YouVersion Logo
Search Icon

EKY'ABALEEVI 19

19
Amateeka ag'obwenkanya n'obutukuvu
1Mukama n'agamba Musa 2ayogere n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, abagambe nti: “Mubenga batuukirivu, kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutuukirivu.#Laba ne Leev 11:44-45; 1 Peet 1:16 3Buli omu mu mmwe assengamu kitaawe ne nnyina ekitiibwa, era akuumenga Sabbaato nga bwe nalagira. Nze Mukama Katonda wammwe.#Laba ne Kuv 20:8,12; Ma 5:12,16
4“Temunvengako kusinza bintu bitaliimu, era temwekolerenga balubaale mu kyuma kisaanuuse kubasinza. Nze Mukama Katonda wammwe.#Laba ne Leev 26:1; Kuv 20:23; 34:17; Ma 27:15
5“Era bwe munaawangayo gye ndi, Nze Mukama, ekitambiro eky'ebiweebwayo eby'okutabagana, munaakiwangayo mu ngeri esaanidde, kiryoke kikkirizibwe. 6Kinaaliirwanga ku lunaku olwo lwe munaakiweerangayo, ne ku luddirira. Kyonna ekinaasigalangawo okutuusa ku lunaku olwokusatu, kinaayokebwanga omuliro, 7kubanga olwo kinaabanga kifuuse ekitali kirongoofu, era bwe kinaaliibwanga ku lunaku olwo olwokusatu, sikkirizenga kitambiro ekyo. 8Buli anaakiryangako taabenga mulongoofu, olw'okujaajaamya ekintu ekitukuvu ekya Mukama, era omuntu oyo anaabanga takyabalirwa mu bantu bange.
9“Bwe munaabanga mukungula ebirime byammwe, temuumalirengayo ddala ebisembayo ku nsalosalo z'ennimiro zammwe,#Laba ne Leev 23:22; Ma 24:19-22 10era temuddengayo mabega mu nnimiro zammwe kukuŋŋaanya birimba ebiba bisigalidde, wadde okulonderera ebiba bikunkumuse. Mubirekeranga abaavu n'abagwira. Nze Mukama Katonda wammwe.
11“Temubbenga, temuulyazaamaanyenga, era temuulimbaganenga.#Laba ne Kuv 20:15,16; Ma 5:19,20 12Temuulayirirenga bwereere linnya lyange kulivumaganya. Nze Mukama Katonda wammwe.#Laba ne Kuv 20:7; Ma 5:11; Mat 5:33
13“Temuuyiikirizenga bannammwe, wadde okunyaga ebyabwe. Empeera y'omukozi gw'okozesezza, toogiremerenga wadde ekiro ekimu kyokka.#Laba ne Ma 24:14-15 14Tookolimirenga kiggala, era ne muzibe toomuteekerengawo muziziko kwekoonako, naye onootyanga nze, Mukama Katonda wo.#Laba ne Ma 27:18
15“Musalenga emisango mu mazima ne mu bwenkanya. Temwekubiirenga ku ludda lwa mwavu, era temuutyenga mugagga. Naye musalenga ensonga mu bwesimbu.#Laba ne Kuv 23:6-8; Ma 16:19 16Toosaasaanyenga ŋŋambo mu bantu bo, era tooteekenga mu kabi bulamu bwa muntu munno. Nze Mukama.
17“Tookyawenga munno mu mutima gwo, naye omunenyanga ne biggwa, oleme okumukolako ekibi.#Laba ne Mat 18:15 18Toowoolerenga ggwanga ku muntu n'omu, era toomusibirenga kiruyi. Naye oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini. Nze Mukama.#Laba ne Mat 5:43; 19:19; 22:39; Mak 12:31; Luk 10:27; Bar 13:9; Bag 5:14; Yak 2:8
19“Mukwatenga ebiragiro byange. Toozaazisenga nsolo zo ezitafaanana mu kika kyazo. Toosigenga mu nnimiro yo nsigo za bika bibiri. Tooyambalenga kyambalo kya ngoye ez'engeri ebbiri ezigattiddwa awamu nga tezifaanana.#Laba ne Ma 22:9-11
20“Omusajja bw'aneebakanga n'omuzaana ayogerezebwa omusajja omulala, kyokka ono nga tannasasula bintu, era ng'omuzaana taweereddwa ddembe, omusajja oyo n'omuzaana banaabonerezebwanga, naye tebattibwenga, kubanga omuzaana taba wa ddembe. 21Omusajja oyo anaaleetanga ku mulyango gwa Weema ey'okunsisinkanirangamu, embuzi ennume nga kye kiweebwayo eky'omutango. 22Kabona anaakozesanga ekiweebwayo ekyo, okuddaabiriza ku lw'omusajja oyo mu maaso ga Mukama, olw'ekibi kye yakola, ne kimusonyiyibwa.
23“Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanaani ne musimba emiti egy'ebibala egya buli ngeri, ebibala byagyo mulibiyita ebitali birongoofu okumala emyaka esatu. Okumala emyaka egyo esatu, temuubiryengako. 24Mu mwaka ogwokuna, ebibala byonna biriwongerwa nze Mukama okunneebaza. 25Naye mu mwaka ogwokutaano, mulirya ku bibala by'ensi eyo. Ebyo bwe mulibituukiriza, mulifuna ekyengera. Nze Mukama Katonda wammwe.
26“Temuulyenga nnyama ng'ekyalimu omusaayi. Temuukolenga bya bulogo, wadde eby'okulagulwa.#Laba ne Nta 9:4; Leev 7:26-27; 17:10-14; Ma 12:16,23; 15:23; 18:10 27Temuukomolenga ku nviiri zammwe, wadde okusala ku birevu byammwe.#Laba ne Leev 21:5; Ma 14:1 28Temuusalenga misale ku mibiri gyammwe okukungubagira abafu, wadde okweyolako enjola olw'okwewoomya. Nze Mukama.
29“Temuujaajaamyenga bawala bammwe nga mubawaayo mu bwenzi, ensi ereme kwonooneka na kujjula mpisa mbi.#Laba ne Ma 23:17 30Mukuumenga Sabbaato, era mussengamu ekitiibwa Ekifo kyange Ekitukuvu. Nze Mukama.#Laba ne Leev 26:2
31“Temuugendenga kwebuuza ku basamize, wadde ku balogo. Temuunoonyenga gye bali, muleme kwonooneka. Nze Mukama.#Laba ne Ma 18:11; 1 Sam 28:3; 2 Bassek 23:4; Yis 8:19
32“Museguliranga abakaddiye, era mubassangamu ekitiibwa. Era muntyanga nze Mukama Katonda wammwe.
33“Abagwira ababeera nammwe mu nsi yammwe temuubayisenga bubi.#Laba ne Kuv 22:21; Ma 24:17-18; 27:19 34Mubayisenga nga Bayisirayeli bannammwe, era mubaagalenga nga bwe mweyagala mwennyini, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
35“Temuukumpanyenga okukozesa ebipimo ebitali bituufu mu kupima obuwanvu, n'obuzito, n'obungi bw'ebintu.#Laba ne Ma 25:13-16; Nge 20:10; Ezek 45:10 36Mukozesenga minzaani entuufu n'ebipimo byonna ebituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri. 37Mukwatenga amateeka gange n'ebiragiro byange, era mubituukirizenga. Nze Mukama.”

Currently Selected:

EKY'ABALEEVI 19: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in