MARIKO 15
15
Yesu mu maaso ga Pilaato
(Laba ne Mat 27:1-2,11-14; Luk 23:1-5; Yow 18:28-38)
1Obudde bwe bwali nga bwakakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, n'abannyonnyozi b'amateeka, era n'abakiise abalala bonna, ne bateesa. Ne basiba Yesu, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato. 2Pilaato n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
3Awo bakabona abakulu ne bamuwawaabira emisango mingi. 4Pilaato n'amubuuza nti: “Tolina kyakuddamu? Laba emisango gye bakuwawaabira bwe giri emingi.” 5Kyokka Yesu n'atayongera kumuddamu kigambo, Pilaato ne yeewuunya.
Yesu asalirwa ogw'okufa
(Laba ne Mat 27:15-26; Luk 23:13-25; Yow 18:39–19:16)
6Mu biseera eby'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, Pilaato yatanga omusibe gwe baamusabanga okuta. 7Ku mulundi guno, mu kkomera mwalimu omusajja ayitibwa Barabba, eyasibwa awamu ne bajeemu banne abatta abantu mu kajagalalo.
8Awo ekibiina ky'abantu ne kyambuka, ne kitandika okusaba Pilaato okubakolera nga bwe yali amanyidde. 9Pilaato n'abaddamu ng'ababuuza nti: “Mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?” 10Ekyo yakyogera, kubanga yamanya nti bakabona abakulu baali bawaddeyo Yesu lwa kumukwatirwa buggya.
11Kyokka bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu nti Pilaato abateere Barabba mu kifo kya Yesu. 12Awo Pilaato n'abagamba nti: “Kale gwe muyita Kabaka w'Abayudaaya nnaamukola ntya?” 13Bo ne bamuddamu nga baleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba!” 14Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Kyokka ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.”
15Awo Pilaato olw'okwagala okusanyusa ekibiina ky'abantu, n'abateera Barabba, ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba.
Abaserikale bakudaalira Yesu
(Laba ne Mat 27:15-31; Yow 19:2-3)
16Awo abaserikale ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato oluyitibwa Purayitoriyo, ne bayita bannaabwe ab'ekibinja ekyo kyonna, ne bakuŋŋaana. 17Ne bambaza Yesu olugoye olumyufu, ne bawetaaweta amaggwa, ne bagakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe. 18Awo ne batandika okumulamusa nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!” 19Ne bamukuba mu mutwe n'olumuli, ne bamufujjira amalusu, ne bafukamira nga beefuula abamussaamu ekitiibwa. 20Awo bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye olumyufu, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamufulumya, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.
Yesu akomererwa ku musaalaba
(Laba ne Mat 27:32-44; Luk 23:26-43; Yow 19:17-27)
21Awo Simooni Omukireene yali ayitawo ng'ava mu kyalo, abaserikale ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu. Simooni ono ye kitaawe wa Alekizanda ne Ruufo.#Laba ne Bar 16:13
22Awo Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga. 23Ne bamuwa omwenge gw'emizabbibu nga gutabuddwamu envumbo eyitibwa mirra. Kyokka n'agaana okugunywa. 24Awo ne bamukomerera ku musaalaba. Ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu, balabe buli omu lw'anaatwala,#Laba ne Zab 22:18
25Baamukomerera ku musaalaba nga ziwera essaawa ssatu ez'enkya. 26Omusango ogumuvunaanibwa ne guwandiikibwa nti: “KABAKA W'ABAYUDAAYA.”
27Baakomerera n'abanyazi babiri buli omu ku musaalaba ogugwe, okumpi ne Yesu, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono. [28Ekyawandiikibwa ne kituukirira, ekigamba nti: “Yabalirwa wamu n'abamenyi b'amateeka.”]#15:28 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno.#Laba ne Yis 53:12
29Abaali bayitawo ne bavuma Yesu, ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ha! Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu,#Laba ne Zab 22:7; Zab 109:25; Mak 14:58; Yow 2:19 30weewonye! Va ku musaalaba okke!”
31Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, nabo ne bamukudaalira nga bagambagana nti: “Yawonyanga balala, tayinza kwewonya yennyini! 32Kristo, Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulabe, tulyoke tumukkirize!” N'abo abaakomererwa buli omu ku musaalaba okumpi ne Yesu, ne bamuvuma.
Okufa kwa Yesu
(Laba ne Mat 27:45-56; Luk 23:44-49; Yow 19:28-30)
33Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna. 34Ku ssaawa ey'omwenda Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eloyi, Eloyi, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”#Laba ne Zab 22:1 35Abamu ku abo abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Wulira ayita Eliya!”
36Awo omu n'adduka n'annyika ekyangwe mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa, nga bw'agamba nti: “Leka tulabe oba nga Eliya anajja n'amuggya ku musaalaba!”#Laba ne Zab 69:21 37Yesu n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa.
38Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi.#Laba ne Kuv 26:31-33 39Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo ng'atunuulidde Yesu, bwe yalaba engeri gy'afuddemu, n'agamba nti: “Mazima omuntu ono abadde Mwana wa Katonda!”
40Era waaliwo abakazi abaali ewalako nga balengera. Abamu ku bo be bano: Mariya Magudaleena, Salome, ne Mariya nnyina Yose ne Yakobo omuto.#Laba ne Luk 8:2-3 41Abakazi bano baayitanga ne Yesu nga bamuweereza, bwe yali mu Galilaaya. Era waaliwo abakazi abalala bangi abajja naye ng'ayambuka e Yerusaalemu.
Okuziikibwa kwa Yesu
(Laba ne Mat 27:57-61; Luk 23:50-56; Yow 19:38-42)
42Obudde bwe bwali buwungeera, ate nga lwali lunaku lwa kweteekateeka, kwe kugamba, olukulembera Sabbaato, 43Yosefu ow'e Arimataya n'ajja. Yali mubaka mu lukiiko olukulu olw'Abayudaaya, assibwamu ekitiibwa. Era naye yali alindirira okujja kw'Obwakabaka bwa Katonda. Yosefu oyo n'aguma, n'agenda ewa Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu. 44Pilaato ne yeewuunya okuwulira nti Yesu yafudde dda. N'ayita omukulu w'ekibinja ky'abaserikale, n'amubuuza oba nga Yesu yafudde dda. 45Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale bwe yamala okukakasa Pilaato nti Yesu amaze okufa, Pilaato n'akkiriza Yosefu okutwala omulambo.
46Awo Yosefu n'agula olugoye olweru olulungi, n'awanula omulambo gwa Yesu ku musaalaba, n'aguzinga mu lugoye olwo, n'aguteeka mu ntaana ey'empuku, era eyali esimiddwa mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja, n'aliggaza omulyango gw'entaana.
47Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yose, ne beetegereza omulambo gwa Yesu we guteekeddwa.
Currently Selected:
MARIKO 15: LBwD03
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.