ENTANDIKWA 24
24
Bawasiza Yisaaka omukazi
1Aburahamu yali akaddiye nnyo, era Mukama yali amuwadde omukisa mu byonna bye yakola. 2Awo Aburahamu n'agamba omuweereza we asinga obukulu mu nnyumba ye era eyalabiriranga byonna nti: “Teeka ekibatu kyo wansi w'ekisambi kyange, 3nkulayize Mukama Katonda w'eggulu n'ensi, nti toliwasiza mwana wange mukazi ava mu bantu ba wano mu Kanaani, be mbeeramu. 4Naye ogendanga mu nsi gye nazaalibwamu, era mu baganda bange, n'owasiza omwana wange Yisaaka omukazi.”
5Omuweereza n'agamba nti: “Omukazi bw'atalikkiriza kuva waabwe kujja nange mu nsi eno? Olwo mutabani wo gwe ndizzaayo mu nsi gye wava?”
6Aburahamu n'agamba nti: “Togezanga n'ozzaayo omwana wange. 7Mukama Katonda w'eggulu eyanzigya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi gye nazaalibwamu, era eyayogera nange n'andayirira nti bazzukulu bange alibawa ensi eno, alituma malayika we okukukulembera, owasize omwana wange omukazi aliva eyo. 8Naye omukazi bw'atalikkiriza kujja naawe, tolibaako musango olw'ekirayiro kino ky'ondayiridde. Naye ky'otogezanga kukola, kwe kuzzaayo omwana wange.” 9Omuweereza n'ateeka ekibatu kye wansi w'ekisambi kya Aburahamu mukama we, n'amulayirira mu ebyo Aburahamu bye yasaba.
10Omuweereza n'atwala kkumi ku ŋŋamiya za mukama we, n'agenda e Mesopotaamiya, mu kibuga kya Nahori, ng'alina ebirabo byonna ebirungi, by'aggye ewa mukama we. 11Bwe yatuukayo, n'afukamiza eŋŋamiya ebweru w'ekibuga, awali oluzzi. Obudde bwali buwungeera, mu kiseera abakazi we bafulumira okukima amazzi ku luzzi. 12N'agamba nti: “Ayi Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu, nkusaba ompe omukisa mu bye nnaakola olwaleero, era okolere mukama wange Aburahamu eby'ekisa. 13Laba nnyimiridde wano ku luzzi, abawala b'omu kibuga we bajja okukima amazzi. 14Kale omuwala gwe nnaagamba nti: ‘Ssa ensuwa yo, ompe ku mazzi nnywe,’ n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera ne zinywa,’ nga ye oyo gw'olondedde omuweereza wo Yisaaka. Ekyo kwe nnaategeerera ng'okoledde mukama wange eby'ekisa.”
15Bwe yali ng'akyayogera, Rebbeeka n'atuuka ng'asitulidde ensuwa ye ku kibegabega kye. Rebbeeka ono, yali muwala wa Betweli omwana wa Milika muka Nahori, muganda wa Aburahamu. 16Yali muwala mulungi nnyo mu ndabika, nga muto era nga mbeerera. N'aserengeta ku luzzi, n'ajjuza ensuwa ye, n'avaayo. 17Omuweereza n'adduka okumusisinkana, n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mazzi mu nsuwa yo nnyweko.”
18Rebbeeka n'agamba nti: “Ssebo, nywa.” Amangwago ne yeetikkula ensuwa ku kibegabega, n'agikwata mu mikono gye, n'amuwa okunywa. 19Awo bwe yamala okumuwa okunywa, n'agamba nti: “Ka nsenere n'eŋŋamiya zo, nazo zinywe zikkute.” 20N'ayanguwako, amazzi agaali mu nsuwa ye n'agafuka mu kyesero, n'adduka n'addayo ku luzzi, n'asenera eŋŋamiya z'omusajja zonna. 21Omusajja n'amwekaliriza amaaso mu kasirise, okulaba oba nga Mukama awadde olugendo lwe omukisa.
