EKY'ABALEEVI 17
17
Omusaayi
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Yogera ne Arooni ne batabani be, n'Abayisirayeli bonna, obagambe nti: ‘Kino Mukama ky'alagidde: 3Omuyisirayeli anaatambiranga ente, oba endiga, oba embuzi mu lusiisira oba ebweru waalwo, 4n'atagireeta ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, okugiwaayo ng'ekitone eri Mukama mu maaso g'ekifo Mukama w'abeera, anaavunaanibwanga omusango ogw'okuyiwa omusaayi, era anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. 5Ekigendererwa mu tteeka lino, be Bayisirayeli okuleetanga eri Mukama ebitambiro byabwe bye babadde battira mu ttale mu bbanga, babireetenga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, babitte, bibe ebitambiro ebiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana. 6Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku alutaari ya Mukama, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ayokya amasavu, ne galeeta evvumbe erisanyusa Mukama, 7Abayisirayeli balemenga kwongera kuba batali beesigwa eri Mukama, nga bawaayo ebitambiro byabwe eri balubaale ab'embuzi ennume. Abayisirayeli banaakuumanga etteeka lino ennaku zonna.’
8“Era obagambe nti: ‘Omuyisirayeli, oba omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ekitambiro, 9n'atakireeta eri Mukama ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’
10“Omuyisirayeli, oba omugwira yenna abeera mu Bayisirayeli bw'anaalyanga ku musaayi, nnaamutunuulizanga bukambwe, era nnaabanga sikyamubalira mu bantu bange.#Laba ne Nta 9:4; Leev 7:26-27; 19:26; Ma 12:16,23; 15:23 11Obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ngubawa mmwe guddaabirizenga ku lw'obulamu ku alutaari, kubanga omusaayi gwe guddaabiriza ku lw'obulamu.#Laba ne Beb 9:22 12Kyenva ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Tewaabenga n'omu ku mmwe alya omusaayi, era n'omugwira abeera mu mmwe, taalyenga musaayi.’
13“Omuyisirayeli, oba omugwira abeera mu Bayisirayeli, anaayigganga ensolo, oba ekinyonyi ekikkirizibwa okuliibwa, anaayiwanga omusaayi gwakyo, n'agubikkako ettaka, 14kubanga obulamu bwa buli kintu ekirina omubiri, buba mu musaayi. Kyennava ŋŋamba Abayisirayeli nti: ‘Temuulyenga ku musaayi gwa kintu na kimu ekirina omubiri, kubanga obulamu bwakyo gwe musaayi gwakyo. Buli anaagulyangako, anaazikirizibwanga.’
15“Buli muntu, oba nzaalwa, oba mugwira, mu Bayisirayeli, anaalyanga ensolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri mu mazzi, n'asigala nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. 16Naye bw'ataayozenga byambalo bye, era n'atanaaba mubiri, anaasigalanga si mulongoofu.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 17: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: