ENTANDIKWA 36
36
Bazzukulu ba Esawu
(Laba ne 1 Byom 1:34-37)
1Bano be bazzukulu ba Esawu, era ayitibwa Edomu. 2Esawu yawasa abakazi Abakanaani, Ada muwala wa Eloni Omuhiiti, ne Oholibama muwala wa Ana, muwala wa Zibiyoni omuhiivi,#Laba ne Nta 26:34 3ne Basemati muwala wa Yisimayeli mwannyina Nabayooti.#Laba ne Nta 28:9 4Ada n'azaala Elifaazi, ne Basemati n'azaala Reweli. 5Ne Oholibama n'azaala Yewusi ne Yolamu ne Koora. Abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanaani.
6Awo Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be n'abantu bonna ab'omu maka ge, n'ensolo ze zonna, n'ebintu bye byonna bye yafunira mu nsi ya Kanaani, n'agenda mu nsi endala, n'aviira muganda we Yakobo, 7kubanga baalina ebintu bingi nnyo, nga tebayinza kubeera wamu. Ensi mwe baabeeranga yali tekyayinza kubamala olw'amagana amangi ge baalina. 8Esawu n'abeera mu nsi Seyiri ey'ensozi.
9Bano be bazzukulu ba Esawu, jjajja wa Abeedomu mu nsi Seyiri ey'ensozi. 10Gano ge mannya ga batabani ba Esawu: Elifaazi omwana wa Ada muka Esawu, ne Reweli omwana wa Basemati era muka Esawu.
11Batabani ba Elifaazi be bano: Temani, Omari, Zefo, Gatamu ne Kenazi. 12Elifaazi mutabani wa Esawu yalina Timuna omuzaana, eyamuzaalira Amaleki. Abo be baana abaasibuka mu Ada muka Esawu.
13Bano be batabani ba Reweli: Nakati ne Zeera, Samma ne Mizza. Abo be baana abaasibuka mu Basemati muka Esawu.
14Bano be baana Oholibama muwala wa Ana, omwana wa Zibiyoni be yazaalira Esawu, bba: Yewusi, ne Yalamu ne Koora.
15Bano be bakulu b'ennyumba z'abazzukulu ba Esawu. Batabani ba Elifaazi, omwana omubereberye owa Esawu, be bano: Temani, ne Omari, ne Zefo, ne Kenazi, 16ne Koora, ne Gatamu, ne Amaleki.
Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Elifaazi mu nsi ya Edomu, era bazzukulu ba Ada.
17Bano be batabani ba Reweli omwana wa Esawu: Nakati, ne Zeera ne Samma, ne Mizza. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Reweli mu nsi ya Edomu, era be bazzukulu ba Basemati muka Esawu.
18Bano be batabani ba Oholibama muka Esawu: Yewusi, ne Yalamu, ne Koora. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Oholibama, muwala wa Ana era muka Esawu. 19Abo be bazzukulu ba Esawu ayitibwa Edomu, era abo be bakulu b'ennyumba z'abamusibukamu.
Abaana n'abazzukulu ba Seyiri
(Laba ne 1 Byom 1:38-42)
20Bano be baana ba Seyiri Omuhoori, abatuuze b'omu nsi ya Edomu: Lotani, ne Sobali ne Zibiyoni ne Ana, 21ne Disoni, ne Ezeri, ne Disani. Abo be bakulu b'ennyumba z'Abahoori era be baana ba Seyiri, mu nsi ya Edomu.
22Abaana ba Lotani be bano: Ori ne Hemami. Mwannyina Lotani ye Timuna.
23Abaana ba Sobali be bano: Aluvani ne Menehati ne Ebali, Sefo ne Onamu.
24Abaana ba Zibiyoni be bano: Aya ne Ana. Ana oyo ye yazuula mu ddungu enzizi z'amazzi agookya, bwe yali ng'alunda endogoyi za Zibiyoni kitaawe. 25Bano be baana ba Ana: Disoni ne Oholibama omuwala. 26Abaana ba Disoni be bano: Hemudaani, ne Esubaani, ne Yituraani ne Kerani.
27Abaana ba Ezeri be bano: Bilihaani ne Zaavani ne Akani. 28Abaana ba Disani be bano: Wuzi ne Arani.
29Bano be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Bahoori: Lotani ne Sobali, ne Zibiyoni ne Ana, 30ne Disoni ne Ezeri ne Disani. Abo be bakulu b'ennyumba z'Abahoori ng'ebika byabwe bwe byali mu nsi ya Seyiri.
Bassekabaka ba Edomu
(Laba ne 1 Byom 1:43-54)
31Bano be bassekabaka abaafuga mu nsi ya Edomu nga tewannabaawo kabaka n'omu afuga Bayisirayeli. 32Bela mutabani wa Beyori n'afuga mu Edomu, era ekibuga kye nga kiyitibwa Dinuhaba. 33Bela n'afa, Yobabu mutabani wa Zeera ow'e Bozira n'alya obwakabaka mu kifo kye. 34Yobabu n'afa, Husamu ow'omu nsi y'Abatemani n'alya obwakabaka mu kifo kye. 35Husamu n'afa Hadadi mutabani wa Bedadi eyawangula Midiyaani mu nsi ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye, era ekibuga kye nga kiyitibwa erinnya Aviti. 36Hadadi n'afa, Samula ow'e Masureeka n'alya obwakabaka mu kifo kye. 37Samula n'afa, Sawuuli ow'e Rehoboti ekiri okumpi n'Omugga Ewufuraate n'alya obwakabaka mu kifo kye. 38Sawuuli n'afa, Baalikanaani mutabani wa Akuboori n'alya obwakabaka mu kifo kye. 39Baalikanaani mutabani wa Akuboori n'afa, Hadari n'alya obwakabaka mu kifo kye, era ekibuga kye nga kiyitibwa erinnya Pawu. Erinnya lya mukazi we ye Mehetabeli, muwala wa Maturedi, muwala wa Mezahaabu.
40Bano be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Esawu, ng'ebika byabwe n'ebifo byabwe n'amannya gaabwe bwe biri, Timuna, Aluva, Yeteti, 41Oholibama, Ela, Pinoni. 42Kenazi, Temani, Mibuzaari, 43Mugadyeli ne Yiramu. Abo be bakulu b'ennyumba z'abaasibuka mu Edomu, kwe kugamba Esawu, jjajja wa Abeedomu, nga bwe baali mu nsi gye baafuna.
Currently Selected:
ENTANDIKWA 36: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.