22Eŋŋamiya bwe zaamala okunywa, omusajja n'aggyayo empeta eya zaabu enzito, n'obukomo bubiri obunene era obwa zaabu, obw'okwambala ku mikono gye. 23N'agamba nti: “Nkwegayiridde mbuulira, oli muwala w'ani? Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ekifo mw'ayinza okutusuza?”
24N'amuddamu nti: “Ndi muwala wa Betweli mutabani wa Nahori ne Milika.” 25Era n'amugamba nti: “Tulina essubi n'ebyokulya ebinaamala ensolo zo, era tulina n'ekifo eky'okusulamu.”
26Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama. 27N'agamba nti: “Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu atenderezebwe, kubanga alaze nga bw'ayagala mukama wange, era nga bw'ali omwesigwa gy'ali. Ate nange Mukama annuŋŋamizza n'antuusa mu maka ga baganda ba mukama wange.”
28Omuwala n'adduka n'agenda abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ebyo byonna. 29Rebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labani. Labani oyo n'afuluma n'adduka ng'alaga ku luzzi, awali omusajja. 30Labani yamala kulaba mpeta n'obukomo, ku mikono gya mwannyina, era yamala kuwulira mwannyina oyo ng'anyumya ebyo omusajja bye yamugambye, n'alyoka agenda eri omusajja n'amusanga ng'ayimiridde ku mabbali g'eŋŋamiya ze, okumpi n'oluzzi. 31Labani n'agamba nti: “Jjangu tugende eka, ggwe Mukama gw'awadde omukisa. Lwaki osigala ebweru? Nteeseteese ennyumba n'ekifo ky'eŋŋamiya.”
32Awo omusajja n'ayingira mu nnyumba. Labani n'asumulula emigugu ku ŋŋamiya n'aleeta essubi n'ebyokulya eby'eŋŋamiya, era n'amazzi omusajja n'abaali naye ge banaanaaba ebigere. 33Omusajja bwe baamuleetera emmere, n'agamba nti: “Sijja kulya nga sinnayanjula bye bantuma.” Labani n'agamba nti: “Yogera.”
34Omusajja n'agamba nti: “Nze ndi muweereza wa Aburahamu. 35Mukama yawa mukama wange oyo omukisa, n'amufuula mugagga. Yamuwa amagana g'ente n'embuzi n'endiga. Era yamuwa ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamiya n'endogoyi. 36Ne Saara muka mukama wange, n'azaalira mukama wange omwana ow'obulenzi, mu myaka egy'obukadde. Omwana oyo, mukama wange n'amuwa byonna by'alina. 37Era mukama wange n'andayiza n'agamba nti: ‘Towasiza mwana wange mukazi mu bawala ba mu nsi eno mwe mbeera, Abakanaani. 38Naye oligenda mu maka ga kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi.’ 39Ne ŋŋamba mukama wange nti: ‘Omukazi bw'atalikkiriza kujja nange?’ 40N'aŋŋamba nti: ‘Mukama gwe mpulira bulijjo, alituma malayika we wamu naawe, n'awa olugendo lwo omukisa, owasize omwana wange omukazi, aliva mu baganda bange, ne mu maka ga kitange. 41Kimu kyokka ekirikuwonya omusango: bw'olituuka mu baganda bange, ne batakuwa mukazi, olwo tolibaako musango olw'ekirayiro ky'ondayiridde.’
42“Olwaleero natuuse ku luzzi, ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama, Katonda wa mukama wange Aburahamu, oba onoowa olugendo lwange omukisa, 43laba, kaakano nnyimiridde wano ku luzzi. Kale nsaba kibe bwe kiti: omuwala anajja okusena amazzi gwe nnaagamba nti nkwegayiridde, mpa ku mazzi mu nsuwa yo nnyweko, 44ye n'aŋŋamba nti nywa, era n'eŋŋamiya zo ka nzisenere zinywe, nga ye wuuyo Mukama gw'alondedde omwana wa mukama wange.’
