EKY'ABALEEVI 16
16
Olunaku olw'okuddaabiririzaako
1Mukama n'ayogera ne Musa, nga Arooni amaze okufiirwa batabani be bombi, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa. 2N'agamba nti: “Gamba Arooni muganda wo, obutamalanga gajja buli w'ayagalidde munda w'olutimbe mu Kifo Ekitukuvu, mu maaso g'entebe ey'obusaasizi eri ku ssanduuko, aleme kufa, kubanga nnaalabikiranga mu kire ku ntebe eyo ey'obusaasizi.#Laba ne Beb 6:19 3Arooni anaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu ng'alina ente ennume envubuka ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa.#Laba ne Beb 9:7 4Anaamalanga kunaaba mu mazzi, n'ayambala ebyambalo ebitukuvu eby'engoye ennungi: ekkanzu n'empale, olukoba n'enkuufiira.
5“Ekibiina ky'Abayisirayeli kinaawanga Arooni embuzi ennume bbiri ez'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu ey'ekiweebwayo ekyokebwa. 6Anaawangayo ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi eyiye ku bubwe, n'addaabiriza ku lulwe ne ku lw'ab'ennyumba ye. 7Awo anaatwalanga embuzi zombi ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 8Anaazikubiranga akalulu okulondako eneeba eya Mukama, n'eyo eneeba eya Azazeeli#16:8 Azazeeli: Kino kigambo kya Lwebureeyi ekitamanyiddwa makulu. Abamu balowooza nti linnya lya mwoyo mubi ogubeera mu ddungu. Waliwo eyakiyita “olukonko”, ng'agamba nti tekirina makulu ga mwoyo mubi (G.R.Driver).. 9Arooni anaawangayo embuzi erondeddwawo akalulu okuba eya Mukama, n'agitta ebe ekiweebwayo olw'ekibi. 10Naye embuzi erondeddwawo akalulu okuba eya Azazeeli, eneeteebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, olw'okuddaabiriza, olwo n'eryoka esindiikirizibwa eri Azazeeli mu ddungu.
11“Arooni bw'anaawangayo ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'ab'ennyumba ye, 12anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro, g'aggye ku alutaari mu maaso ga Mukama, n'obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, bwa mbatu bbiri, n'abireeta munda w'olutimbe. 13Awo anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane ne gubikka entebe ey'obusaasizi n'atagiraba, aleme okufa. 14Anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ludda lw'ebuvanjuba olw'entebe ey'obusaasizi, era n'agumansira mu maaso g'entebe eyo emirundi musanvu.
15“Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'olutimbe, n'agumansira ku ntebe ey'obusaasizi, ne mu maaso gaayo, nga bwe yakoze ku musaayi gw'ente ennume.#Laba ne Beb 9:12 16Bw'atyo anaddaabirizanga olw'Ekifo Ekitukuvu, okukiggyako obutali bulongoofu bw'Abayisirayeli, n'ensobi zaabwe, n'ebibi byabwe byonna. Era bw'atyo bw'anaakolanga ku Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ebeera nabo mu makkati gaabwe abatali balongoofu. 17Temuubenga muntu mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, nga Arooni ayingira mu Kifo Ekitukuvu okuddaabiriza, okutuusa lw'anaafulumanga ng'amaze okuddaabiriza ku lulwe, ne ku lw'ab'ennyumba ye, ne ku lw'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli. 18Olwo anaafulumanga n'agenda ku alutaari eri mu maaso ga Mukama, n'addaabiriza ku lwayo. N'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyo, ku nsonda zaayo zonna. 19N'agimansira omusaayi n'olunwe lwe emirundi musanvu, n'agirongoosa okugiggyako obutali bulongoofu bw'Abayisirayeli, n'agitukuza.
Embuzi esindiikirizibwa mu ddungu
20“Arooni bw'anaamalirizanga okuddaabiriza olw'Ekifo Ekitukuvu n'Eweema yonna ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne alutaari, anaayanjulangayo embuzi ennamu#16:20 embuzi ennamu: Eya Azazeeli, laba 16:8. 21Anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi eyo ennamu, n'agyatulirako ebyonoono n'ebibi by'Abayisirayeli, n'obujeemu bwabwe bwonna, n'abizza ku mutwe gwayo, n'agisindiikiriza mu ddungu ng'etwalibwa omuntu eyategekeddwa. 22Embuzi eyo eneetwalanga ebibi byabwe byonna, n'egenda nabyo mu nsi eteriimu bantu. Oyo agitwala anaagiteeranga mu ddungu.
23“Awo Arooni anaayingiranga mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayambulamu ebyambalo ebyeru bye yayambadde okuyingira mu Kifo Ekitukuvu, n'abireka omwo.#Laba ne Ezek 44:19 24Anaanaabiranga omubiri mu Kifo Ekitukuvu, n'ayambala engoye ze, n'afuluma, n'awaayo ekitambiro ekyokebwa ekikye, n'ekitambiro ekyokebwa okuddaabiriza ku lulwe ne ku lw'abantu. 25Amasavu g'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku alutaari. 26Oyo asindiikirizza embuzi mu ddungu eri Azazeeli, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri, olwo n'alyoka ayingira mu lusiisira. 27Ente ennume n'embuzi ez'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwazo oguyingiziddwa mu Kifo Ekitukuvu okuddaabiriza, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira, ne zookebwa. Amaliba, n'ennyama n'ebyenda byazo, binaayokebwanga.#Laba ne Beb 13:11 28Oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri mu mazzi, olwo n'alyoka adda mu lusiisira.
Olunaku olw'okuddaabiriza
29“Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, Abayisirayeli n'abagwira abali mu bo, baneebonerezanga, era tebaakolenga mulimu na gumu.#Laba ne Leev 23:26-32; Kubal 29:7-11 30Ku lunaku olwo, wanaabangawo okuddaabiriza ku lwammwe olw'okubatukuza, muggyibweko ebibi byammwe byonna, mube balongoofu mu maaso ga Mukama. 31Olwo lunaabanga Sabbaato yammwe ya kuwummulira ddala, era muneebonerezanga. Etteeka lino linaakuumibwanga ennaku zonna. 32Kabona eyafukibwako omuzigo n'ayawulibwa okuba kabona mu kifo kya kitaawe, ye anaddaabirizanga ng'ayambadde ebyambalo ebyeru, ebitukuvu. 33Anaddaabirizanga olw'Ekifo Ekitukuvu, n'olw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'olw'alutaari, era anaddaabirizanga olwa bakabona, n'olw'abantu bonna ab'omu kibiina. 34Etteeka lino munaalikuumanga ennaku zonna, wabeerengawo okuddaabiriza ku lw'Abayisirayeli omulundi gumu buli mwaka, olw'ebibi byabwe.” Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira.#16:34 Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira: Oba Arooni n'akola nga Mukama bwe yalagira Musa.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 16: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: