YouVersion Logo
Search Icon

EKY'ABALEEVI 5

5
Emisango egyetaaga ekiweebwayo olw'ebibi
1Omuntu bw'alayizibwa okuwa obujulizi, n'atayogera kye yalaba oba kye yamanya, aba azzizza omusango.
2Omuntu bwe yeekoona ku kintu ekitali kirongoofu, gamba ng'omulambo gw'ensolo ey'omu ttale oba enfuge eteri nnongoofu, oba ogw'ekyewalula, nga tategedde, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
3Omuntu bwe yeekoona ku kintu kyonna ekivudde ku muntu ekitali kirongoofu, nga tategedde aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
4Omuntu bw'ayanguyiriza okweyama okukola ekirungi oba ekibi, nga tataddeeyo mwoyo, aba n'omusango amangu ddala ng'ategedde ky'akoze.
5Omuntu bw'anazzanga omusango mu kimu ku ebyo, anaayatulanga ekibi kye yakola. 6Era omutango olw'omusango ogwo gw'azzizza, anaaleetanga eri Mukama endiga oba embuzi enkazi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaddaabirizanga olw'ekibi ky'omuntu oyo.
7Omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo ndiga oba mbuzi olw'enfuna ye entono, anaaleetanga eri Mukama omutango olw'ekibi kye, enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, enjiibwa emu ya kiweebwayo olw'ekibi, endala ya kiweebwayo ekyokebwa. 8Anaazireetanga eri kabona, kabona n'asooka okuwaayo eyo eweebwayo olw'ekibi, n'anyoola obulago bwayo, naye n'atagikutulako mutwe. 9N'amansira omusaayi gwayo ku mabbali g'alutaari, ogusigaddewo n'aguttulukusa ku ntobo y'alutaari. Ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi. 10Olwo anaawangayo enjiibwa endala, ebe ekiweebwayo ekyokebwa, ng'etteeka bwe liri. Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
11Naye omuntu bw'anaabanga tasobola kuwaayo njiibwa bbiri, oba mayiba abiri, olw'enfuna ye entono, anaaleetanga kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Taateekengako muzigo wadde obubaane, kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi. 12Anaabuleetanga eri kabona, kabona oyo n'atoolako olubatu, nga ke kabonero akalaga nti bwonna buweereddwayo eri Mukama, n'abwokera ku alutaari ng'ekiweebwayo ekyokebwa. Kye kiweebwayo olw'ekibi. 13Bw'atyo kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi ky'akoze, omuntu oyo n'asonyiyibwa. Obuwunga obusigaddewo bunaabanga bwa kabona, nga bwe kiba ku kiweebwayo eky'emmere ey'empeke.
Ekiweebwayo olw'okusasula amabanja
14Mukama n'agamba Musa nti: 15“Omuntu bw'anaakolanga ekibi mu butali bugenderevu, olw'okulemwa okuwaayo ebitukuvu by'ateekwa okusasula eri Mukama, anaaleetanga eri Mukama omutango gwa ndiga ennume, oba gwa mbuzi ennume eteriiko kamogo. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. 16Era anaaleetanga n'ekyo kye yalemererwa okusasula, n'ayongeramu ekitundu kyakyo ekyokutaano. Anaakireetanga eri kabona, kabona n'amuddaabiririza ng'awaayo ekitambiro eky'endiga ennume ey'omutango, omuntu oyo n'asonyiyibwa.
17“Omuntu bw'anaakolanga ekibi, wadde mu butanwa, ng'amenya ekimu ku biragiro bya Mukama, anaabeeranga n'omusango, era anaateekwanga okuwa omutango. 18Anaaleetanga eri kabona omutango gwa ndiga ennume eteriiko kamogo, gy'aggye mu ndiga ze. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. Kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo olw'ekibi kye yakola mu butanwa, omuntu oyo n'asonyiyibwa. 19Ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi, omuntu kye yakola mu maaso ga Mukama.”

Currently Selected:

EKY'ABALEEVI 5: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in