45“Bwe nabadde nga nkyayogera ebyo mu mutima gwange, Rebbeeka n'ajja ng'alina ensuwa ku kibegabega kye, n'aserengeta ku luzzi okusena amazzi. Ne mmugamba nti: ‘Nkwegayiridde, mpa ku mazzi nnyweko.’ 46Amangwago ne yeetikkula ensuwa ye ku kibegabega kye, n'agamba nti: ‘Nywa, era n'eŋŋamiya zo nnaazisenera.’ Ne nnywa, era n'eŋŋamiya n'azinywesa. 47Ne mmubuuza nti: ‘Oli mwana w'ani?’ N'addamu nti: ‘Ndi mwana wa Betweli, mutabani wa Nahori ne Milika.’ Ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'obukomo ku mikono gye. 48Ne nkutama ne nsinza Mukama. Ne ntendereza Mukama Katonda wa mukama wange Aburahamu, eyannuŋŋamya mu kkubo ettuufu, ne ndabira omwana we omukazi mu baana ba muganda we. 49Kale kaakano, oba munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire. Oba temukkirize, era mumbuulire, ndyoke nsalewo kye nnaakola.”
50Awo Labani ne Betweli ne baddamu nti: “Ekyo kivudde wa Mukama. Tetuyinza kubaako kye tusalawo. 51Rebbeeka wuuno wano, mutwale ogende, abe mukaamwana wa mukama wo, nga Mukama yennyini bw'ayogedde.”
52Awo omuweereza wa Aburahamu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'avuunama ku ttaka, n'asinza Mukama. 53Awo n'aggyayo amakula aga ffeeza n'aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Rebbeeka. Era n'awa ne mwannyina ebirabo eby'omuwendo ennyo.
54Awo omuweereza wa Aburahamu, n'abasajja abaali naye, ne balya ne banywa, ne basula awo. Bwe baagolokoka ku makya, omuweereza n'agamba nti: “Munsiibule nzireyo eri mukama wange.”
55Mwannyina Rebbeeka ne nnyina ne bagamba nti: “Omuwala k'agira abeerako naffe ennaku ntonotono, gamba nga kkumi, alyoke agende.”
56Omusajja n'agamba nti: “Muleme kundwisa kubanga Mukama awadde olugendo lwange omukisa. Munsiibule nzireyo eri mukama wange.” 57Ne bagamba nti: “Ka tuyite omuwala tuwulire ky'agamba.” 58Ne bayita Rebbeeka, ne bamubuuza nti: “Onoogenda n'omusajja ono?” N'addamu nti: “Nnaagenda.”
59Awo ne basiibula Rebbeeka mwannyinaabwe n'eyali omulezi we, n'omuweereza wa Aburahamu, n'abasajja be. 60Ne basabira Rebbeeka omukisa, ne bagamba nti: “Mwannyinaffe, beera nnyina w'abantu nkumi na nkumi. Ne bazzukulu bo bawangulenga ebibuga by'abalabe baabwe.” 61Awo Rebbeeka n'abazaana be ne basituka ne beebagala ku ŋŋamiya, ne bagenda n'omuweereza wa Aburahamu. Bw'atyo omusajja oyo n'atwala Rebbeeka, n'agenda.
62Yisaaka n'ajja ng'ava mu Beerulakayirooyi#24:62 Beerulakayirooyi: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Oluzzi lw'Omulamu Andaba.”, n'abeera mu nsi ey'ebukiikaddyo obwa Kanaani#24:62 Kanaani mu nsi ey'ebukiikaddyo: Oba “Mu Negebu.”. 63Awo Yisaaka n'afuluma akawungeezi okutambulako mu nnimiro. N'ayimusa amaaso ge, n'alengera eŋŋamiya nga zijja. 64Rebbeeka bwe yayimusa amaaso ge, n'alengera Yisaaka, n'ava ku ŋŋamiya, 65n'abuuza omuweereza wa Aburahamu nti: “Omusajja oyo atambula mu nnimiro ng'ajja gye tuli, ye ani?” Omuweereza n'addamu nti: “Ye mukama wange.” Rebbeeka n'addira ekiremba kye, ne yeebikka mu maaso.
66Omuweereza n'ategeeza Yisaaka byonna bye yakola. 67Awo Yisaaka n'aleeta Rebbeeka mu weema eyali eya Saara nnyina, n'amufuula mukazi we. Yisaaka n'ayagala Rebbeeka, bw'atyo n'akubagizibwa olwa nnyina gwe yafiirwa.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 24: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: