EBIKOLWA 8
8
1Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe.
Sawulo ayigganya ekibiina ky'abakkiriza Kristo
Ku lunaku olwo ekibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali e Yerusaalemu ne kitandika okuyigganyizibwa ennyo. Bonna okuggyako abatume, ne basaasaanira mu kitundu ky'e Buyudaaya ne Samariya. 2Abasajja abajjumbizi b'eddiini ne baziika Siteefano, era ne bamukungubagira nnyo. 3Kyokka Sawulo n'agezaako okuzikiriza ekibiina ky'abakkiriza Kristo ng'ayingira mu buli nnyumba, n'akwata abasajja n'abakazi, n'abateeka mu kkomera.#Laba ne Bik 22:4-5; 26:9-11
Amawulire Amalungi gategeezebwa abantu mu Samariya
4Awo abo abaasaasaana, ne bagenda nga bategeeza abantu ekigambo kya Katonda. 5Filipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samariya, n'ategeeza abantu baayo ku Kristo. 6Abantu bwe baawulira Filipo by'ayogera, ne balaba n'ebyewuunyo by'akola, bonna ne bassa nnyo omwoyo ku ebyo by'ayigiriza. 7Emyoyo emibi gyavanga ku bantu nga gikaaba n'eddoboozi ery'omwanguka. Era bangi abakoozimbye n'abalema, ne bawonyezebwa. 8Ne wabaawo essanyu lingi mu kibuga ekyo. 9Naye waaliwo omusajja erinnya lye Simooni, eyakolanga eby'obulogo mu kibuga ekyo, n'asamaaliriza Abasamariya. Yagambanga nti ye, muntu wa kitalo. 10Bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu baamuwuliranga, ne bagamba nti: “Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa ‘Amangi.’ ” 11Baamuwuliranga, kubanga okumala ebbanga ddene, yabeewuunyisanga n'eby'obulogo bye. 12Kyokka Filipo bwe yategeeza abantu Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku linnya lya Yesu Kristo, abasajja n'abakazi ne bakkiriza, ne babatizibwa. 13Ne Simooni yennyini n'akkiriza. Era bwe yamala okubatizibwa, n'abeera wamu ne Filipo. Bwe yalaba ebyamagero ebisuffu Filipo bye yakola, n'awuniikirira. 14Awo abatume abaali mu Yerusaalemu bwe baawulira nga mu Samariya abaayo bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yowanne. 15Bano bwe baatuukayo, ne basabira abakkiriza bafune Mwoyo Mutuukirivu, 16kubanga mu bo temwali wadde omu eyali amufunye. Baali babatiziddwa bubatizibwa mu linnya lya Mukama Yesu. 17Awo Peetero ne Yowanne bwe baabassaako emikono, ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu.
18Naye Simooni bwe yalaba ng'abatume bassa emikono ku bantu, abantu abo ne bafuna Mwoyo Mutuukirivu, n'aleetera abatume ensimbi, 19n'agamba nti: “Nange mumpe obuyinza obwo, buli gwe nnassangako emikono, afune Mwoyo Mutuukirivu.”
20Kyokka Peetero n'amugamba nti: “Ensimbi zo zizikirire wamu naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda ng'okiguza ensimbi! 21Ekyo tokirinaamu mugabo, era toli wa kukigabanako, kubanga omutima gwo si mulongoofu mu maaso ga Katonda. 22Kale weenenye ekibi kyo, weegayirire Katonda, akyayinza okukusonyiwa ekirowoozo ekyo ekiri mu mutima gwo, 23kubanga ndaba ng'ojjudde obuggya, era ng'oli mu nvuba ya kibi.” 24Simooni n'addamu Peetero nti: “Munsabire eri Mukama, ebigambo ebyo bye mwogedde waleme kubaawo na kimu ekintuukako.” 25Awo Peetero ne Yowanne bwe baamala okwogera ekigambo kya Katonda n'okukinyweza mu bantu, ne baddayo e Yerusaalemu, nga bagenda bategeeza abantu ab'omu byalo by'e Samariya Amawulire Amalungi.
Filipo n'omukungu w'Etiyopiya
26Awo malayika wa Mukama n'agamba Filipo nti: “Golokoka ogende mu bukiikaddyo, okwate ekkubo eriyita mu ddungu, era eriva e Yerusaalemu okulaga e Gaaza.” 27N'agolokoka n'agenda. Mu kiseera ekyo, waaliwo omusajja Omwetiyopiya, omulaawe, omukungu wa kabaka omukazi Kandake owa Etiyopiya, era omuwanika we omukulu. Yali azze e Yerusaalemu okusinza Katonda. 28Bwe yali ng'addayo, ng'atudde mu ggaali ye, era ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, 29Mwoyo Mutuukirivu n'agamba Filipo nti: “Genda otuuke ku gaali eyo.” 30Awo Filipo bwe yadduka n'agituukako, n'amuwulira ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, n'amubuuza nti: “By'osoma obitegeera?”
31Ye n'amuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera nga tewali abinnyinyonnyola?” Awo n'ayita Filipo alinnye, atuule wamu naye. 32Ekitundu ky'ebyawandiikibwa kye yali asoma kigamba nti:
“Yali ng'endiga etwalibwa okuttibwa;
yali ng'omwana gw'endiga ogutakaaba
nga bagusalako ebyoya;
teyayogera kigambo na kimu.#Laba ne Yis 53:7-8
33Yafeebezebwa,
n'omusango gwe
ne gusalirizibwa.
Tewali alinnyonnyola lulyo lwe,
kubanga obulamu bwe
buggyiddwa mu nsi.”
34Omulaawe n'agamba Filipo nti: “Mbuulira, Omulanzi ayogera ku ani? Yeeyogerako yennyini oba ayogera ku mulala?” 35Filipo n'atandikira ku kyawandiikibwa ekyo, n'amutegeeza Amawulire Amalungi aga Yesu. 36Bwe beeyongera mu maaso, ne batuuka awali amazzi, omulaawe n'agamba Filipo nti: “Laba amazzi gaagano! Ekiŋŋaana okubatizibwa kiki? [37Filipo n'agamba nti: ‘Oba ng'okkiriza n'omutima gwo gwonna, oyinza okubatizibwa.’ Ye n'addamu nti: ‘Nzikiriza nga Yesu Kristo ye Mwana wa Katonda.’ ”]#8:37 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno.
38Awo n'alagira eggaali okuyimirira. Bombi, Filipo n'omulaawe, ne bakka mu mazzi, Filipo n'amubatiza. 39Bwe baava mu mazzi, Mwoyo wa Mukama n'atwala Filipo, omulaawe n'ataddayo kumulaba, kyokka n'akwata ekkubo lye ng'ajjudde essanyu. 40Awo Filipo n'atuuka mu Azooto, n'ayitaayita mu bibuga byonna okutuuka e Kayisaariya, ng'agenda ategeeza abantu Amawulire Amalungi.
Currently Selected:
EBIKOLWA 8: LB03
Highlight
Share
Copy
![None](/_next/image?url=https%3A%2F%2Fimageproxy.youversionapistaging.com%2F58%2Fhttps%3A%2F%2Fweb-assets.youversion.com%2Fapp-icons%2Fen.png&w=128&q=75)
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.