EKY'ABALEEVI 4
4
Ebitambiro olw'ebibi ebitali bigenderere
1Mukama n'agamba Musa 2ategeeze Abayisirayeli nti buli anaakolanga ekibi, n'asobya nga tagenderedde mu kintu kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira, anaakolanga bino:
3Ssaabakabona bw'anaakolanga ekibi, bw'atyo n'aleetera abantu be omusango, anaawangayo eri Mukama olw'ekibi kye, ente ennume envubuka eteriiko kamogo. 4Anaagireetanga ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, n'ateeka ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso ga Mukama. 5Awo Ssaabakabona anaatoolanga ku musaayi gw'ente eyo, n'aguleeta mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 6Anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso g'olutimbe olutukuvu. 7Awo anaatoolanga ku musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyoterezebwako obubaane obw'akaloosa mu maaso ga Mukama mu Weema. Omusaayi gwonna ogusigaddewo anaaguyiwanga ku ntobo y'alutaari eyokerwako ebitambiro, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 8Ente eyo eweebwayo olw'ekibi, anaagiggyangamu amasavu gonna agali ku byenda, 9n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, 10nga bwe biggyibwa mu nte ey'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'abyokera ku alutaari eyokerwako ebiweebwayo. 11Naye eddiba lyayo, n'ennyama yaayo yonna, n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, wamu n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo, 12kwe kugamba ente yonna, anaagitwalanga wabweru w'olusiisira, mu kifo ekirongoofu, ekiyiibwamu evvu, n'agyokera eyo ku muliro ku nku. Eyo awayiibwa evvu, gy'eneeyokerwanga.
13Oba ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kinaakolanga ekibi olw'okumenya ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira, ne kizza omusango nga tekigenderedde, 14ekibi olunaamanyikanga, ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka olw'ekibi, ne bagireeta mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 15Abakulu b'ekibiina banaateekanga ebibatu byabwe ku mutwe gwayo, nga bali mu maaso ga Mukama, n'ettirwa awo. 16Ssaabakabona anaaleetanga ku musaayi gw'ente eyo mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, 17n'annyikamu engalo ye, n'agumansira emirundi musanvu awali Mukama mu maaso g'olutimbe. 18Ogumu ku musaayi anaagusiiganga ku mayembe g'alutaari eri awali Mukama mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, omulala gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, eri ku mulyango gw'Eweema eyo ye emu. 19Ente anaagiggyangamu amasavu gonna, n'agookera ku alutaari. 20Ku nte eyo, anaakolanga nga bw'akola ku nte eweebwayo olw'ekibi, n'addaabiriza olw'ekibi ky'abantu, abantu abo ne basonyiyibwa.
21Awo anaatwalanga ente eyo ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bw'ayokya eyo gy'aba awaddeyo olw'ekibi kye. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi ky'ekibiina.
22Omufuzi bw'aba ye akoze ekibi, n'azza omusango olw'okumenya nga tagenderedde ekimu ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira, 23bw'anaategeezebwanga ekibi kye, anaaleetanga ekitone kye eky'embuzi ennume eteriiko kamogo. 24Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, we battira ensolo ez'ebitambiro ebyokebwa mu maaso ga Mukama. Kino kye kiweebwayo olw'ekibi. 25Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gw'ekiweereddwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo. Ogusigaddewo n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari eyo. 26Amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku alutaari, ng'amasavu g'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omufuzi, omufuzi oyo n'asonyiyibwa.
27Omu ku bantu aba bulijjo bw'anaakolanga ekibi, n'azza omusango, olw'okumenya nga tagenderedde, ekimu ku ebyo Mukama bye yalagira,#Laba ne Kubal 15:27-28 28bw'anaategeezebwanga ekibi kye, anaaleetanga ekitone eky'embuzi enkazi eteriiko kamogo. 29Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, we battira ensolo ez'ebitambiro ebyokebwa. 30Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, omusaayi gwayo gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. 31Amasavu gaayo gonna anaagaggyangamu ng'amasavu bwe gaggyibwa mu kitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, evvumbe lyago eddungi lisanyusa Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'omuntu oyo, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
32Omuntu bw'anaaleetanga endiga nga kye kitone ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga nkazi eteriiko kamogo. 33Anaateekanga ekibatu kye ku mutwe gwayo, n'agittira mu kifo we battira ebitambiro ebyokebwa. 34Kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'alutaari eyokerwako ebiweebwayo, omusaayi gwayo gwonna n'aguyiwa ku ntobo y'alutaari. 35Amasavu gaayo gonna n'agaggyamu, nga bwe baggyamu amasavu g'endiga eweebwayo olw'okutabagana, n'agookera ku alutaari, awamu n'ebyokulya ebiweebwayo eri Mukama. Bw'atyo kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'oyo ayonoonye, era oyo anaasonyiyibwanga.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 4: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: