ENTANDIKWA 31
31
Yakobo adduka ku Labani
1Awo Yakobo n'awulira batabani ba Labani nga bagamba nti: “Yakobo atutte byonna ebyali ebya kitaffe, era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde obugagga obwo bwonna.” 2Yakobo era n'alaba nga Labani takyamusanyukira nga bwe yakolanga edda. 3Mukama n'agamba Yakobo nti: “Ddayo mu nsi ya bajjajjaabo, era eri baganda bo, nze nnaabeeranga wamu naawe.”
4Awo Yakobo n'atumya Raakeeli ne Leeya bajje bamusisinkane mu ddundiro awali amagana ge. 5N'abagamba nti: “Ndabye nga kitammwe takyansanyukira nga bwe yakolanga edda, naye Katonda wa kitange abadde wamu nange. 6Mumanyi nga mpeerezza kitammwe n'amaanyi gange gonna. 7Wabula kitammwe yannimba, n'akyusakyusa empeera yange emirundi kkumi, kyokka Katonda teyamuganya kunkolako kabi. 8Bwe yagambanga nti: ‘Ez'amabalabala ze zinaaba empeera yo,’ amagana gonna ne gazaala ez'amabalabala. Bwe yagambanga nti: ‘Eza biwuuga ze zinaaba empeera yo,’ amagana gonna ne gazaala eza biwuuga. 9Bw'atyo Katonda, amagana ga kitammwe yagamuggyako n'agawa nze.
10“Mu biseera amagana mwe gawakira, naloota, ne ndaba ng'embuzi ennume ezaalinnyira amagana, zaali za biwuuga n'ez'amabalabala, n'eza kiweewoweewo. 11Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mu kirooto nti: ‘Yakobo!’ Ne ŋŋamba nti: ‘Nzuuno!’ 12N'aŋŋamba nti: ‘Yimusa amaaso go olabe. Embuzi zonna ennume ezirinnyira amagana, za biwuuga n'eza bitanga n'eza kiweewoweewo, kubanga ndabye byonna Labani by'akukola. 13Nze Katonda eyakulabikira e Beteli, gye wafukira omuzigo ku jjinja ery'ekijjukizo, era gye wankolera obweyamo. Kaakano situka oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu.’ ”#Laba ne Nta 28:18-22
14Raakeeli ne Leeya ne bamuddamu nti: “Tukyalina omugabo oba obusika mu nnyumba ya kitaffe? 15Kaakano tatubala ng'abagwira? Yatutunda, era n'ebintu ebyatugula, abiridde n'abimalawo. 16Obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe bwe bwaffe, era bwe bw'abaana baffe. Kale kaakano kola kyonna Katonda ky'akugambye.”
17Awo Yakobo n'asituka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamiya, 18n'atwala amagana ge gonna n'ebintu bye byonna, bye yali afunye mu Paddanaraamu, agende ewa Yisaaka kitaawe, mu nsi ya Kanaani. 19Labani yali agenze okusalako endiga ebyoya, Raakeeli n'abba balubaale ba kitaawe ab'omu maka. 20Yakobo n'agenda mu kyama, nga Labani Omwarameeya tamanyi, kubanga teyamubuulira ng'agenda okudduka. 21Bw'atyo n'adduka n'ebibye byonna, n'asomoka omugga Ewufuraate, n'ayolekera Gileyaadi, ensi ey'ensozi.
Labani awondera Yakobo
22Ku lunaku olwokusatu, ne babuulira Labani nti Yakobo yadduka. 23Labani n'atwala ab'ekika kye, n'awondera Yakobo, olugendo lwa nnaku musanvu, n'amutuukako mu Gileyaadi, ensi ey'ensozi. 24Katonda n'ajjira Labani Omwarameeya ekiro mu kirooto, n'amugamba nti: “Weegendereze, oleme kubaako kantu konna k'ogamba Yakobo.” 25Labani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye mu nsi ey'ensozi.
26Labani n'agamba Yakobo nti: “Lwaki wannimba n'otwala bawala bange ng'abaanyagibwa mu lutalo? 27Lwaki wadduka mu kyama, n'onkisa ng'ogenda, n'otombuulira, ndyoke nkusiibule nga tusanyuka era nga tuyimbira ku bitaasa ne ku nnanga? 28Tewaŋŋanya na kunywegera bazzukulu bange ne bawala bange! Okoze kya busirusiru. 29Nnina obuyinza okukukolako akabi. Naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro nti: ‘Weegendereze, oleme kubaako kantu konna k'ogamba Yakobo.’ 30Mmanyi ng'oyagala okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo. Naye lwaki wabba balubaale bange ab'omu maka?”
31Yakobo n'addamu Labani nti: “Natya, kubanga nalowooza nti ojja kunzigyako bawala bo olw'empaka. 32Buli gw'onoosanga ne balubaale bo, anattibwa. Wano mu maaso ga baganda baffe, yawulamu buli ekikyo kye nnina okitwale.” Yakobo yali tamanyi nga Raakeeli yabba balubaale ba Labani.
