YouVersion Logo
Search Icon

EKY'ABALEEVI 7

7
Ekiweebwayo olw'amabanja
1“Era lino lye tteeka erifuga ekitone ekiweebwayo ng'omutango. Kiba kitukuvu nnyo. 2Ensolo eweebwayo ng'omutango, enettirwanga ku ludda olw'ebukiikakkono obw'alutaari, awattirwa ensolo eziweebwayo okwokebwa, era omusaayi gwayo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez'alutaari. 3Amasavu gaayo gonna ganaaweerwangayo ku alutaari: omukira ogwassava, n'amasavu ag'oku byenda, 4n'ensigo zombi n'amasavu agaziriko, n'ekitundu ekisinga obulungi eky'ekibumba. 5Kabona anaabyokeranga ku alutaari, bibe ekitone ekiweebwayo eri Mukama eky'ebyokulya. Ekyo kye kitone ekiweebwayo ng'omutango. 6Buli musajja ow'omu lulyo lwa bakabona, anaayinzanga okukiryako, naye nga kiriirwa mu Kifo Ekitukuvu, kubanga kitukuvu nnyo.
7“Etteeka lye limu erifuga ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, n'ekitone ekiweebwayo ng'omutango: ennyama yaabyo eneetwalibwanga kabona akoze ku kitambiro. 8Kabona akoze ku kitambiro ekyokebwa, ekireeteddwa omuntu yenna, ye aneetwaliranga eddiba ly'ekitambiro ky'akozeeko. 9Buli kitone ekiweebwayo eky'obuwunga, ekifumbibwa nga kivumbikiddwa mu kyoto, oba ekisiikibwa mu ntamu, oba ekikalirirwa ku lusaniya, kinaatwalibwanga kabona akikozeeko. 10Naye ebitone ebiweebwayo byonna eby'emmere ey'empeke ebitali bifumbe, ebitabuddwamu omuzigo, oba ebikalu, binaabanga bya bakabona bonna ab'olulyo lwa Arooni, era banaabigabananga kyenkanyi.
Ebitone ebiweebwayo olw'okutabagana
11“Lino lye tteeka erifuga ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana. 12Omuntu bw'anaawangayo ekitambiro kino nga kya kwebaza Katonda, anaaweerangako n'ekitone eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, egitabuddwamu omuzigo, oba egy'empewere, egisiigiddwako omuzigo, oba emigaati egikoleddwa mu buwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, obutabuddwamu omuzigo ne bunnyikira. 13Ku kitambiro kye eky'okutabagana ky'awaayo olw'okwebaza Katonda, anaaleeterangako emigaati egizimbulukusiddwa. 14Anaawangayo eri Mukama omugaati gumu ku buli kika eky'emigaati egyo. Gunaabanga gwa kabona amansira omusaayi gw'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana. 15Ennyama y'ekitambiro ekyo, eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, tewaabenga esulawo.
16“Naye ekitambiro omuntu ky'awaayo bwe kiba eky'okutuukiriza obweyamo, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde, ennyama yaakyo eneeriibwanga ku olwo lwe kitambiddwa, era efikkawo eneeriibwanga enkeera. 17Naye ennyama eyo efikkawo n'etuuka ku lunaku olwokusatu, eneeyokebwanga omuliro. 18Ennyama eyo bw'eneeriibwangako ku lunaku olwokusatu, Mukama takkirizenga kitambiro, era taakibalirenga oyo akiwaddeyo. Eneebanga kyenyinyalwa, era buli anaagiryangako, anaafuukanga atali mulongoofu. 19Ennyama bw'eneekoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, teeriibwengako, eneeyokebwanga bwokebwa.
“Buli abalibwa okuba omulongoofu, ye anaalyanga ku nnyama ey'ekitambiro kino. 20Naye omuntu anaagiryangako nga si mulongoofu, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. 21Era omuntu bw'anaakoonanga ku kintu ekitali kirongoofu, ekiva ku muntu oba ku nsolo, oba ku kintu ekirala eky'omuzizo, n'alya ku nnyama y'ekitambiro ekiweebwayo eri Mukama olw'okutabagana, omuntu oyo anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.”
22Mukama n'alagira Musa, 23agambe Abayisirayeli nti: “Temuulyenga masavu ga nte n'ag'endiga, wadde ag'embuzi. 24Amasavu g'ensolo efudde yokka, n'amasavu g'eyo ettiddwa ensolo enkambwe, tegaaliibwenga n'akatono, naye ganaayinzanga okukozesebwa olw'emigaso emirala. 25Buli alya amasavu g'ensolo abantu gye bawaayo eri Mukama ng'ekiweebwayo ekyokebwa, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. 26Yonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi gwonna, ka gube gwa kinyonyi oba gwa nsolo.#Laba ne Nta 9:4; Leev 17:10-14; 19:26; Ma 12:16,23; 15:23 27Buli anaalyanga ku musaayi gwonna, anaabanga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.”
28Mukama n'agamba Musa 29ategeeze Abayisirayeli nti: “Buli awaayo ekitambiro olw'okutabagana, anaaleetanga ekitundu kyakyo, kibe ekitone eri Mukama, 30n'akireeta ye yennyini mu ngalo ze, kibe ekiweebwayo ekyokebwa. Anaaleetanga amasavu n'ekifuba, bibe ekitone ekiwuubibwa eri Mukama. 31Kabona anaayokeranga amasavu ku alutaari, naye ekifuba kinaabanga kya ba lulyo lwa Arooni. 32Ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona, kibe ekiweebwayo ekiggyibwa ku kitambiro eky'okutabagana. 33Oyo ku b'olulyo lwa Arooni akoze ku musaayi ne ku masavu, ye anaakiweebwanga kibe omugabo gwe. 34Ekifuba ekiwuubibwa, n'ekisambi ekya ddyo ekisitulibwa, bye nzigye ku Bayisirayeli, ku bitambiro bye bawaayo olw'okutabagana, ne mbiwa Arooni n'abaana be. Bino Abayisirayeli banaateekwanga okubiwa bakabona ennaku zonna. 35Ogwo gwe mugabo oguggyibwa ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama, ogwaweebwa Arooni ne batabani be ku lunaku lwe baafukibwako omuzigo, ne baawulibwa okuweereza Mukama mu bwakabona. 36Ku lunaku olwo Mukama yalagira Abayisirayeli okubawanga omugabo ogwo. Ekyo Abayisirayeli banaateekwanga okukituukiriza ennaku zonna.”
37Ago ge mateeka agafuga ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo olw'ekibi, n'ebiweebwayo ng'omutango, n'ebiweebwayo olw'okwawulibwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. 38Eyo ku lusozi Sinaayi mu ddungu, Mukama gye yaweera Musa ebiragiro ebyo, ku lunaku lwe yagambirako Abayisirayeli okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama.

Currently Selected:

EKY'ABALEEVI 7: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in