EKY'ABALEEVI 6
6
1Mukama n'agamba Musa nti:#Laba ne Kubal 5:5-8 2“Wanaabangawo ekiweebwayo, omuntu bw'anaakolanga ekibi mu maaso ga Mukama, ng'agaana okuzzaayo ekintu, Muyisirayeli munne kye yamulekera ng'omusingo, oba ng'amubbako ekintu, oba ng'amulyazaamaanya, 3oba ng'azudde ekyabula n'akiryazaamanya, n'alayira nti takirabanga. 4Omuntu bw'abangako ekibi ky'akoze mu kimu ku ebyo byonna, anazzangayo ekyo kye yanyaga oba kye yafuna mu bukumpanya. 5Ku lunaku lw'alizuulibwa nti alina omusango, anaasasulanga mu bujjuvu nnannyini kintu ekyo, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano. 6Anaaleetanga eri kabona endiga ennume eteriiko kamogo, ey'omutango oguweebwayo eri Mukama. Omuwendo gw'ensimbi ogugigyamu, gunaabalirirwanga mu mbalirira entongole ey'omu Ssinzizo. 7Kabona anaddaabiririzanga omuntu oyo mu maaso ga Mukama, omuntu oyo n'asonyiyibwa.”
Ebitambiro ebyokebwa nga biramba
8Mukama n'agamba Musa 9awe Arooni ne batabani be amateeka aganaafuganga ebiweebwayo ebyokebwa. Ekiweebwayo ekyokebwa, kinaasigalanga ku nku ku alutaari ekiro kyonna, era omuliro gunaakuumibwanga nga gwaka. 10Awo kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekyeru, n'empale ye enjeru, n'asitula evvu eriva ku kiweebwayo ekyokeddwa ku alutaari, n'aliteeka ku mabbali g'alutaari. 11Awo anaayambulangamu ebyambalo ebyo n'ayambala ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira, mu kifo ekibalibwa nga kirongoofu. 12Omuliro oguli ku alutaari gunaakuumibwanga nga gwaka, awatali kuzikira n'akatono. Buli nkya kabona anaaguteekangako enku, n'atereezaako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaagwokerangako amasavu ag'ekiweebwayo olw'okutabagana. 13Omuliro gunaakuumibwanga nga gwaka bulijjo ku alutaari, awatali kuzikira n'akatono.
Ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke
14Gano ge mateeka aganaafuganga ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke: kabona ow'olulyo lwa Arooni anaabiwangayo eri Mukama mu maaso g'alutaari. 15Anaatoolanga olubatu ku kiweebwayo eky'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'omuzigo, n'obubaane bwonna obukiriko, n'abyokera ku alutaari, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo eri Mukama. Akaloosa kaabyo kasanyusa Mukama. 16Ekisigaddewo, Arooni ne batabani be banaakiryanga. Kinaafumbibwangamu emigaati egitazimbulukusiddwa, ne giriirwa mu Kifo Ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 17Tekiifumbirwengamu kizimbulukusa. Nze Mukama nkiwadde bakabona, kibe omugabo gwabwe, ku byange ebiweebwayo okwokebwa. Kitukuvu nnyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekiweebwayo ng'omutango. 18Mu mirembe gyonna egijja, buli musajja ku b'olulyo lwa Arooni, anaayinzanga okukiryako, ng'omugabo gwabwe ogw'olubeerera, ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama. Buli anaakikoonangako, anaabanga mutukuvu.#6:18 Buli anaakikoonangako…: Oba “Omulala yenna anaakyekoonangako, anaakolwangako amaanyi g'obutukuvu bwakyo.”
19Mukama n'agamba Musa nti: 20“Kino kye kitone abooluganda lwa Arooni kye banaawangayo eri Mukama, ku lunaku lwe banaasiigirwangako omuzigo okwawulibwa. Banaawangayo kilo emu ey'obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, ng'eyo eweebwayo buli lunaku, ekitundu kyabwo ekimu ku makya, n'ekitundu kyabwo ekirala olweggulo. 21Bunaatabulwangamu omuzigo, ne bufumbirwa ku lusaniya olusiikirwako. Bwe bunaamalanga okusiikibwamu ebitole, ne buleetebwa okuba ekiweebwayo ekyokebwa eky'emmere ey'empeke. Akaloosa kaakyo kasanyusa Mukama. 22Mu mirembe gyonna egijja, ekitone kino kinaaweebwangayo buli muzzukulu wa Arooni akola obwassaabakabona. Kinaayokebwanga kyonna ekiramba. 23Ekitone eky'emmere ey'empeke ekiweebwayo kabona, tekiiriibwengako. Kinaayokebwanga kyonna.”
Ebiweebwayo olw'ekibi
24Mukama n'agamba Musa 25ategeeze Arooni ne batabani be nti: “Lino lye tteeka erinaafuganga ebiweebwayo olw'ekibi. Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama. Ekiweebwayo kino kitukuvu nnyo. 26Kabona akiwaayo, ye anaakiryanga. Kinaaliirwanga mu Kifo Ekitukuvu, mu luggya lw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. 27Buli ekinaakoonanga ku nnyama yaakyo, kinaabanga kitukuvu. Era ekyambalo ekinaamansirwangako omusaayi gwakyo, banaakyolezanga mu Kifo Ekitukuvu. 28Entamu ey'ebbumba efumbiddwamu ennyama yaakyo, eneeyasibwanga. Naye bw'eneefumbibwanga mu ntamu ey'ekikomo, entamu eyo eneekolokotebwanga n'eyozebwa n'amazzi. 29Buli musajja ow'omu lulyo lwa Arooni, anaayinzanga okukiryako. Kitukuvu nnyo. 30Naye singa omusaayi gwakyo guleetebwa mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, ne gukozesebwa mu mukolo ogw'okuddaabiriza olw'ekibi, tekiiriibwengako; kinaayokebwanga bwokebwa.
Currently Selected:
EKY'ABALEEVI 6: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.