33Labani n'ayingira n'ayaza mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema y'abazaana bombi, kyokka n'atazuula balubaale be. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu ya Raakeeli. 34Raakeeli yali atutte balubaale ab'omu maka, n'abateeka mu nsawo ey'oku katebe akatuulwako ku ŋŋamiya, n'abatuulako. Labani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabazuula. 35Raakeeli n'agamba kitaawe nti: “Ssebo, tosunguwala okulaba nga siyinza kuyimirira mu maaso go, kubanga ndi mu biseera eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.” Labani n'anoonya, naye n'atazuula balubaale be ab'omu maka.
36Yakobo n'asunguwala, n'anenya Labani n'amugamba nti: “Nsobezza ki? Nkoze kibi ki ekikunnondooza bw'otyo? 37Oyazizza ebintu byange byonna. Kiki ku by'omu nnyumba yo ky'ozudde? Kiteeke wano mu maaso g'ab'ekika kyange n'ag'ab'ekika kyo, batusalirewo. 38Mu myaka egyo amakumi abiri gye mbadde naawe, endiga zo n'embuzi zo enkazi tezisowolanga, era siryanga nnume n'emu ku z'omu magana go. 39Endiga eyattibwanga ensolo, ssaagikuleeteranga. Eyo nze nagifiirwanga. Eyabbibwanga emisana oba ekiro, wagivunaananga nze. 40Bwe ntyo bwe nabeeranga. Emisana, omusana gwanzigwerangako. Ekiro, empewo n'enfuuwa, era otulo twambulanga mu maaso. 41Mu myaka egyo amakumi abiri gye mbadde mu maka go, nakuweerereza emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'amagana go, naye ggwe n'okyusakyusa empeera yange emirundi kkumi. 42Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Aburahamu era Katonda wa Yisaaka teyabeeranga wamu nange, kaakano tewandiremye kungoba nga sirina kantu. Naye Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kwange, n'akunenya mu kiro ekyayise.”
Yakobo ne Labani bakola endagaano
43Labani n'addamu Yakobo nti: “Abawala bano, bawala bange, n'abaana baabwe, bange, era n'amagana gano gange. Ne byonna by'olaba wano byange. Naye olwaleero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba abaana be baazaala? 44Kale nno kaakano, tukole endagaano nze naawe, ebeerenga omujulirwa wakati wo nange.”
45Awo Yakobo n'addira ejjinja n'alisimba, libe ekijjukizo. 46N'agamba ab'ekika kye nti: “Mukuŋŋaanye amayinja.” Ne baddira amayinja ne bagatuuma entuumu, ne baliira awo okumpi n'entuumu.
47Labani n'agituuma erinnya Yegari Sahaduta,#31:47 Yegari Sahaduta: Mu Lwarameeya “Jegar Sahadutha,” ekitegeeza “Entuumu ey'okutujjukiza.” naye Yakobo n'agituuma Galeedi.#31:47 Galeedi: Mu Lwebureeyi, kitegeeza “Entuumu ey'okutujjukiza.” 48Labani n'agamba nti: “Entuumu eno ye mujulirwa wakati wo nange olwaleero.” Kyeyava etuumibwa erinnya Galeedi 49era Mizupa,#31:49 Mizupa: Mu Lwebureeyi “Mizpah,” ekitegeeza “Ekifo ekibeeramu abakuumi.” kubanga Labani yagamba nti: “Mukama alamulenga wakati wo nange bwe tuliba nga tetukyalabagana. 50Bw'onoobonyaabonyanga bawala bange, oba bw'oliwasa abakazi abalala awali bawala bange, wadde tewaliba muntu mulala ali naffe, jjukira nga Katonda ye mujulirwa wakati wo nange.”
51Labani n'agamba Yakobo nti: “Laba entuumu eno ey'amayinja n'empagi eno gye nsimbye wakati wo nange. 52Entuumu eno n'empagi eno binaabanga abajulirwa baffe, nga nze siriyita ku ntuumu eno kukulumba, era naawe nga toliyita ku ntuumu eno ne ku mpagi eno kunnumba. 53Katonda wa Aburahamu era Katonda wa Nahori#31:53 Nahori: Aburahamu ye jjajja wa Yakobo, ate Nahori ye kitaawe wa Labani era muganda wa Aburahamu., Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe.” Yakobo n'alayira Katonda wa kitaawe Yisaaka, ng'anaakuumanga endagaano eyo. 54Yakobo n'aweerayo ekitambiro ku lusozi, n'ayita ab'oku ludda lwe okulya emmere. Ne balya. Ne bamala ekiro kyonna ku lusozi. 55Enkeera mu makya Labani n'agolokoka, n'anywegera bazzukulu be ne bawala be n'abasabira omukisa, n'asitula okuddayo ewuwe.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 31: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.