EKY'ABALEEVI 3
3
Ekitone eky'okutabagana
1“Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro olw'okutabagana, anaawangayo ente enkazi oba ennume eteriiko kamogo. 2Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Awo bakabona ab'olulyo lwa Arooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari, 3ne bawaayo eri Mukama ebitundu bino eby'ekitambiro: amasavu gonna agali ku byenda, 4n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. 5Bakabona banaayokyanga ebyo byonna ku alutaari, awamu n'ekitone ekyokebwa ekiri ku nku ku muliro. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama.
6“Omuntu bw'anaawangayo endiga, oba embuzi ng'ekitambiro olw'okutabagana, oba nkazi, oba nnume, anaawangayo eteriiko kamogo. 7Bw'awangayo omwana gw'endiga, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama. 8Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gw'ekitone kye, n'akittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwakyo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari, 9ne bawaayo eri Mukama ebitundu bino eby'ekitambiro: amasavu, n'omukira ogwassava omulamba okusalira ku ggumba ery'omugongo, n'amasavu gonna agali ku byenda, 10n'ensigo zombi, n'amasavu gonna agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. 11Kabona anaayokeranga ebyo byonna ku alutaari ng'ekitone eky'ebyokulya ekiweebwayo eri Mukama.
12“Omuntu bw'anaawangayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama. 13Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bakabona banaamansiranga omusaayi gwayo ku nsonda zonna ennya ez'alutaari, 14n'awaayo eri Mukama ebitundu byayo bino, bibe ekitone ekiweebwayo ekyokebwa: amasavu gonna agali ku byenda, 15n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. 16Kabona anaabyokeranga ku alutaari. Kye kitone eky'ebyokulya ekyokebwa, ekisanyusa Mukama. Amasavu gonna ga Mukama. 17Temuulyenga ku masavu, wadde ku musaayi. Eryo linaabanga etteeka ery'olubeerera, lye munaakuumanga buli we munaabeeranga, ennaku zonna.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.