EKY'ABALEEVI 26
26
Empeera y'obuwulize
(Laba ne Ma 7:12-24; 28:1-14)
1“Temwekolerenga bifaananyi oba okwesimbirawo ekifaananyi ekyole, wadde empagi esinzibwa, oba ejjinja eryole okubisinzanga. Nze Mukama Katonda wammwe.#Laba ne Kuv 20:4; Leev 19:4; Ma 5:8; 16:21-22; 27:1 2Mukuumenga Sabbaato zange, era mussengamu ekitiibwa Ekifo kyange Ekitukuvu. Nze Mukama.
3“Bwe munaakoleranga ku mateeka gange, ne mukuumanga ebiragiro byange,#Laba ne Ma 11:13-15; 28:1-14 4nnaabawanga enkuba mu biseera byayo, ensi n'ebaza ebirime, n'emiti egy'omu nnimiro ne gibala ebibala. 5Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta, era munaabeeranga mirembe mu nsi yammwe.
6“Nnaabawanga emirembe mu nsi yammwe, ne mwebakanga nga tewali abatiisa. Era ndimalawo ensolo ez'akabi mu nsi yammwe, era ensi yammwe teebeerengamu ntalo. 7Munaawangulanga abalabe bammwe. 8Abataano ku mmwe banaawangulanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaawangulanga omutwalo mulamba. Mu lutalo, abalabe bammwe banaagwanga ne bafa mu maaso gammwe. 9Nnaabawanga mmwe omukisa, ne mbawa okuzaala abaana bangi, era nnaakuumanga endagaano gye nakola nammwe. 10Munaalyanga ku bye mwakungula edda ne mutereka, era munaafulumyanga ebyo ebikadde okuyingiza ebiggya. 11Nnaabeeranga mu mmwe, era siibakyawenga. 12Nnaatambuliranga mu mmwe, ne mba Katonda wammwe, mmwe ne muba bantu bange.#Laba ne 2 Kor 6:16 13Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, mulyoke mulemenga kuba baddu baabwe. Namenyawo obuyinza obwali bubasibye ekikoligo, ne mbatambuza nga mwesimbye.
Ebibonerezo by'abajeemu
(Laba ne Ma 28:15-68)
14“Naye bwe mutampulirenga ne mutatuukiriza biragiro byange ebyo byonna, 15era bwe munaagaananga okukwata amateeka gange ne mukyawa bye mbakuutira, era ne mutatuukiriza biragiro byange byonna, bwe mutyo ne mumenya endagaano gye nkoze nammwe, 16ndibabonereza bwe nti: ndireeta entiisa mu mmwe. Omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso, ne bikonzibya obulamu bwammwe. Mulisiga ensigo, naye teziibagasenga, kubanga abalabe bammwe banaabawangulanga ne balya bye musize. 17Ndibeefuulira mmwe, ne muwangulwa abalabe bammwe, ne mufugibwanga ababakyawa. Munaagwibwangamu entiisa, ne mudduka nga tewali abagoba.
18“Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. 19Nnaamenyanga obukakanyavu bw'olwetumbu lwammwe. Tewaabenga nkuba. Kale ensi yammwe erikala, n'eba ng'ekyuma. 20Bwe munaakolanga emirimu, amaanyi gammwe ganaabafanga bwereere, kubanga ettaka lyammwe teriibazenga bibala.
21“Era bwe munaayongeranga okumpakanya n'obutampulira, ekibonerezo kyammwe era nnaakyongerangako emirundi musanvu, okusinziira ku bibi byammwe. 22Nnaasindikanga mu mmwe ensolo enkambwe, ne zitta abaana bammwe, era ne zizikiriza amagana gammwe. Zinaabakendeezanga obungi, n'amakubo gammwe ne gazika.
