu, tekyetaagisenga kunoonya nviiri za kyenvu. Ddala oyo si mulongoofu. 37Naye kabona bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo, era ng'enviiri enzirugavu zimezeewo, endwadde ng'ewonye, era kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu.
38“Omusajja oba omukazi bw'anaabanga n'amabala ameeru ku lususu, 39kabona anaamukeberanga. Amabala bwe ganaabanga amapeeruufu, obwo nga butulututtu obufulumye mu lususu. Oyo mulongoofu.
40-41“Omusajja bw'anaakuunyuukanga enviiri ku mutwe mu kawompo oba enkoto, oyo aba wa kiwalaata, mulongoofu. 42Naye ekibambya ekimyukirivu, oba ekyeruyeru, bwe kirabika awakuunyuuse enviiri, eyo nga ndwadde ya bigenge. 43Kabona anaamukeberanga. Bw'anaabangako ekibambya ekimyukirivu era ekyeruyeru, 44kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu, olw'ebigenge ku mutwe gwe.
45“Omuntu alwadde ebigenge, anaayambalanga ngoye eziyulise, n'aleka enviiri ze nga si nsanirire, n'abikka ku mutwe gwe, n'alangiriranga nti: ‘Siri mulongoofu, siri mulongoofu!’ 46Ebbanga lyonna ly'anaamalanga ng'akyali mulwadde, taabenga mulongoofu. Anaabeeranga yekka. Ennyumba ye, eneebeeranga bweru wa lusiisira.
Amateeka agakwata ku bigenge mu bintu
47“Endwadde y'ebigenge#13:47 Endwadde y'ebigenge: Ekigambo ekikozesebwa mu Lwebureeyi “TSARA'AT” tekikoma ku ndwadde ya bigenge yokka nga bwe tugimanyi, naye kitwaliramu n'endwadde endala ez'olususu, wamu n'obukuku ku bintu ng'engoye, amaliba, ebisenge by'ennyumba, n'ebintu ebirala. bw'eneebanga ku kyambalo, oba kya byoya bya ndiga, oba kya lugoye lwa bafuta, 48oba ku kiwero eky'olugoye olwa bafuta, oba olw'ebyoya by'endiga, oba ku ddiba, oba ku kintu ekikoleddwa mu ddiba, 49endwadde eyo bw'eba eya kiragalalagala, oba emmyukirivu ku kyambalo oba ku ddiba, oba ku kintu ekyakolebwa mu ddiba, eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona. 50Kabona anaagikeberanga, n'abaako w'akuumira ekintu ekyo okumala ennaku musanvu. 51Anaddangamu okukebera endwadde eyo ku lunaku olw'omusanvu. Bw'eneebanga ebunye awalala, nga bye bigenge ebirya. Ekintu ekyo kinaabanga ekitali kirongoofu. 52Kabona anaakyokyanga mu muliro, kubanga ebyo bye bigenge ebirya. Biteekwa okuzikirizibwa.
53“Naye kabona bw'anaakeberanga n'alaba ng'endwadde tebunye mu kintu, 54anaalagiranga ne bakyoza, ne kiterekebwa okumala ennaku endala musanvu. 55Awo anaakikeberanga. Endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, ne bw'eneebanga tebunye, ekyo tekiibenga kirongoofu. Munaayokyanga ekintu ekyo, okukuubuuka oba kuli munda oba kungulu. 56Naye kabona bw'anaddangamu okukikebera, endwadde n'eterabika nnyo, anaagiyuzanga mu kyambalo oba mu ddiba. 57Endwadde bw'eneddangamu okulabika, nga ndwadde ya bigenge. Olwo nnannyini kintu ekyo anaakyokyanga. 58Bw'anaakyozanga, ebbala ne liggwaamu, anaddangamu n'akyoza, ne kibalibwa nga kirongoofu.
59“Eryo lye tteeka ly'ebigenge mu kyambalo oba kya bafuta, oba kya byoya bya ndiga, oba mu kintu kyonna ekyakolebwa mu ddiba, erinaagobererwanga okulangirira ekirongoofu n'ekitali kirongoofu.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 13: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.