YouVersion Logo
Search Icon

OKUBALA 1

1
Okubala Abayisirayeli okwasooka
1Mu ddungu ly'e Sinaayi, ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokubiri, mu mwaka ogwokubiri okuva Abayisirayeli lwe baava mu nsi y'e Misiri, Mukama n'ayogera ne Musa mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama. N'agamba nti:#Laba ne Kubal 26:1-51 2“Mubale Abayisirayeli bonna, nga mugoberera ensibuko zaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe. Mubale abasajja bonna kinnoomu, era muwandiike amannya gaabwe gonna. 3Ggwe ne Arooni mujja kubala abasajja bonna mu Yisirayeli abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, abayinza okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe. 4Mu buli kika mujja kuvaamu omukulu w'ennyumba ya bajjajjaabe, akole nammwe. 5Era gano ge mannya g'abasajja abanaakola nammwe: mu Kika kya Rewubeeni, Elizuuri mutabani wa Sedewuri; 6mu Kika kya Simyoni, Selumiyeeli mutabani wa Zurisaddayi; 7mu Kika kya Yuda, Nahusooni mutabani wa Amminadabu; 8mu Kika kya Yissakaari, Netaneeli mutabani wa Zuwari; 9mu Kika kya Zebbulooni, Eliyaabu mutabani wa Heloni; 10mu baana ba Yosefu: mu Kika kya Efurayimu, Elisaama mutabani wa Ammihudi; mu Kika kya Manasse, Gamaliyeeli mutabani wa Pedazuuri; 11mu Kika kya Benyamiini, Abidaani mutabani wa Gidiyoni; 12mu Kika kya Daani, Ahiyezeri mutabani wa Ammisaddayi; 13mu Kika kya Aseri, Pagiyeeli mutabani wa Okuraani; 14mu Kika kya Gaadi, Eliyasaafu mutabani wa Deweli; 15mu Kika kya Nafutaali, Ahira mutabani wa Enani.” 16Abo be bakulu b'ebika era abakulembeze b'enkumi n'enkumi z'Abayisirayeli.
17Awo Musa ne Arooni ne batwala abantu abo abamenyeddwa amannya, 18ne bakuŋŋaanya abantu bonna ku lunaku olusooka mu mwezi ogwokubiri. Abantu ne boogera obuzaale bwabwe, nga balaga ensibuko zaabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe. Abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, ne bawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu. 19Bw'atyo Musa n'abalira abantu mu ddungu ly'e Sinaayi, nga Mukama bwe yamulagira.
20Ab'omu Kika kya Rewubeeni, omuggulanda wa Yisirayeli, abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya, kinnoomu, okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 21abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Rewubeeni, baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano.
22Ab'omu Kika kya Simyoni, abasajja bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya, kinnoomu, okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 23abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Simyoni, baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu.
24Ab'omu Kika kya Gaadi, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 25abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Gaadi, baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano.
26Ab'omu Kika kya Yuda, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 27abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Yuda, baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga.
28Ab'omu Kika kya Yissakaari, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 29abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Yissakaari, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina.
30Ab'omu Kika kya Zebbulooni, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 31abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Zebbulooni, baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina.
32Mu basibuka mu Yosefu: ab'omu Kika kya Efurayimu, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 33abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Efurayimu, baali emitwalo ena mu bitaano.
34Ab'omu Kika kya Manasse, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 35abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Manasse, baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri.
36Ab'omu Kika kya Benyamiini, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 37abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Benyamiini, baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina.
38Ab'omu Kika kya Daani, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 39abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Daani, baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu.
40Ab'omu Kika kya Aseri, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 41abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Aseri, baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano.
42Ab'omu Kika kya Nafutaali, abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala, abaawandiikibwa amannya okusinziira ku buzaale bwabwe, n'ensibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, 43abo abaabalibwa, mu Kika ekyo ekya Nafutaali, baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina.
44Abo be baabalibwa Musa ne Arooni, nga bayambibwako abakulembeze ba Yisirayeli, abasajja ekkumi n'ababiri, buli omu ng'akiikirira ennyumba ya bajjajjaabe. 45Bwe batyo Abayisirayeli bonna abawezezza emyaka amakumi abiri n'okusingawo, bonna abayinza okugenda okutabaala mu ggye lya Yisirayeli, abaabalibwa okusinziira ku buzaale bwabwe n'ennyumba za bajjajjaabwe, 46abo bonna abaabalibwa, baali emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
47Naye bo Abaleevi, tebaabalibwa wamu na ba bika birala, 48kubanga Mukama yagamba Musa nti: 49“Naye ab'omu Kika kya Leevi tobabala, era omuwendo gwabwe togugatta ku gwa Bayisirayeli bannaabwe. 50Wabula Abaleevi bawe omulimu ogw'okulabiriranga Weema ey'Okunsisinkanirangamu, era n'okulabiriranga ebintu byayo byonna, ne byonna ebigigenderako. Banaagisitulanga n'ebintu byayo byonna, era be banaabanga abaweereza baayo, era banaasiisiranga okugyetooloola. 51Buli lwe munaabanga musengula olusiisira, Abaleevi be banaasimbulanga Weema. Era bw'eneebanga esimbibwa, Abaleevi be banaagisimbanga. Atali Muleevi anaagisembereranga, anattibwanga. 52Abayisirayeli abalala, banaasimbanga eweema zaabwe, buli omu mu lusiisira lwe, ne mu kibinja kye, awali bbendera ye. 53Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Weema ey'Okunsisinkanirangamu, ekibiina ky'Abayisirayeli kireme kusunguwalirwa. Era Abaleevi be banaabeeranga n'obuvunaanyizibwa ku Weema ey'Okunsisinkanirangamu.” 54Bwe batyo Abayisirayeli ne bakola byonna Mukama bye yalagira Musa.

Currently Selected:

OKUBALA 1: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in