YouVersion Logo
Search Icon

EKY'ABALEEVI 2

2
Ebitone eby'emmere ey'empeke
1“Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ekitone eky'emmere ey'empeke, anaamalanga kukisekulamu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi. Anaayiwangako omuzigo, n'ateekako n'obubaane, 2ekitone ekyo n'akireetera bakabona ab'olulyo lwa Arooni. Kabona anaatoolangako olubatu olw'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'abwokya wamu n'omuzigo, n'obubaane bwonna, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo eri Mukama. Evvumbe lyabyo eddungi, lisanyusa Mukama. 3Ekyo ekisigaddewo ku kitone eky'obuwunga, kinaabeeranga kya bakabona. Kintu kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
4“Ekitone bwe kinaabeeranga eky'emigaati, ginaabanga egitazimbulukusiddwa, egy'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo, oba emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa, egisiigiddwako omuzigo.
5“Era oba ng'owaayo ekitone eky'emigaati egikaziddwa, ginaabanga gya buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi obutaliimu kizimbulukusa, obutabuddwamu omuzigo. 6Onoogimenyangamu ebitundu, n'oyiwako omuzigo, n'ogiwaayo, nga kye kitone eky'emmere ey'empeke.
7“Era bw'onoowangayo emigaati egifumbiddwa mu ntamu, ginaabanga gya buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, wamu n'omuzigo. 8Onooleetanga eri Mukama ekitone ekikoleddwa mu ebyo, n'okireetera kabona, ye n'akitwala ku alutaari. 9Kabona anaatoolangako ekitundu kyakyo, kibe akabonero akalaga nti kiweereddwayo eri Mukama, n'akyokera ku alutaari. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama. 10Ekisigaddewo ku kiweebwayo eky'obuwunga, kinaabanga kya bakabona. Kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
11“Tewaabengawo kitone kya buwunga kinaaweebwangayo eri Mukama nga kikoleddwa n'ekizimbulukusa. Temuukozesenga kizimbulukusa wadde omubisi gw'enjuki, mu kiweebwayo eri Mukama okwokebwa. 12Munaawangayo eri Mukama ebitone eby'ebibala ebisooka okukungulwa buli mwaka, naye tebiiyokebwenga ku alutaari. 13Buli kitone eky'obuwunga, onookirungangamu omunnyo, kubanga omunnyo ke kabonero k'endagaano wakati wo ne Mukama. Ebitone byo byonna obirungangamu omunnyo. 14Ng'owaayo eri Mukama ekitone eky'ebibala ebisooka okukungulwa, onoowangayo eŋŋaano enkube mu birimba ebikyali ebibisi, ng'eyokeddwako ku muliro. 15Onoogiteekangako omuzigo n'obubaane. 16Kabona anaayokyanga ekitundu ky'eŋŋaano, n'eky'omuzigo, wamu n'obubaane bwonna, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo. Kye kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.

Currently Selected:

EKY'ABALEEVI 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in