EKY'ABALEEVI 22
22
Obutukuvu bw'ebiweebwayo
1Mukama n'agamba Musa nti: 2“Tegeeza Arooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu, Abayisirayeli bye bantonera, balemenga okuvumaganya erinnya lyange ettukuvu. Nze Mukama. 3Bategeeze nti mu mirembe gyonna, buli wa mu zadde lyabwe atali mulongoofu anaasembereranga ebitukuvu Abayisirayeli bye bantonera, oyo taddengayo kujja mu maaso gange. Nze Mukama.
4“Tewaabengawo n'omu wa mu zadde lya Arooni alwadde ebigenge oba alina enziku, anaalyanga ku bintu ebitukuvu, okutuusa lw'anaabeeranga omulongoofu. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu, bw'anaakoonanga ku kintu ekifuuse ekitali kirongoofu olw'okukoona ku kifudde, oba ku musajja avuddemu amazzi ag'obusajja, 5oba bw'anaakoonanga ku kyewalula ekimufuula atali mulongoofu, oba ku muntu amufuula atali mulongoofu. 6Buli kabona afuuka atali mulongoofu, asigala si mulongoofu okutuusa akawungeezi, era taalyenga ku bitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri. 7Enjuba ng'egudde, anaabeeranga mulongoofu. Olwo anaayinzanga okulya ku bintu ebitukuvu, kubanga ebyo ye mmere ye. 8Taalyenga nnyama ya nsolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, alemenga kwefuula atali mulongoofu. Nze Mukama.
9“Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga kwonoona ne bafa olw'okubinyoomoola. Nze Mukama abafuula abatukuvu.
10“Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu. Wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako. 11Naye omuddu, kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abo abazaalirwa mu maka ge, abo banaalyanga ku mmere ya kabona. 12Muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omusajja atali kabona, taalyenga ku bitone ebitukuvu. 13Naye muwala wa kabona nga nnamwandu oba ng'agobeddwa bba, nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Naye atali wa mu lulyo lwa bakabona, taagiryengako.
14“Omuntu atali wa lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'ayongeramu n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano. 15Kabona taajaajaamyenga bitukuvu, Abayisirayeli bye bawaayo eri Mukama, 16ng'akkiriza atali kabona okubiryako, n'amuleetera omusango n'ekibonerezo. Nze Mukama abitukuza.”
17Mukama n'agamba Musa nti: 18“Tegeeza Arooni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna nti Omuyisirayeli, oba omugwira ali mu Yisirayeli, bw'anaaleetanga eri Mukama ekitone kye ekyokebwa kye yeeyama, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, 19okukkirizibwa, kinaabanga nnume ey'ente, oba ey'endiga, oba ey'embuzi, eteriiko kamogo. 20Temuuwengayo kintu na kimu ekiriko akamogo, kubanga ekitone kyammwe ekyo tekikkirizibwenga.#Laba ne Ma 17:1 21Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ekitambiro eky'okutabagana okutuukiriza obweyamo, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, ensolo eneebanga eyo eteriiko kamogo, n'eryoka ekkirizibwa. 22Temuuwengayo eri Mukama, ensolo eyaziba amaaso, oba emmenyefu, oba ennema, oba eriko amabwa, oba endwadde y'olususu. Ensolo ez'engeri eyo temuuziwengayo ku alutaari okuba ekiweebwayo ekyokebwa. 23Ente oba endiga eriko ekitundu ekitali kitereevu, oba ekibulako ku bitundu byayo, eyo oyinza okugiwaayo ng'ekitone ky'owaayo nga weeyagalidde, naye tekkirizibwa mu kutuukiriza obweyamo. 24Temuuwengayo eri Mukama, ensolo eyabetentebwa, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ebibeere byayo. Ekyo temuukikolenga mu nsi yammwe.
25“Ensolo ze muggye mu bagwira, temuuziwengayo eri Katonda wammwe ng'ekitone eky'ebyokulya. Ezo zibalibwa ng'eziriko akamogo, era tezikkirizibwenga.”
26Mukama n'agamba Musa nti: 27“Ente, oba endiga, oba embuzi, bw'eneezaalibwanga, eneerekebwanga n'eyonka nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw'omunaana n'okusingawo, enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa. 28Temuttenga nte, oba ndiga n'omwana gwayo ku lunaku lumu. 29Bwe muwangayo ekitambiro eri Mukama okumwebaza, munaakiwangayo nga mutuukiriza amateeka, mulyoke mukkirizibwe. 30Mukiryenga ku lunaku olwo lwennyini. Temuukirekengawo okutuusa enkeera. Nze Mukama.
31“Mukuumenga ebiragiro byange, mubituukirizenga. Nze Mukama. 32Temuuvumaganyenga linnya lyange ettukuvu, naye njagala Abayisirayeli bonna baatulenga nga bwe ndi omutukuvu. Nze Mukama abafuula abatukuvu, 33era eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe. Nze Mukama.”
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 22: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.