ENTANDIKWA 34
34
Dina ne Sekemu
1Awo Dina, omuwala Leeya gwe yazaalira Yakobo, n'agenda okukyalira abawala Abakanaani. 2Sekemu, mutabani wa Hamori Omuhiivi, omukulu w'ensi eyo, bwe yamulaba n'amukwata lwa mpaka, ne yeegatta naye, n'amukuza. 3Omutima gwe ne gusikirizibwa nnyo Dina, muwala wa Yakobo, n'amwagala nnyo, era n'ayogera naye n'ekisa. 4Sekemu n'agamba Hamori nti: “Mpasiza omuwala oyo.”
5Yakobo n'awulira nga Sekemu yasobya ku Dina muwala we, naye kubanga batabani be baali n'ensolo ze mu ddundiro, n'asirika okutuusa lwe badda. 6Hamori kitaawe wa Sekemu n'afuluma, n'agenda eri Yakobo okwogera naye. 7Batabani ba Yakobo ne bakomawo nga bava mu ddundiro. Bwe baakiwulira, ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga Sekemu yali akoze eky'omuzizo mu Bayisirayeli, bwe yeebaka ne muwala wa Yakobo olw'empaka, ekitagwanira kukola.
8Hamori n'ayogera nabo nti: “Mutabani wange Sekemu ayagala muwala wammwe. Mbeegayiridde mumumuwe amuwase. 9Era mufumbiriganwenga naffe, mutuwenga abawala bammwe, nammwe muwasenga abawala abaffe. 10Munaabeeranga wamu naffe mu nsi yaffe, mubeerenga we mwagala, musuubulirenga muno, mwefunire ebintu.”
11Sekemu n'agamba kitaawe wa Dina ne bannyina nti: “Singa nsiimibwa mu maaso gammwe, kyonna kye munansalira nnaakibawa. 12Ebintu eby'obuko, n'ebirabo bye munansalira, ne bwe binenkana wa obungi, nnaabiwa, kasita mumpa omuwala okumuwasa.”
13Batabani ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne kitaawe Hamori nga bakuusa, kubanga Sekemu yali asobezza ku Dina mwannyinaabwe. 14Ne bagamba nti: “Tetuyinza kukola ekyo: okuwa mwannyinaffe omusajja atali mukomole, kubanga ekyo kyandibadde kya nsonyi gye tuli. 15Tunaabakkiriza lwa kino kyokka: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mu mwe okukomolebwa. 16Olwo tunakkiriza okubawanga abawala abaffe, naffe okuwasanga abawala abammwe. Tunaabeeranga wamu nammwe, ne tufuuka eggwanga limu. 17Naye bwe mutakkirize kyaffe ne mukomolebwa, tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda.”
18Ebigambo byabwe ne bisanyusa Hamori ne mutabani we Sekemu. 19Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yayagala nnyo muwala wa Yakobo. Omuvubuka oyo, yalina ekitiibwa okusinga abalala bonna ab'ennyumba ya kitaawe.
20Hamori ne Sekemu mutabani we, ne bajja mu kifo ekikuŋŋaanirwamu ku mulyango gw'ekibuga kyabwe, ne boogera n'abasajja ab'omu kibuga ekyo, nga bagamba nti: 21“Abasajja abo, tebaagala kutulwanyisa. Tubaleke babeerenga mu nsi eno wamu naffe, era basuubulirengamu, kubanga ensi ngazi ekimala. Ffe tuwasenga abawala abaabwe, nabo tubawenga abawala abaffe. 22Naye abasajja abo, bajja kukkiriza okubeeranga awamu naffe, okufuuka eggwanga erimu naffe, lwa kino kyokka: buli musajja mu ffe bw'anaakomolebwanga nga bo bwe bakomolebwa. 23Ente zaabwe n'ebintu byabwe, n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? Kale tukkiriziganye nabo, babeerenga wamu naffe.” 24Abasajja bonna abaaliwo ku mulyango gw'ekibuga, ne bakkiriza ebya Hamori ne Sekemu mutabani we, buli musajja n'akomolebwa.
25Awo ku lunaku olwokusatu, abasajja bwe baali nga balumwa ebiwundu, batabani ba Yakobo babiri, Simyoni ne Leevi bannyina ba Dina, ne bakwata ebitala byabwe, ne bazinduukiriza ekibuga ne batta abasajja bonna. 26Ne battiramu Hamori ne mutabani we Sekemu, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu ne bavaayo. 27Batabani ba Yakobo abalala bwe baasanga nga babasse, ne banyaga eby'omu kibuga nga beesasuza olwa mwannyinaabwe eyasobezebwako. 28Ne banyaga endiga n'embuzi n'endogoyi, n'ebintu byonna ebyali mu kibuga n'ebyali mu nnimiro. 29Era ne batwala ebyobugagga byonna, ne banyaga abaana bonna abato n'abakazi bonna, ne byonna ebyali mu mayumba.
30Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi nti: “Mundeetedde omutawaana! Kaakano Abakanaani n'Abaperizi n'abalala bonna ab'omu nsi eno bajja kunkyawa. Nnina abantu batono. Kale singa bali bonna balyekuŋŋaanya ne bannumba, balinsaanyaawo n'amaka gange gonna.”
31Naye bo ne baddamu nti: “Yakola kirungi okuyisa mwannyinaffe nga malaaya?”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 34: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.