OKUBALA Ennyanjula
Ennyanjula
Ekitabo ky'Okubala kyogera ku byatuuka ku Bayisirayeli, mu bbanga ery'emyaka kumpi amakumi ana, okuva lwe baava ku Lusozi Sinaayi, okutuusa lwe baatuuka ku nsalo ey'ebuvanjuba ey'ensi, Katonda gye yabasuubiza okubawa.
Erinnya ly'Ekitabo kino, lijuliza ekimu ku binyumizibwako ebikulu mu kyo, ng'ekyo kye ky'okubala abantu. Musa yabala Abayisirayeli nga tebannasimbula kuva mu bitundu bya Lusozi Sinaayi. Era yaddamu okubabala mu Mowaabu, ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani, nga wayiseewo ebbanga lya myaka ng'amakumi ana.
Mu kiseera ekyaliwo wakati w'okubala abantu okw'emirundi egyo gyombi, Abayisirayeli baagenda e Kadesi Baruneya ku nsalo ya Kanaani ey'ebukiikaddyo, naye tebaasobola kuyingira mu nsi ndagaanye nga basinziira eyo.
Nga bamaze emyaka mingi mu kitundu ekyo, baagenda mu kitundu eky'ebuvanjuba bw'Omugga Yorudaani. Abamu ku bo ne basenga eyo, abalala ne bateekateeka okusomoka Yorudaani, okuyingira mu Kanaani.
Ekitabo ky'Okubala kinyumya ku bantu, emirundi mingi abaatyanga era abaaterebukanga nga waliwo obuzibu, ne bajeemera Katonda ne musajja we Musa, Katonda gwe yateekawo okubakulembera. Kyogera ku Katonda omwesigwa, era alabirira abantu be obutasalako, awatali kuziyizibwa bunafu bwabwe, wadde obujeemu bwabwe. Era kinyumya ku bunyiikivu, n'olumu ku butali bugumiikiriza bwa Musa, mu kuweereza Katonda era n'abantu be.
Ebiri mu kitabo kino mu bufunze
Abayisirayeli beeteekateeka okuva ku Lusozi Sinaayi 1:1–9:23
Okubala abantu okwasooka 1:1–4:49
Amateeka n'ebiragiro ebitali bimu 5:1–8:26
Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako eyookubiri 9:1-23
Okuva ku Lusozi Sinaayi okutuuka e Mowaabu 10:1–21:35
Ebyaliwo mu Mowaabu 22:1–32:42
Olugendo okuva e Misiri okutuuka e Mowaabu 33:1-49
Ebyabakuutirwa nga tebannasomoka Mugga Yorudaani 33:50–36:13
Currently Selected:
OKUBALA Ennyanjula: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.