23“N'ebyo bwe binaalemanga okubakomyawo gye ndi, ne mwongera okumpakanya, 24kale nange ndibeefuulira ne mbabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. 25Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, ne muwalirizibwa okwewaayo eri abalabe bammwe. 26Bwe nnaakendeezanga emmere yammwe, abakazi ekkumi baneetaaganga ekyoto kimu kyokka okufumbiramu emigaati. Banaagipimanga, ne mugirya gyonna, naye ne mutakutta.
27“Era ebyo bwe binaalemwanga okubagonza, naye ne mwongera obutampulira n'okumpakanya, 28olwo nnaabakyukiranga nga nsunguwadde, ne nnyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe. 29Munaalumwanga nnyo enjala, ne mutuuka n'okulyanga abaana bammwe. 30Nnaazikirizanga ebifo eby'oku nsozi bye musinzizaamu balubaale, ne mmenyerawo ddala ebyoterezo byammwe eby'obubaane, n'emirambo gyammwe ne ngisuula ku mirambo gy'ebyo bye musinza. 31Nnaabeetamwanga, ne nsaanyaawo ebibuga byammwe, n'ebifo mwe musinziza, era ne sikkiriza bitambiro byammwe. 32Ensi yammwe ndigifuula eddungu, n'abalabe bammwe abalijja okugibeeramu ne beewuunya okulaba bw'ezikiridde. 33Nnaabaleeteranga entalo, ne mbasaasaanyiza mu mawanga. Ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe ne bisigala matongo. 34-35Olwo ensi n'eryoka esanyukira emyaka gyayo egy'okuwummula, mmwe gye mutaagiwa nga mugirimu. Erirekebwa awo n'ewummula, mmwe nga muwaŋŋangukidde mu nsi y'abalabe bammwe.
36“Abo ku mmwe abanaabeeranga mu buwaŋŋanguse, nnaabaleetangamu okutya, n'ekikoola ekinyeenyezebwa embuyaga, banaakiwuliranga ne badduka. Munaddukanga nga be bawondera mu lutalo, ne mugwa, nga tewali abagoba. 37Munaalinnyaganangako mwekka na mwekka, nga tewali abawondera, era temuubengako mulabe gwe muyinza kulwanyisa. 38Munaafiiranga mu mawanga, ne mumiribwa ensi y'abalabe bammwe. 39Abatono ku mmwe abanaawonangawo mu nsi y'abalabe bammwe, banaakenenanga olw'ebibi byabwe, n'olw'ebibi bya bajjajjaabwe.
40“Naye bazzukulu bammwe bwe banaayatulanga ebibi byabwe n'ebibi bya bajjajjaabwe abampakanya ne banjeemera 41ne bandeetera okubalwanyisa n'okubatwala mu nsi y'abalabe baabwe, bazzukulu bammwe abo bwe balimala okutoowazibwa, ne bakkiriza okubonerezebwa olw'ebibi byabwe, 42olwo ndijjukira endagaano gye nakola ne Yakobo, ne Yisaaka era ne Aburahamu, era ndijjukira ensi gye nabasuubiza.#Laba ne Nta 17:7-8; 26:3-4; 28:13-14 43Naye ensi eneemalanga kulekebwa n'ezika, bo nga tebaliimu, n'ewummula, era banakkirizanga okubonerezebwa olw'okujeemera ebiragiro byange, n'obutakwata mateeka gange. 44Naye ebyo byonna ne bwe binaabanga bwe bityo, nga bakyali mu nsi y'abalabe baabwe, siibeegobengako, wadde okubakyawa okutuuka okubasaanyizaawo ddala, n'okumenyawo endagaano gye nakola nabo, kubanga nze Mukama Katonda waabwe. 45Naddangamu buggya endagaano gye nakola ne bajjajjaabwe, bwe nalaga amawanga gonna obuyinza bwange nga mbaggya mu nsi y'e Misiri, nze Mukama ndyoke mbenga Katonda waabwe.”
46Ago ge mateeka n'ebiragiro bye yaweera Abayisirayeli ku Lusozi Sinaayi, ng'ayita mu Musa.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 26: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: