YouVersion Logo
Search Icon

ENTANDIKWA 37

37
Yosefu ne baganda be
1Yakobo n'abeeranga mu nsi ya Kanaani, kitaawe mwe yabeeranga. 2Bino bye bifa ku maka ga Yakobo: Yosefu bwe yali nga muvubuka wa myaka kkumi na musanvu, n'alundanga endiga ne baganda be abaana ba Biliha ne Zilupa, baka kitaawe. Yosefu n'aloopanga eri kitaawe ebibi bye baakolanga. 3Yisirayeli yayagalanga Yosefu okusinga abaana be abalala bonna, kubanga gwe yazaala mu bukadde. N'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi. 4Baganda ba Yosefu bwe baalaba nga kitaabwe amwagala okusinga bw'ayagala bo bennyini, ne bamukyawa, ne batayinza kwogeranga naye bya mirembe.
5Awo Yosefu n'aloota ekirooto. Bwe yakibuulira baganda be, ne beeyongera okumukyawa. 6N'abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye naloose. 7Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”
8Baganda be ne bamugamba nti: “Olowooza nti ggwe olifuuka kabaka waffe, oba nti ggwe olitufuga?” Ne beeyongera okumukyayira ddala olw'ebirooto bye, n'olw'ebigambo bye.
9Yosefu era n'aloota ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be, n'agamba nti: “Naloose ekirooto ekirala, mwe nalabidde enjuba n'omwezi n'emmunyeenye kkumi n'emu nga binvuunamira.” 10N'akibuulira ne kitaawe. Kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti: “Kirooto ki kino kye waloose? Nze ne nnyoko ne baganda bo, ffe tulijja ne tukuvuunamira?” 11Baganda ba Yosefu ne bamukwatirwa obuggya, naye kitaawe n'akuumanga ebyo Yosefu bye yayogera.#Laba ne Bik 7:9
Yosefu atundibwa n'atwalibwa e Misiri
12Awo baganda ba Yosefu bwe baali bagenze e Sekemu okulunda eggana lya kitaabwe, 13Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Baganda bo bali Sekemu, gye balundira eggana. Jjangu nkutume gye bali.” Yosefu n'amuddamu nti: “Nzuuno.”
14Kitaawe n'amugamba nti: “Genda kaakano olabe oba nga baganda bo bali bulungi, era oba nga n'eggana liri bulungi, okomewo ombuulire.” Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Heburooni. Yosefu n'atuuka e Sekemu. 15Omusajja n'amusanga ng'atambuliratambulira mu ttale, n'amubuuza nti: “Onoonya ki?” 16Yosefu n'addamu nti: “Nnoonya baganda bange. Nkwegayiridde, mbuulira gye balundira eggana.”
17Omusajja n'agamba nti: “Baagenda, kubanga nabawulira nga bagamba nti: ‘Tugende e Dotani.’ ” Awo Yosefu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dotani.
18Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne bamwekobera okumutta. 19Ne bagambagana nti: “Ssekalootera wuuyo ajja. 20Kale mujje tumutte tumusuule mu bumu ku bunnya. Tuligamba nti: ‘Ensolo enkambwe ye yamulya,’ tulabe ebirooto bye bwe biriba.”
21Rewubeeni bwe yawulira ekyo, n'afuba okuwonya Yosefu n'agamba nti: “Tuleme okumutta.” 22Rewubeeni era n'agamba nti: “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala abamuwonye, amuddize kitaawe. 23Yosefu bwe yatuuka ku baganda be, ne bamwambulamu ekyambalo kye eky'amabala amangi, kye yali ayambadde, 24ne bamutwala, ne bamusuula mu bunnya obwali obukalu nga temuli mazzi.
25Bwe baali nga balya, ne bayimusa amaaso gaabwe, ne balengera ekibinja ky'Abayisimayeli abava mu Gileyaadi nga balina eŋŋamiya ezeetisse envumbo n'ebyobuwoowo ebiyitibwa baamu ne mirra, nga babitwala mu Misiri. 26Yuda n'agamba nti: “Kiritugasa ki okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe? 27Kale tumutunde mu Bayisimayeli, ffe tuleme kumukolako kabi, kubanga muganda waffe, era musaayi gwaffe.” Baganda be ne bakkiriza. 28Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yosefu ne basika Yosefu ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu Bayisimayeli abo ebitundu amakumi abiri ebya ffeeza. Abo ne batwala Yosefu mu Misiri.#Laba ne Bik 7:9
29Rewubeeni bwe yaddayo ku bunnya n'asanga nga Yosefu taliimu, n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala. 30N'addayo eri baganda be, n'agamba nti: “Omwana taliiyo. Kale nze nadda wa?”
31Awo ne batta embuzi ennume, ne bannyika ekyambalo kya Yosefu mu musaayi gwayo. 32Ne baweereza ekyambalo ekyo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe, ne bagamba nti: “Twazuula kino. Kaakano laba oba nga kye kyambalo ky'omwana wo.”
33Yakobo n'akitegeera, n'agamba nti: “Kye kyambalo eky'omwana wange. Ensolo ey'omu ttale yamulya. Awatali kubuusabuusa, Yosefu yataagulwataagulwa!” 34Yakobo n'ayuza ebyambalo bye olw'okunakuwala, ne yeesiba ekikutiya mu kiwato, n'amala ennaku nnyingi ng'akungubagira omwana we. 35Batabani be bonna ne bawala be ne bajja okumukubagiza, naye n'agaana okukubagizibwa, n'agamba nti: “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba!” N'ayongera okumukaabira amaziga.
36Mu kiseera ekyo, Abamidiyaani baali batunze Yosefu mu Misiri, nga bamuguzizza Potifaari omukungu wa kabaka w'e Misiri, era omukulu w'abaserikale abakuuma olubiri.

Currently Selected:

ENTANDIKWA 37: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in