ENTANDIKWA 25
25
Bazzukulu ba Aburahamu abalala
(Laba ne 1 Byom 1:32-33)
1Awo Aburahamu n'awasa omukazi omulala, erinnya lye Ketura. 2N'amuzaalira Zimurani ne Yokusaani ne Medaani, ne Midiyaani ne Yisubaaki ne Suuwa. 3Yokusaani n'azaala Seba ne Dedani. Abaana ba Dedani be bano: Assurimu ne Letusimu ne Lewummimu. 4Abaana ba Midiyaani be bano: Efa, ne Eferi, ne Hanoki ne Abida ne Eluda. Abo bonna bazzukulu ba Ketura.
5Aburahamu n'awa Yisaaka byonna bye yalina. 6Naye Aburahamu bwe yali ng'akyali mulamu, n'awa ebirabo abaana ba bakazi be abalala be baamuzaalira. N'abasindika mu nsi ey'Ebuvanjuba, bave awali omwana we Yisaaka.
Okufa n'okuziikibwa kwa Aburahamu
7Aburahamu yawangaala emyaka kikumi mu nsavu mu etaano, 8n'afa nga musajja mukadde, ow'emyaka egituukiridde, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. 9Batabani be, Yisaaka ne Yisimayeli ne bamuziika mu mpuku ya Makupela, ebuvanjuba bwa Mamure, mu nnimiro eyali eya Efurooni, omwana wa Zohari Omuhiiti. 10Eyo ye nnimiro, Aburahamu gye yagula ku Bahiiti. Omwo Aburahamu mwe yaziikibwa, ne mukazi we Saara.#Laba ne Nta 23:3-16 11Aburahamu bwe yamala okufa, Katonda n'awa Yisaaka omukisa, Yisaaka n'abeeranga kumpi ne Beerulakayirooyi.#25:11 Beerulakayirooyi: Mu Lwebureeyi kitegeeza “Oluzzi lw'omulamu andaba.”
Bazzukulu ba Yisimayeli
(Laba ne 1 Byom 1:28-31)
12Yisimayeli, Agari Omumisiri omuzaana wa Saara gwe yazaalira Aburahamu, 13yazaala abaana bano, amannya gaabwe nga galiraanyizibwa nga bwe baagenda baddiŋŋanako mu kuzaalibwa kwabwe. Nebayooti ne Kedari, ne Adubeeli ne Mibusaamu, 14ne Misima ne Duma, ne Massa 15ne Hadadi, ne Tema ne Yeturi ne Nafisi, ne Kedema. 16Abo be baana ba Yisimayeli, bajjajja b'ebika kkumi na bibiri, era amannya gaabwe gaatuumibwa ebyalo byabwe, n'ebifo mwe baakuba eweema zaabwe. 17Yisimayeli yafa ng'awezezza emyaka kikumi mu asatu mu musanvu, n'atwalibwa eri bajjajjaabe. 18Bazzukulu ba Yisimayeli baabeera mu kitundu ekiri wakati wa Avila ne Suuri, ebuvanjuba bwa Misiri, ng'ogenda mu Assiriya, nga beesudde ku bazzukulu ba Aburahamu abalala.
Okuzaalibwa kwa Esawu ne Yakobo
19Lino lye zzadde lya Yisaaka omwana wa Aburahamu: 20Yisaaka yali awezezza emyaka amakumi ana, n'awasa muwala wa Betweli Omwarumeeni ow'e Paddanaraamu, ayitibwa Rebbeeka, mwannyina Labani. 21Yisaaka ne yeegayirira Mukama ku lwa mukazi we, kubanga Rebbeeka yali mugumba. Mukama n'awulira okwegayirira kwe, Rebbeeka n'aba olubuto. 22Lwali lwa balongo, era bwe baali nga tebannazaalibwa, ne bakoonaganira mu lubuto lwe. Rebbeeka n'agamba nti: “Oba bwe kiri bwe kiti, nze ndiba ntya?” N'agenda okwebuuza ku Mukama. 23Mukama n'agamba nti:
“Amawanga abiri gali mu lubuto lwo.
Olizaala ebika bibiri ebyawukanye.
Ekimu kinaasinzanga ekirala amaanyi,
omukulu ye anaaweerezanga omuto.”#Laba ne Bar 9:12
24Awo ennaku ze ez'okuzaala ne zituuka, n'azaala abalongo ab'obulenzi. 25Omubereberye n'afuluma nga mumyufu, ng'olususu lwe luli ng'ekyambalo eky'ebyoya. Ne bamutuuma erinnya Esawu.#25:25 Esawu: Erinnya eryo lijjukiza “Seir,” ekitundu bazzukulu ba Esawu mwe baasenga. “Seir” mu Lwebureeyi kivuga ng'ekigambo ekitegeeza “Eky'ebyoya.”
26Oluvannyuma n'owookubiri n'afuluma, ng'omukono gwe gukutte ku kisinziiro kya Esawu. Ne bamutuuma erinnya Yakobo.#25:26 Yakobo: Mu Lwebureeyi, livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Akwata ekisinziiro.” oba “Alyazaamaanya.” Laba ne 27:36. Rebbeeka yabazaala nga Yisaaka awezezza emyaka nkaaga.
Esawu atunda obukulu bwe
27Abalenzi ne bakula, Esawu n'afuuka omuyizzi omukugu, omusajja anyumirwa eby'omu ttale. Ye Yakobo yali musajja muteefu, eyasigalanga awaka. 28Yisaaka yasinga kwagala Esawu, kubanga yalyanga ku nsolo Esawu ze yayigganga. Naye Rebbeeka yasinga kwagala Yakobo.
29Lwali lumu Yakobo n'afumba omugoyo, Esawu n'akomawo eka ng'ava mu ttale, ng'enjala emuluma. 30N'agamba Yakobo nti: “Enjala enzita! Mpa ndye ku mugoyo ogwo omumyufu.” Kyebaava bamuyita Edomu.#25:30 Edomu: Mu Lwebureeyi livuga ng'ekigambo ekitegeeza “Myufu.” 31Yakobo n'addamu nti: “Sooka onguze obukulu bwo obw'obuggulanda.”
32Esawu n'agamba nti: “Nzuuno mbulako katono okufa. Obukulu bulingasa ki?” 33Yakobo n'agamba nti: “Ndayirira kaakano nti obukulu bwo obunguzizza.” Esawu n'amulayirira, n'aguza Yakobo obukulu bwe.#Laba ne Beb 12:16 34Awo Yakobo n'awa Esawu omugaati n'omugoyo gw'ebijanjaalo. Esawu n'alya era n'anywa, n'asituka n'agenda. Bw'atyo Esawu bwe yanyoomoola obukulu bwe.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 25: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: