EKY'ABALEEVI 27
27
Amateeka ku bitonerwa Mukama
1Mukama n'agamba Musa 2ategeeze Abayisirayeli nti: “Omuntu bw'aneeyamanga okuwonga abantu eri Mukama, anaasobolanga okutuukiriza obweyamo obwo, ng'awaayo omuwendo gw'ensimbi guno, 3ogunaabalirirwanga ku mbala entongole ey'omu Kifo Ekitukuvu. Bw'anaabanga omusajja ow'emyaka okuva ku makumi abiri okutuuka ku nkaaga, zinaabanga sekeli#27:3 Sekeli: Mu Lwebureeyi, “Shekel” ze nsimbi ezaakozesebwanga mu Buyudaaya, era ezikyakozesebwa kati mu ggwanga lya Yisirayeli. amakumi ataano eza ffeeza. 4Bw'anaabanga omukazi, zinaabanga sekeli amakumi asatu. 5Bw'anaabanga omulenzi okuva ku myaka etaano okutuuka ku makumi abiri, zinaabanga sekeli amakumi abiri eza ffeeza, omuwala sekeli kkumi eza ffeeza. 6Omwana ow'obulenzi ali wansi w'emyaka etaano, zinaabanga sekeli ttaano eza ffeeza. 7Oyo asussizza emyaka enkaaga, nga musajja, zinaabanga sekeli kkumi na ttaano eza ffeeza; nga mukazi, sekeli kkumi eza ffeeza. 8Kyokka oyo eyeeyama bw'anaabanga omwavu, nga tasobola kusasulira ku mbalirira eyo, omuntu gwe yeeyama okuwaayo anaamuleetanga mu maaso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo, ng'asinziira ku ekyo, oyo awaayo ky'asobola okusasula.
9“Obweyamo, bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo ekkirizibwa okuba ekitone eri Mukama, olwo ebitone byonna buli muntu by'anaawangayo eri Mukama, binaabanga bitukuvu. 10Taakyusenga kuteekawo ndala, wadde okuwaanyisaamu ennungi mu kifo ky'embi, oba embi mu kifo ky'ennungi. Bw'anaawanyisangamu emu okuteekawo endala, olwo ensolo zombi zinaabanga za Mukama. 11Naye obweyamo, bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo eteri nnongoofu, etekkirizibwa okuba ekitone eri Mukama, omuntu anaagitwalanga eri kabona, 12kabona n'alamula omuwendo ogugigyamu, ng'alabira ku bulungi oba ku bubi bwayo. Omuwendo gw'anaalamulanga, gwe gunaabanga ogw'enkomerero. 13Agireese bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo.
14“Omuntu bw'anaawangayo ennyumba ye ebe ya Mukama, kabona anaalamulanga omuwendo ogugigyamu, ng'alabira ku birungi oba ku bitali birungi ebigiriko. Omuwendo gw'anaalamulanga, gwe gunaabanga ogw'enkomerero. 15Oyo agiwaayo bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo.
16“Omuntu bw'anaawangayo ekitundu ky'ettaka lye, libe erya Mukama, omuwendo gwalyo gunaalamulwanga, okulabira ku bungi bw'ensigo ezimala okukisiga, nga buli kilo amakumi abiri eza bbaale, zigula sekeli ttaano eza ffeeza. 17Bw'anaawangayo ennimiro ng'omwaka ogw'okujaguza gwakaggwaako, eneebanga ku muwendo gwonna ogugiramuddwa. 18Bw'anaagiwangayo nga gumaze ebbanga nga guweddeko, kabona anaabaliriranga omuwendo gwayo, ng'alabira ku myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, n'akendeeza ku muwendo gwayo. 19Awaddeyo ennimiro bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo, n'esigala nga yiye. 20Bw'ataayagalenga kuginunula, oba bw'anaagiguzanga omulala nga tannaginunula, eneebanga tekyayinza kununulibwa. 21Ku mwaka ogw'okujaguza oguddirira, eneefuukiranga ddala ya Mukama ennaku zonna, n'eba ya bakabona.
22“Omuntu bw'anaawangayo eri Mukama ennimiro gye yagula obuguzi nga teyagisikira, 23kabona anaabaliriranga omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, ng'alabira ku myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, agiwaddeyo n'asasula omuwendo ogwo ku lunaku olwo, ensimbi ne ziba za Mukama. 24Mu mwaka ogw'okujaguza, ennimiro eneddiranga eyagitunda, oba abasika be.
25“Emiwendo gyonna ginaabalirirwanga ku bipimo ebitongole eby'omu Kifo Ekitukuvu.
26“Ensolo eggula enda, eba ya Mukama. N'olwekyo tewaabengawo agimutonera. Nga nte, oba nga ndiga, oba nga mbuzi, eba ya Mukama. 27Naye bw'eneebanga ey'ensolo eteri nnongoofu, eneenunulibwanga ku muwendo ogubaliriddwa, ne kugattibwako ekimu ekyokutaano kyagwo. Bw'eneebanga tenunuddwa, eneeguzibwanga omuntu omulala ku muwendo gw'ebaliriddwamu.
28“Naye tewaabengawo kintu kiwongeddwa eri Mukama, omuntu ky'anaabanga awongedde Mukama ku byonna by'alina, k'abe muntu oba k'ebe ensolo oba ka kibe kibanja eky'obutaka, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga. Buli kintu ekyawongerwa Mukama, kisigala nga kya Mukama ennaku zonna.#Laba ne Kubal 18:14 29Ne bw'aba muntu tewaabenga anunulibwa, kasita aba nga yawongerwa Mukama, wabula anattibwanga.
30“Ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'ebirime ebikungulwa mu nsi, oba eky'ensigo, oba eky'ebibala by'emiti, kya Mukama. Kinaaweebwangayo gy'ali.#Laba ne Kubal 18:21; Ma 14:22-29 31Omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu ebyo eby'ekkumi eby'ebirime bye, anaasasulanga omuwendo ogubigyamu, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo. 32Ku nsolo enfuge, buli nsolo kkumi ezibalibwa, emu eneeweebwangayo eri Mukama. 33Nnannyini nsolo, taayawulengamu nnungi na mbi, era taaziwaanyisenga. Ensolo emu bw'anaagiwaanyisangamu endala, zombi zinaaweebwangayo eri Mukama, era teziinunulwenga.”
34Ebyo bye biragiro, Mukama bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lw'Abayisirayeli.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 27: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: