OKUBALA 2
2
Entegeka y'Ebika mu Lusiisira
1Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: 2“Abayisirayeli bwe banaabanga basiisira, buli muntu ajjanga kusiisira awali bbendera y'ekibinja kye, era awali obubonero bw'Ekika kye. Banaasiisiranga okwetooloola Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, nga bagyesuddeko ebbanga.
3“Abanaasiisiranga ku ludda lw'ebuvanjuba nga batunuulidde enjuba gy'eva, banaabanga ba bbendera ya lusiisira lwa Yuda mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Yuda ye Nahusooni mutabani wa Amminadabu. 4Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga. 5Ab'Ekika kya Yissakaari be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Netaneeli mutabani wa Zuwari. 6Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina. 7Ne kuddako ab'Ekika kya Zebbulooni, ng'omukulembeze waabwe ye Eliyaabu mutabani wa Heloni. 8Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu kasanvu mu bina. 9Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Yuda, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu bina. Abo be banaasookanga okutambula.
10“Ku ludda olw'ebukiikaddyo, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Rewubeeni mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Rewubeeni ye Elizuuri mutabani wa Sedewuri. 11Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano. 12Ab'Ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi. 13Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu kenda mu bisatu. 14Ne kuddako ab'Ekika kya Gaadi, ng'omukulembeze waabwe ye Eliyasaafu mutabani wa Reweli. 15Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano. 16Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Rewubeeni, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi n'etaano mu lukumi mu bina mu ataano. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokubiri mu kutambula.
17“Awo Eweema ey'okunsisinkanirangamu n'eryoka eddako, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi, wakati w'ensiisira ezikulembera n'eziddirira. Nga bwe baddiriŋŋana mu kusiisira, era bwe banaddiriŋŋananga mu kutambula, bagoberere bbendera zaabwe, nga buli omu atambulira mu kifo kye.
18“Ku ludda olw'ebugwanjuba, we wanaabanga bbendera y'olusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Efurayimu, ye Elisaama mutabani wa Ammihudi. 19Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu bitaano. 20Ab'Ekika kya Manasse be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri. 21Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri. 22Ne kuddako ab'Ekika kya Benyamiini, ng'omukulembeze waabwe ye Abidaani mutabani wa Gidiyoni. 23Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina. 24Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Efurayimu, mu bibinja byabwe baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi. Abo be banaabeeranga mu kifo ekyokusatu mu kutambula.
25“Ku ludda olw'ebukiikakkono, we wanaabanga bbendera ey'olusiisira lwa Daani mu bibinja byabwe. Omukulembeze w'ekibinja kya Daani, ye Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi. 26Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu. 27Ab'Ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana. Omukulembeze waabwe ye Pagiyeeli mutabani wa Okuraani. 28Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo ena mu lukumi mu bitaano. 29Ne kuddako ab'Ekika kya Nafutaali, ng'omukulembeze waabwe ye Ahira mutabani wa Enani. 30Ekibinja kye kyabalibwamu abasajja emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina. 31Abasajja bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Daani, mu bibinja byabwe, baali emitwalo kkumi n'etaano mu kasanvu mu lukaaga. Abo be banaasembangayo emabega, nga bbendera bwe ziddiriŋŋana.”
32Abo be Bayisirayeli abaabalibwa okusinziira ku nnyumba za bajjajjaabwe. Abasajja bonna abaabalibwa mu nsiisira zonna, mu bibinja byabwe, baali emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 33Naye nga Mukama bwe yalagira Musa, bo Abaleevi tebaabalibwa wamu na Bayisirayeli bannaabwe.
34Bwe batyo Abayisirayeli ne batuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa: ne basiisiranga awali bbendera zaabwe, era ne batambulanga bwe batyo, okusinziira ku nsibuko ya buli omu, n'ennyumba ya bajjajjaabe.
Currently Selected:
OKUBALA 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.