ENTANDIKWA 38
38
Yuda ne Tamari
1Awo mu biro ebyo, Yuda n'ava mu baganda be, n'agenda n'omusajja Omwadulaamu, erinnya lye Hira. 2Yuda n'alabayo omuwala azaalibwa Omukanaani. Erinnya ly'Omukanaani oyo lyali Suuwa. Yuda n'awasa omuwala oyo ow'Omukanaani, 3omuwala n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi, Yuda n'amutuuma erinnya Eri. 4N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Onani. 5Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seela. Yuda yali agenze Kezibu omulenzi okuzaalibwa.
6Yuda n'awasiza Eri, omwana we omubereberye, omukazi, erinnya lye Tamari. 7Naye Eri, omwana omubereberye owa Yuda, yali wa mpisa mbi mu maaso ga Mukama, Mukama n'amutta. 8Yuda n'agamba Onani nti: “Twala nnamwandu wa muganda wo, nga muganda wa bba bw'agwanira okukola, ofunire muganda wo abaana.” 9Awo Onani n'ategeera ng'abaana tebaliba babe. Bwe yeebakanga ne nnamwandu wa muganda we, amazzi n'agafukanga wansi aleme okufunira muganda we abaana. 10Kye yakola ne kitasanyusa Mukama. N'oyo Mukama n'amutta. 11Yuda n'agamba Tamari muka mwana we nti: “Sigala ng'oli nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa mutabani wange Seela lw'alimala okukula.” Yayogera bw'atyo, kubanga yatya nti n'oyo naye ajja kufa nga baganda be. Awo Tamari n'agenda n'abeera mu nnyumba ya kitaawe.
12Bwe waayitawo ekiseera, muka Yuda, muwala wa Suuwa n'afa. Ebiseera eby'okukungubaga bwe byaggwaako, Yuda ne mukwano gwe Hira Omwadulaamu ne bambuka e Timuna, eri basajja be abasalako endiga ebyoya. 13Ne babuulira Tamari nti: “Ssezaala wo ayambuka e Timuna okusalako endiga ze ebyoya.” 14Ne yeeyambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu, n'asiba ekitambaala ku mutwe, ne yeebikka mu maaso, n'atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekibuga ekiri ku kkubo erigenda e Timuna. Yakola bw'atyo kubanga yalaba nga Seela amaze okukula ne batamumuwa kumufumbirwa.
15Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nti malaaya, kubanga yali yeebisse mu maaso. 16N'agenda gy'ali ku mabbali g'ekkubo, n'agamba nti: “Jjangu neebake naawe,” nga tamanyi nti ye muka mwana we. N'agamba nti: “Onompa ki olyoke weebake nange?”
17Yuda n'addamu nti: “Nnaakuweereza embuzi ento, okuva mu ggana lyange.” N'agamba nti: “Onompa omusingo okutuusa lw'onoogiweereza?” 18N'agamba nti: “Musingo ki gwe mba nkuwa?” N'addamu nti: “Akabonero ko, n'omuyondo gwo, n'omuggo gwo oguli mu ngalo zo.” N'abimuwa. Ne yeegatta naye. N'amufunyisa olubuto. 19Tamari n'asituka n'agenda, ne yeggyako ekitambaala ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obwannamwandu.
20Yuda n'atuma mukwano gwe Omwadulaamu okutwalira omukazi embuzi ento, n'okuggyayo omusingo, kyokka n'atamulaba. 21N'abuuza abasajja ab'omu Enayimu nti: “Omukazi malaaya eyali wano ku kkubo ali ludda wa?” Ne baddamu nti: “Tewabanga mukazi malaaya wano.”
22N'addayo eri Yuda, n'agamba nti: “Simulabye, era n'abasajja ab'omu kifo ekyo bagambye nti: ‘Tewabanga mukazi malaaya wano.’ ”
23Yuda n'agamba nti: “Ebintu k'abyesigalize, tuleme kusekererwa, kavuna naweereza embuzi eyo ento, ggwe n'otomuloba.”
24Bwe waayitawo emyezi ng'esatu, ne babuulira Yuda nti: “Tamari muka mwana wo, yakola obwamalaaya, era kati ali lubuto.” Yuda n'agamba nti: “Mumufulumye ayokebwe.”
25Bwe baali nga bamufulumya, n'atumira ssezaala we, nti: “Omusajja nnannyini bintu bino, ye yanfunyisa olubuto. Nkwegayiridde, weetegereze. By'ani bino: akabonero, n'omuyondo, n'omuggo?”
26Yuda n'abitegeera, n'agamba nti: “Asinze, ye ye mutuufu, kubanga saamuwa Seela mutabani wange.” Yuda n'ataddayo kwebaka naye mulundi mulala.
27Awo ekiseera kye eky'okuzaala bwe kyatuuka, ne kimanyika nga yali agenda kuzaala balongo. 28Bwe yali ng'alumwa okuzaala, omu n'afulumya ekibatu kye. Omuzaalisa n'akikwata, n'akisibako akawuzi akamyufu ng'agamba nti: “Ono ye asoose okufuluma.” 29Naye n'azzaayo ekibatu kye, muganda we n'afuluma. Omuzaalisa n'agamba nti: “Bw'otyo bw'owaguzza?” Kyeyava atuumibwa erinnya Pereezi.#38:29 Pereezi: Mu Lwebureeyi: “Kuwaguza.” 30Oluvannyuma muganda we n'afuluma ng'alina akawuzi akamyufu ku kibatu kye n'atuumibwa erinnya Zeera.#38:30 Zeera: Mu Lwebureeyi kivugamu ng'ekigambo ekitegeeza “Ekimyufu ng'emmambya.”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 38: LB03
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: